Sheila Nduhukire

Munnamawulire

Sheila Nduhukire yazaalibwa 23 Ogwokuna 1990 munnayuganda nga munnamawulire, musunsuzi era musomi w'amawulire omukulu ne NBS Television era ali mu kibiina kya 2017 International Women's Media Foundation (IWMF) Great Lakes Reporting Initiative cohort.

Sheila yali musomi w'amawulire omukulu ku NTV Uganda. mukugu mu kusaka ng'anoonyereza ku eby'obufuzi ebiriwo,obuzibu ku by'enfuna n'ensonga ezikwata ku bantu ababulijjo.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Sheila mwana wa kubiri ku baana omusanvu e Kazo mu disitulikiti eye Kiruhura. Yasomera ku Uganda Martyr's SS Namugongo gyeyatuulira Uganda Certificate of Education (UCE) oluvannyuma yegatta ku Bweranyangi Girls SS gyeyatuulira Uganda Advanced Certification of Education (UACE) oluvannyuma n'aweebwa ekifo ku Mbarara University of Science and Technology (MUST) okufuna diguli esooka eya Bachelor of Business Administration, ng'eno gyeyalondebwa ng'omukulembeze w'abayizi.

Omulimu gwe ogw'amawulire

kyusa

Oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye ku MUST, yakola ng'omusasi w'amawulire ku Red Pepper era oluvannyuma n'afuna okugezesebwa ku Palamenti ya Uganda ng'akola ng'omusasi ne Daily Monitor, ekyamusobozesa okufuna obukugu obwamusobozesa okuyingira mu NTV Uganda gye yamala n'ava okwegatta ku NBS Television.

Ebyawandiikibwa

kyusa