Safia Juuko Nalule

Omubaka wa Palamenti ya Uganda

Safia Juuko Nalule yazaalibwa nga 15 Ogwokusatu 1966) munnayuganda alwanirira eddembe ly'abiliko obulemu, munnabyabufuzi era yaweerezaako ng'omubaka a omulonde akiikirira abantu abaliko obulemu mu massekkati g'eggwanga Uganda mu Palamenti ey'omulundi ogw'ekkumi.[1] Mu Gwokuna 2021, yalondebwa nga Ssentebe w'akakiiko k'eggwanga ak'obwenkanya aka Uganda Equal Opportunities Commission (EOC). Mu by'obufuzi, yeegatta ku kibiina ekya National Resistance Movement era kweyewandiisiza neyeetaba mu kulonda okwa 2016.

Ebyafaayo n'okusoma

kyusa

Okusinziira ku mukutu ow'akakiiko ak'obwenkanya, Nalule yazaalibwa mu Mawokota mu disitulikiti eye Mpigi omugenzi Lule Moses n'oMukyala Nanyonga Jane Lule.

Nalule yafuna diguli esooka okuva mu Yunivaasite eye Makerere mu 1990 era oluvannyuma yafuna satifikeeti mu bya Business Management Training okuva mu International Labour Organisation/ Federation of Uganda Employers mu 1991. Mu 1996, yafuna satifikeeti bbiri ebbaluwa bbiri - mu bukulembeze bw'abakyala okuva mu ESAMI n'esatifikeeti mu Leadership and Mirofinane Management from Mobility International USA (MIUSA). Oluvannyuma yazaakodipulooma mu by'amateeka okuva mu Law Development Centre mu 2006 era oluvannyuma yafuna diguli ey'okubiri mu ddembe ly'obuntu okuva mu Yunivaasite eye Makerere mu 2016.

Emirimu

kyusa

Nalule abadde munnabyabufuzi okuva mu 2006, ng'atuula mu nkiiko okuli olw'omunaana n'olwomwenda mu Palamenti ya Uganda. Mu 2020, yalondebwa okuba kaminsona ku bukiiko bwa Palamenti.

Nga kino tekinnabaawo, wakati wa 2005 ne 2006, yaweerezako ng'omubaka mu Kakiiko aketegereza Semateeka akali wansi wa Minisitule y'obwenkanya n'ensonga z'amateeka mu Uganda. Era yali kansala mu lukiiko lw'ekibuga ekya Kampala City Council wakati wa 1997 ne 2006. Okuva mu 1996 okutuuka 2005, yakola Senkulu w'ekitongole kya Disabled Women Network and Resource Organisation mu Uganda (DWNRO).

Abadde mmemba ku kakiiko ka National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) okuva mu 2015 n'okutuuusa kati, n'aka Uganda Women's Network (UWONET) wakati wa 1990 ne 1997.

Mu 2017, yali ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu. Ng'omunamateeka omukyala mu palamenti y'omulundi ogw'ekkumi mu Uganda, yali mmemba wa Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) era n'amyuuka Ssentebe ku kakiiko akakola ku kulondebwa. Y'omu ku ba mmemba b'akakiiko akakola ku nsonga z'abantu b'omu buvanjuba bwa Afirika.

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1

Enkolagana ez'ebweru

kyusa