Santa Okot
Santa Okot munnabyabufuzi munnayuganda, mulwanirizi w’abakyala era omusomesa era akola nga Member of Parliament akiikirira Pader District ( Aruu North ) mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu(2021-2026) era nga yeegatta ku kibiina kya People’s Progressive Party ng’ekibiina ky’eby'obufuzi. Santa ye mubaka yekka mu Palamenti ey'ekkumi n'emu nga wa kibiina kya People's Progressive Party . Era yaliko omubaka wa Palamenti ya Uganda ey'omusanvu . Mu 2001, yali mubaka Omukyala owa mu Disitulikiti y’e Pader ng’akiikirira abantu b’essaza ly’e Aruu wansi w’ekibiina kyeby'obufuzi ekya National Resistance Movement . [1] Mu 2006, yavuganya ku ky'omubaka bwa Palamenti kyokka n’awangulwa. [1] Amanyiddwa nnyo olw’okunenyanga gavumenti okugeza abadde akozesa emikutu gy’emutimbagano ng’ekkomo ku bisanja bya pulezidenti biggyibwawo okusobola okuvunaana abakulembeze ba gavumenti. [1]
Okusoma
kyusaAlina diguli eyookubiri mu by'enjigiriza .
Emirimu
kyusaSanta alina obukugu mu busomesa. Mulwanirizi w’abakyala n’abaana. Santa yakolako nga Policy facilitator mu African Leadership Institute. Mu kiseera kino ye mumyuka w'omuwandiisi omukulu ow'ekibiina kya People's Progressive Party . Era ye Certified Peace Builder era Omuteesa. Mu PPP, Ms Okot ye ssentebe wa liigi y’abakyala ekiikirira ekitundu ky’obukiikakkono .
Obuvunaanyizibwa obulala
kyusaYali muteesa ku nzikiriziganya wakati wa gavumenti ya Uganda ne LRA, Abayeekera abamanyibwa okuwamba, okukoppa n’okutta obukadde n’obukadde bwa Bannayuganda okuva mu bitundu by'omumambuka ga Uganda.