Shanita Namuyimbwa, amanyiddwa nga Bad Black, munayuganda omukyakaze era omusaasanyi w'ensimbi.

Ebyafaayo n'okusoma

kyusa

Namuyimbwa, amannya ge amatuufu ye Latifah Nalukenge, yazaalibwa 27 Ogw'okumineebiri 1989, e Zana, Uganda, ku luguudo olwa Kampala- Entebbe. Yasomera ku ssomero elya Midland Primary School, e Kawempe, ekitundu ekiriraanye obuvanjuba bw'ekibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Yakoma mu Senior 2 (ekikwatagana n'omwaka ogusembayo mu Middle School), kubigambibwa nti yali abuliddwa ebisale by'essomero. Tekitegeerekeka Ssomero lya sekendule tuufu lyeyalimu.

Emirimu gy'okutandika okwetunda

kyusa

Mu bujulizi bwe mu kkooti, ng'akubye ekirayiro Shanita yafuuka omutunzi w'akaboozi mu 2005. Nga kino tekinnabaawo, yali agezezzaako okukola emirimu egy'enjawulo egy'obusuubuzi, omuli n'okutunda ebyamaguzi ku nguudo z'e Kampala.

Okusinziira ku Shanita, yafunanga doola za Amerika 200 buli lunaku, nga yetunda eri bakasitoma basatu mu buli esaawa 24 kyenkana. Yeekwatanga abasajja ab'engeri eya Caucasian "kubanga baalina doola, ze nnali njagala ennyo". Yakoleranga nyo ku Kampala Speke Hotel

 
Speke Hotel Kampala

Shanita Namuyimbwa asisinkana David Greenhalgh

kyusa

Mu June 2009 mu Rock Gardens mu Speke Hotel, mu Kampala, Shanita Namuyimbwa, ow'emyaka 19.5 yasisinkana David Greenhalgh, ow'emyaka 51, omusuubuzi Omungereza eyali omufumbo okuva mu Burgess Hill, West Sussex, Bungereza era nga yalina abaana babiri. Bombi baatandika enkolagana ey'omukwano era nebawaanyisiganya ennamba z'essimu . Oluvannyuma bafuna eby'okunywa era nebasula bombi nga bamaze okukaanya ku miwendo gyeyalina okuweebw.

Mu bbanga lya myezi mitono, enkolagana yakula okuva ku kwetaba okw'obusuubuzi okutuuka ku kwetaga okw'omukyala. Yagulawo akawunti mu mannya ge mu bbanka mu linnya lye, mu nsimbi eza Uganda ne mu doola za Amerika. Yamufunira ennyumba e Munyonyo, ekitundu eky'ebbeeyi ekiriraanye Kampala, ku lubalama olw'ammambuka g'ennyanja Victoria (eyaliennyanja Nalubaale). Yateekamu sente mu kulambula kwabwe bombi mu bifo eby'enjawulo omuli Nairobi, Kenya ne Dubai, United Arab Emirates. Era yateeka ne ssente mu bbanka n'alagira abantu abalala okuteeka ssente ezisoba mu bukadde bwa doola za Amerika 4 mu bbanki kweyali omusigire. Namuyimbwa yafuna olubuto lwa David Greenhalgh.

Ebizibu mu mateeka

kyusa

Ku nkomerero y'omwaka gwa 2011 nga tewannayita na myeezi 18 nga basisinkanye, David Greenhalgh yaggula omusango egy'obubbi ku Namuyimbwa n'omu kubasuubuzi b'omu Kampala Meddie Ssentongo.

Omusango gwawulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire, gwatandika mu Ogwokubiri 2012, mu Anti Corruption Division ya kooti ensukkulumu mu Uganda mu Kampala. Mu Ogwomusanvu 2012, Shanita yasibibwa olw'okubba obuwumbi bwa USh 11 (US$3,824,130 mu kiseera ekyo), okuva ku banka akawunti eya Davishan Development Uganda Limited, kkampuni Greenhalgh mweyalina ebitundu 75 eby'emigabo nga Namuyimbwa yalinako ebitundu 25 ku kikumi. Munne wa Shanita, Meddie Ssentongo yavunaanibwa omusango gw'okugezaako okufera kampuni.

OMulamuzi yawa Namuyimbwa ekibonerezo kya kusibwa emyaaka ena ate Meddie Ssentongo n'asibwa emyeezi 18 mu komera.

Obulamu oluvannyuma lw'ekkomera

kyusa

Oluvannyuma lw'okusibibwa emyaka ena, yateebwa okuva mu kkomera nga 14 Ogwokusatu 2016. Tewali nnusu ku bukadde bwa US$3.9 bweyali avunaanibwa bwakomezebwaawo.

Ebirala bye yakola ebimenya amateeka mwe mwali okukwatibwa ku kisaawe ky'ennyonyi ekya Kigali International Airport mu Ogw'ekkumi 2013, ku tteeka ly'okunoonyezebwa ekitongole kya poliisi eky'ensi yonna Interpol bweyamusaako ekibaluwa kibakuntumye ng'agezaako okwebalama akakalu ka kooti mu Kampala. Yakomezebwawo mu Uganda.

Mu 2020, mu kiseera ky'omuggalo gwa COVID-19, Bad Black yekwata akatambi ng'akubiriza bamalaaya abalala mu ggwanga okwewala okwegatta n'abavuzi b'ebimmotoka eby'engendo empanvu, abaali mu kabaate ak'okufuna obulwadde. Minisitule y'eby'obulamu mu Uganda yalina ekirowoozo nti okulabikira kwe kwali kwa kubayamba, naye n'agamba nti alina okusasulwa olw'okulabikiramu. Bwe yali tanasasulwa, yatiisa okufulumya amannya g'abakungu ba gavumenti abaali babeyambisa nga tebabasasula. Oluvannyuma yasasulwa olw'emirimu gye okuyita mu Balaamu Barugahare, pulomoota w'ennyimba. Bad Black yakkiriza okusasulwa. Omuwendo gwa sente ezamuweebwa tezaamanyika.

Amaka

kyusa

Mu Ogwomunaana 2020, Namuyimbwa yali maama w'abaana basatu: 1. Omuwala eyazaalibwa awo nga mu 2007, kitaawe yali Muyuganda eyali omufirika 2. Omwana ow'obulenzi eyazaalibwa mu Ogusooka 2010, kitaawe wa omu Potugo era ne 3. Omwana ow'obulenzi yazaalibwa mu Ogwokutaano 2012, kitaawe ye David Greenhalgh, omutuuze wa Bungereza ow'obuzaale bwa Caucasus. Abasajja bonna abasatu mu kiseera ekimu baaliko bakasitoma ba maama w'abaana.

Laba era

kyusa

Ebyawandiikibwa

kyusa

Enkolagana ez'ebweru

kyusa