Salim Saleh
Salim Saleh (yazaalibwa Caleb Akandwanaho; 14 Ogusooka 1960) Munnayuganda offiisa w'amajje e'yawumula e'yaweereza mu Uganda People's Defence Force (UPDF), ekibinjja ky'ebyokulwanyisa ekya Uganda. Muganda wa Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni, era omuwi w'amagezzi wa Pulezidenti ku nsonga z'amajje. Yaweereza ngaMinisita wa State for microfinance okuva mu mwaka gwa 2006 okutuusa 2008. Saleh alabikidde mu butabanguko bw'ensonga y'enguzi, omuli ne UN Security Council okumwekwasaganya ku nsonga z'okukozesa amaanyi okutwaala eby'obugagga obyensibo mu Democratic Republic of the Congo.
Emirimu jy'omumajje
kyusaMu mwaka gwa 1976, ku myaaka 16, yava mu Kako Secondary School e Masaka okwegatta ku Front for National Salvation (FRONASA), ekibiina ky'abayeekera ekisangibwa mu Tanzania eky'atandikibwaawo muganda we Yoweri Museveni okulwaanyisa ekisanjya kya Idi Amin. Wamu ne mukwaano gwe Fred Rwigyema ne muganda we Museveni, yatendekera mu Mozambique n'abayeekera ba Samora Machel's FRELIMO.Eyo jyeyafunira Salim Saleh n'amukuza[1] nga nom de guerre. Mu mwaka gwa 1978, FRONASA yegatta ku bibiina ebilwaanisa Amin mu Tanzania era ne batandikawo ekibiina kya Uganda National Liberation Army (UNLA), wamu n'ebibinjya by'okulwanisa mu Tanzanian ne bawamba Kampala Mu Gwokuna 1979 – ne basindika Idi Amin mu kweekweeka. Oluvanyuma Saleh bamufuula platoon commander owa UNLA unit mu Distulikitti y'e Moroto. Nga okulonda okwalimu ekuyomba n'okusika omuguwa enyo okwa December 1980 elections kuwedde, Museveni yalangirira olutalo ku UNLA ne Gavumenti ya Milton Obote.
Salim Saleh yegatta ku kibiina kya muganda we ekyaNational Resistance Army (NRA) era olutalo lwa guerilla war olumanyikiddwa nga "olutalo lw'omunsiko", olwali olw'okuwangaala paka 1986. Mu Gusooka 1986, Salim Saleh yalangira NRA okulumba Kampala, oluvanyuma okw'aleetera okusanyaawo ekisanjja kya Tito Okello', ne Museveni okufuuka Pulezidenti. NRA yafuuka ejje lye gwanga, ne Salim Saleh nga commanding offiisa, General Elly Tumwine nga Army Commander, ne Museveni nga Commander-in-chief.
Saleh yeyongera okukulembera ekibinjja ky'amajje okulwanisa ebibiina by'abayeekera ebirala ebyaali bisigaddewo mu UNLA, omwaali Uganda People's Democratic Army (UPDA), mu bitundu by'omu mambuka ge gwanga. Yali wankizo nnyo mu kuteesa enkolagana ey'eddembe ne UPDA.
Saleh yasikira Elly Tumwine nga Army Commander mu mwaka gwa 1987, era n'akwaata ekifo kino okutuusa mu 1989 bwe, okugoberera okunenyezebwa ku nsonga z'enguzi, muganda we bwe yamugoba mu majje. Oluvanyuma yafuuka omuwi wamagezi owa Pulezidenti mu nsongo z'okwelwanako n'okwerinda (1996–1998), era ne commander wa Army Reserve Force (1990–2001), eyetaba mu kudamu okuwumuza amajje agalwaana mu lutalo lw'omukibira.
Saleh yadamu okuyita abakulembeze ba RPFmu Uganda, mu kufa kw'omukulembeze wa RPF Fred Rwigyema Yasiba Peter Bayingana, eyali yefudde omukulembeze wa RPF, ne Chris Bunyenyezi. Bombi battibwa.
Obutabanguko
kyusaBwe yali akyaali mu majje, Salim Saleh yetabba mu kukola bizinensi ze ne mu bikolwa by'okutereeza embeera ya bantu n'okubawa sente okwezimba, nateekawo bizinensi ez'enjyawulo omuli eby'amataka n'amayumba paka ku by'enyonyi, era naafuuka omusajja wa bizinensi mu Uganda aky'asinze okuba omugagga, naye era ne yettabba mu buvuyo bw'enguzi.
Bank ya Uganda ey'abasuubuzi
kyusaMu 1998, Salim Saleh yegoba mu kifo ky'omuwi w'amagezi owa Pulezidenti, okugoberera ebigambibwa nti Greenland Investments, ekitongole mwe yali stakeholder ow'amaanyi, yali ekozeseza ekitongoole ky'omunsi ya Malaysia, Westmont, okugula mu buba ebitundutundu mu bank ya Uganda esingamu obunene, kati Uganda Commercial Bank (UCB) etakyaakola.[2][3] Muganda we, Pulezidenti Museveni, oluvanyuma yagamba nti yali agobye Salim Saleh, si lwa kwetabba mu kavuyo ako, naye lwa "busiiwuufu bw'ampisa n'okutamiira" mu majje.
Ebiccupuli bya helicopter
kyusaMu 1998, ekitongole kya Salim Saleh ky'agulira amajje helicopter, nafuna omutemwa gwa dollar $800,000. Helicopter z'aazuulibwa okuba ebiccupuli.[4]
Okw'etabba mu Congo (DRC)
kyusaSalim Saleh okusingira ddala yali mu alippota ya UN Security Council ku nsonga z'okwetabba mu kukozesa mu bubba eby'obugagga obyensibo (natural resources) mu Congo (DRC) m biseera by'Olutalo lwa Congo Olw'okubiri[5] . Gvumenti ya Uganda yagobba alipoota, era tewaliwo kubonereza abo abaali betabye mu kilwa kino.[6]
Enkulaakulana ey'akabaawo
kyusaMu 2005, Salim Saleh, eyali Lieutenant General, yali omu ku kibiina eky'asokera ddala okutikibwa okuva mu Uganda Senior Command and Staff College eKimaka mu Jinja. Okugoberea course eyo , yalinyisibwa eddala paka ku rank ya General mu UPDF.[7] Nga okulonda kwa 2006 General Elections tekunabaawo, Salim Saleh yaddayo okusoma era n'afuna A-level certificate, eky'ettaagiso kya wansi eokufuuka mmemba wa Paalamenti ya Uganda. Nga akalulu kawedde, yalondebwa ku bwa Minisita wa State owa Microfinance.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Mozambican_Liberation_Front
- ↑ http://hrw.org/reports/1999/uganda/Uganweb-11.htm
- ↑ http://www.africa.upenn.edu/eue_web/hoa1298.htm
- ↑ http://allafrica.com/stories/200605300425.html
- ↑ http://www.oecd.org/document/6/0,2340,en_2649_34889_27217798_1_1_1_37461,00.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2006-05-07. Retrieved 2024-04-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://newvision.co.ug/D/8/12/462512/Kimaka%20Staff%20Command
Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya
kyusa- A look back at Salim Saleh’s 40-year liberation journey
- Profile of General Salim Saleh In September 2012
- Partial List of Senior UPDF Commanders
Template:S-start Template:S-mil Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft
Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft
Template:S-gov Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End