Sandra Nankoma
Sandra Nankoma, yali amanyiddwa nga Sandy Soul, munnayugandan akwata ennyimba ku butambi. muwandiisi wa nnyimba, ateekateeka azannya katemba era ayimba ekika kya myuziki ayitibwa Afro-soul ne jazz.[2] Amanyiddwa nnyo olw'oluyimba lwa Kaddugala okuva ku lutambi lwe olwasooka oluyitibwa Ye'nze bwe yangula engule ya AFRIMA y'omuyimbi omukyala asinze okuba n'oluyimba olukwata ku bantu mu 2018.[3][4][5]
Sandra Nankoma
| |
---|---|
Obuzaale | 27 Ogwekkuminogumu 1988 (myaka 33) |
Omulimu | Muyimbi, Muwandiisi wa nnyimba, ate muzannyi wa mizannyo |
Omwagalwa | Benjamin Lepez |
Abazadde | Samuel Wamubirigwe, Mary Nankinga |
Omulimu gw'okuyimba | |
Ekika ky'ennyimba | |
Emyaka gy'amaze ng'akola | 2013 okutuusa kati |
Ekibiina mw'ayimbira | Yeekozesa |
Ekibanja | www.nankomasandra.com |
Emirimu
kyusaNankoma yatandika okuyimba kw'ensimbi mu 2013. Yayimba ku mukolo gwa Bayimba Festival n'akooka oluyimba olwa hop lwe yayimba ne Sylvester Kabombo , "Fumbiro". Oluvannyuma lw'oluyimba lwe ng'ali yekka, akutte ennyimba endala nnyingi nnyo ku ntambi nga kuliko, Kaddugala, Musaiza Wei'ka, Babylon, ne Mercedes era lwalabikira ku RNW ‘oluyimba lwange ku pulogulaamu ya YouTube[6].
Sandra Nankoma yalambula Uganda era yayimba ku mikolo mingi nnyo egy'enjawulo okuli Bayimba Festival of the Arts [7] Milege World Music Festival ogwategekebwa Milege, Pearl Rhythm Festival, World Music Day celebrations.[8]
Mu 2014, Nankoma yakola bbandi, eyakolanga nga Sandy Soul. Nga Sandy Soul, Nankoma yalambula Africa, yayimba mu bibuga okuli Nairobi, Arusha, Abidjan, Kigali era yakolayo ekivvulu mu Paris e Bufaransa. Mu 2016, yayimba mu kivvulu kya MASA Arts mu Ivory Coast, nga ekitundu ku Afroman Spice, yatandikawo ssweeta ey'abakyala. Kampeyini ya Afroman Spice yali yaakukyusa ggwanga, era yaluubiriramu okulwanirira eddembe ly'abakyala. Omwaka ogwo gwennyini yayimba mu kivvulu kya Ubumuntu and at the Kigali Up Festival as Sandy Soul.
Mu 2017 Nankoma yatwala bbandi ye eya Soul Train mu Nairobi n'atandika okuyimbira eyo. Ayimbye n'abayimbi bangi okuva mu South Africa, bukiika ddyo, buvanjuba n'obugwa njuba bwa Africa okuli Jojo Abot (Ghana), Blinky Bill (Kenya), Jackie Manyelope, Prisca Ojwang and DJ Kampire. Sandra Nankoma era yali muwanguzi w'engule ya Visa Pour La Creation ku mukolo okwali abayimbi okuva mu Africa ne Latino America.
Mu 2018, yafulumya Alubaamu ye eyasooka eyitibwa Ye'nze eyakwatibwa era n'efulumizibwa mu Uganda ne France. Kaddugala (ekivvunulwa nti Melanin), lwafulumizibwa ng'oluyimba olulwanirira abawala abaddugavu naddala okuvumirira abo abaali befumba era lwalondebwa okuvuganya ku ngule ya AFRIMAS mu 2018 'All Africa Music Awards' AFRIMA 2018. Ye'nze era lwawangulira Nankoma engule ya AFRIMA omukyala asinze okuyimba oluyimba olulimu obubaka bw'okuzaamu essuubi mu Africa. Nankoma yatandika okulambula ensi n'oluyimba lwe olwo Ye'nze mu 2018.[9][10]
Nga munnakatemba
kyusaNankoma yazannyira mu ssweeta eziwerako ng'akola emizannyo wamu n'okuyimba. Yali omu ku baatandikawo ekibiina kya Afroman Spice, ekirwanirira eddembe ly'abakyala ne munne Rashida Namulondo wamu ne Linda Nabasa. Ekibiina kino ky'atandika okuzannya emizannyo n'okuyimba nga kijjayo obubaka n'emiramwa omuli ebizibu ebiruma Uganda ne Africa okutwaliza awamu.[11] Bbandi ya Nankoma eya band Sandy Soul yayimba n'ebibiina ebirala mu Uganda, Kenya ne Ivory Coast.[12]
Obulamu bwe n'okulwanirira eddembe ly'obuntu
kyusaSandra Nakoma yazaalibwa era n'akulira mu Disitulikiti y'e Mukono mu Buganda. Olw'okuba yali muddugavu kagongolo, yakolebwangako efujjo ku ssomero era okuva olwo yatandikawo kaweefube w'okulwanirira obusosoze mu laangi n'oluyimba lwe Kaddugala olwakola ennyo okulwanirira abakyala abaali basingaana obuzibu nga buno obw'okusosolebwa.[13] Nankoma yasomera ku Ssentekero wa Uganda Christian University e Mukono, gye yafunira ddiguli mu by'emisono wabula ng'okusinga essira yaliteeka mu bibajje.
Ennyimba
kyusa- Ye'nze 2018
Engule z'awangudde
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ http://allafrica.com/stories/201212030158.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201212030158.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-19. Retrieved 2022-11-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Justus Lyatuu. "Sandra Nankoma does it for melanin". The Observer. Retrieved 14 July 2020.
- ↑ Eric Geno.
- ↑ https://wazaonline.com/en/my-song/sandy-soul-women-must-be-independent
- ↑ http://www.goethe.de/ins/ug/kam/kue/laba/laba2013/en11418104.htm
- ↑ NDUGGA, ARAFAT.
- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Sandra-Nankoma-drops-new-album/434746-4335646-ho23hx/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-12. Retrieved 2022-11-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-27. Retrieved 2022-11-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-18. Retrieved 2022-11-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Nankoma-tackles-stigma-against-dark-skinned-women-her-art/689842-4210208-udaxinz/index.html
Emikutu gya yintaneeti
kyusaLua error: Invalid configuration file.