1. REDIRECT Template:Charles Muwanga

Senkuluze = Enkuluze ennene (Encyclopaedia,connotes Voluminous dictionary)

Entry for the French word amour ('love') in a paper encyclopedia (Larousse Universel) and in an online encyclopedia

Senkuluze(encyclopedia ) ye senkulu w’enkuluze kubanga ennyonnyola omulamwa mu bugazi ne mu buziba bwagwo , akawonvu n’akagga .Enkuluze (dictionary) yo esonjola amakulu g’ekigambo mu bumpimpi. Enkuluze enokoolayo n'esonjola amakulu g’ebigambo(defines) ate ssenkuluze n’ennyonyola(explains) ebyafaayo, amakulu, etimologia(ensibuko) , n’obukulu bwabyo.

Senkuluze eno egenderera kuyamba abo abaagala okukola okunoonyereza kwa sayansi mu lulimi oluganda. Sayansi yetaagisa nnyo okumanyisa omuntu ngeri Ensi gy’eyimiriddewo n’okuyiga engeri ebintu gye bikola oba gye bikolebwamu mu bulamu obwa bulijjo.

Ekyokulabirako senkuluze eyamba omuntu atali munnasayansi okumanya enjawulo eriwo wakati w'ekinonoozo ekiwunda ebyuma by’amakolero (industrial machinery designing engineering) n'ekinonoozo ekiddaabiriza(maintenance engineering).