Santa Anzo ye munayuganda omwolesi w'emisonoomwolesi w'emisono, omutunzi w'emisono era mukyala musuubuzi.ye mutandisi era avunaanyizibwa ku nkola y'emirimu mu kitongole ekya Arapapa Fashion House, ekisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Era ye mutandisi era Pulezidenti wa Uganda International Fashion Week, omwoleso gw'engoye ogubeerawo buli mwaka.

Ebyafaayo n'okusoma

kyusa

Santa Anzo yazaalibwa mu Uganda, awo nga mu 1975. Bazadde balina ensibuko mu disitulikiti y'e Moyo, mu kitundu ky'e West Nile mu Uganda.[1]

Yasomera ku Old Kampala Primary School, nga tannaba kukyuuusibwa kudda ku Bat Valley Primary School، gye yafuna ebbaluwa ye ey'okusoma Primary School Leaving Certificate. Mu kusoma kwe okwa O-Level, yagenda mu Madhvani College, mu Wairaka, Jinja District. Yasomera ku Progressive Secondary School, mu Bweyogerere, Wakiso District, gye yamaliriza emisomo gye egya A-level n'afuna dipulooma ye eya High School. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Dolphins Fashion School, mu Kampala, gye yamaliriza n'attikirwa dipulooma mu Fashion Design.

Emirimu

kyusa

Mu 1995, Muky. Anzo yafuna omulimu ng'omuweereza mu Kampala Casino. Era yakwasibwa omulimu ng'omwolesi w'emisono mu kifo kye kimu era n'akola ng'omwolesi w'emisono awatali kuweerreza mu baala. Mu 1999, yasisinkana Sylvia Owori era bombi baatandikawo Ziper Models, nga Anzo y'akolanga kitunzi ate Owori ng'ayavunaanyizibwa ku ngeri emirimu gyegikolebwamu. Anzo yakola nga kitunzi, atendeka abolesi b'emisono era omwanjuzi w'emisono. Yakolanga ku by'ensimbi, awamu n'ebivulu by'engoye. Enkolagana yabwe yamala emyezi 16, nga Anzo tannava mu Ziper Models.

Mu 2001 Anzo yava mu Ziper Models n'atandikawo Arapapa. Arapapa kitegeeza ekiwojjolo mu lulimi lwe olu Madi. Oluvannyuma lw'emyaka ebiri, yatongozza Uganda International Fashion Week.[2]

Alaze emisono gye mu myoleso egy'enjawulo omuli Fashion for Peace initiative, Kenya Fashion Week, Mozambique Fashion Week, Swahili Fashion Week mu Dar-es-Salaam, Tanzania, Africa Fashion Exchange, mu Durban, South Africa, n'ebirala.

Awaadi n'ebitiibwa

kyusa
  • Ekifo eky'okubiri ekya East African Designer of the year award mu Swahili Fashion Week, mu Deesemba 2012, mu Nairobi, Kenya.
  • Omwogezi mu lukungaana olwasooka olwa Fashionprenuer olwategekebwa Abryanz Style & Fashion Awards (ASFAs), mu Okitobba 2018, mu Kampala, Uganda.
  • Ekirabo kya Presidential Transformers Appreciation Award ekyasooka, mu Deesemba 2016, mu Kampala, Uganda.
  • Ebirabo bya Pioneer Ground Breaking by Uganda Women Entrepreneur's Association, ICON ne International Labour Organization.[3]
  • Yalagibwa ku Africa Fashion Exchange 2018 mu Durban, South Africa.
  • Lifetime Fashion Icon Achievement Award 2015.[3]
  • Mu 2014, omukulembeze w'akakiiko k'ebyokwerinda ak'ekibiina ky'amawanga amagatte, yalonda Santa Anzo ng'omu ku bakazi 87 abaasinga okuwanirira obuwanvu mu Uganda, n'asiimibwa olw'ekifo eky'omugaso kye yakola mu kutandikawo emirimu gy'okwambala n'okukuba ebifaananyi mu Uganda.[3]

Laba era

kyusa

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 4R
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 1R
  3. 3.0 3.1 3.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 8R

Enkolagana ez'ebweru

kyusa