Sheraton Kampala Hotel yeemu ku wooteri ennene era ezamanyi mu kibuga Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. [1] Sheraton yemu ku wooteri entono mu Uganda eziri mu mutendera oguyitibwa Five Star omutendera guno gupimibwa okusinziira ku mutindo gwa wooteri okutwaliza awamu era nga wooteeri okuba mu ttuluba erya five star kitegeeza nti ebya yakikungu ddala. Mu Uganda ensengeka yemitendera gya wooteri ekolebwa ekitongole ekivunaanyizibwa okutumbula eby'obulambuzi mu ggwanga ki Uganda Tourism Board.[2][3]

Sheraton Kampala Hotel

Endagiriro

kyusa

Wooteeri eno etudde ku lusozi Nakasero mu Kampala Central Division . Nakasero kifo ekimanyiddwa okuba ekyabakungu era nga ensengeka za wooteeri eno ku maapu ze zino:0°19'00.0"N, 32°35'01.0"E (Obukiika:0.316667; Obusimba:32.583611). [4]

Ebyafaayo

kyusa

Wooteeri eno yaggulwawo ku kiro ekyakulembera okujaguza emyaka 5 nga Uganda yeefuze nga 8 Ogwekkumi, 1967 era nga mu biro ebyo yayitibwanga Apolo Hotel. Wooteeri eno yaggulwawo eyaliko Ssaabaminisita era Pulezidenti wa Uganda Apollo Milton Obote era nga yali emubbuddwamu. [5] Oluvanyuma lwa Obote okuwambibwa munnamaje Idi Amin mu mwaka 1971, wooteeri eno yakyuusibwa erinnya era netuumibwa Kampala International Hotel. [6] Oluvanyuma Amin naye yafuumuulwa ku bukulembeze bwa Uganda mu lutalo olwenyigirwamu amaje Tanzania era negakuba enkambi wano era bwegavaawo newasigalawo amaje ga Uganda National Liberation Army mumwaka 1979 oluvannyuma mu mwaka 1980 Milton Obote yaddamu okukwata obuyinza era wooteeri eno yaddamu okujituuma Apolo Hotel. [6] Obote era yawambibwa amaje era nga n'olutalo lwekiyeekera olwakulemberwa Yoweri Museveni bwe lugenda mu maaso. Oluvannyuma abayekera bakwata gavumenti mu mwaka 1986 era gavumenti eno eya National Resistance Movement mu mwaka 1987 nga egenderera okuzza ebyenfuna mu mikono gyabantu babulijjo yawa ba musiga nsimbi okuva mu kyondo kya Buwarabu liizi yamyaka 25 okuddukukanya wooteeri eno. Gavumenti okukola kino yayita Apolo Hotel Corporation Limited, kkampuni ya gavumenti ya Uganda eyali eddukanya wooteeri eno. Ekyaddirira kwali kuddaabiriza Wooteeri era neggulwawo mu nwaka 1991 nga eyiibwa Sheraton Kampala Hotel bwe yaggulwawo mu 1991 nga eri wansi wa Sheraton Hotels ezisangibwa mu mawanga manji okwetoloola ensi. Olukomera olwayawula nga wooteri eno n'ekibangirizi ki Jubilee Park lwamenyebwa era ekibangiirizi nekifuuka kitundu ku wooteri nekituumibwa Sheraton Gardens era woteeri eno ezze eddaabirizibwa okwongera okujikuumira ku mutindo [7] [8]

Laba ne bino

kyusa

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2023-12-02. Retrieved 2024-09-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. Barigaba, Julius (4 July 2015). "Hotels In Kampala Get Classified, Seven Years On". The EastAfrican. Nairobi. Archived from the original on 5 July 2015. Retrieved 4 July 2015.
  3. https://utb.go.ug/hotels/
  4. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'00.0%22N+32%C2%B035'01.0%22E/@0.3228032,32.6046552,14z/data=!4m2!3m1!1s0x0:0x0
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1003479/history-november-1961
  6. 6.0 6.1 https://www.nytimes.com/1981/04/20/world/a-stylish-hotel-lives-to-mirror-uganda-s-fate.html
  7. http://www.european-times.com/sector/hotels-restaurants-bars/sheraton-kampala-hotel/
  8. http://www.newvision.co.ug/news/664358-sheraton-to-attract-more-tourists.html