Shilla Omuriwe Buyungo (ebiseera ebisinga gwebatera okuyita Shilla Allison Omuriwe Buyungo[1]) (yazalibwa mu mwezo ogw'omusanvu nga 17 1977) nga munayuganda azannya volleyball, n'okutendeka ttiimu ya Volleyball eya Uganda Volleyball Cranes ey'abasajja. Buyungo yalondebwa mu kifo kino mu mwezi ogw'omusanzi 2021 ekyamufuula omukazi eyasooka okubeera n'ekifo kino.Ye mukazi era eyasooka okutendeka mu mpaka za African Club Championship mu 2015 ezaali mu Tunisia.

Obuvo n'eby'enjigiriza

kyusa

Buyungo yasomera ku Wanyange Girls School gyeyava okugenda ku, Makerere University gyeyafunira diguli mu by'embeera z'abantu ng'esira yaliteeka ku byabufuzi n'enzirukanya y'ebintu eby'enjawulo ebyabulijo.[2][3][1] Buyungo yegata ku University of Bridgeport [4]okukola diguli ey'okubiri mu by'okubudabuda abantu( esira nga yasinga kuliteeka ku byakulakulanya bakozi ne diguli ey'okubiri mu kudukanya bizineensi.[1]

Buyungo alina[5]Alina dipulooma mu kutendeka ttiimu y'ensi yonna gyebafuna okuva mu University of Leipzig e Germany.[6]

Emirimu

kyusa

Mu 2013, Buyungo yali azannyira ttiimu ya Volleyball ey'eggwanga ey'abakazi nga libero.[7][8] Buyungo yazannyira ttiimu ya volleyball eya yinivasite ya Bridgeport gyebayita Purple Knights okumala emyaka ebiri.[9] N'afuna MBA kutendekero lyerimu, yakolako ng'omumyuka w'omutedesi wakati 2007 ne 2009. Wakati awo, yeyali atendeka abawala mu Connecticut Sports Centre mu 2008-2009. Ng'akyali mu United States, Buyungo yazannyirako ttiimu nga West Port, Wilton ne Fair field volleyball.

Omuriwe abadde mu bifo eby'enjawulo byabadde akolamu nga: mu 2014 ne 2018, yeyali atendeka ttiimu y'abasajja eya Kampala Amateur Volleyball Club (KAVC) n'okumala akabanga nga y'ow'eby'ekikugu mu kiraabu eyo.[10]Mu kaseera kano, yakulembera ttiimu eyawangula liigi ya volleyball mu Uganda Uganda Volleyball Federation (UVF) National Volleyball League mu 2014.

Mu 2015 ng'akyatendeka kiraabu ya Kampala Amateur Volleyball Club (KAVC), Omuriwe yafuuka omukazi eyasooka okukulembera ttiimu y'abasajja mu mpaka za CAVB tournament.

Wakati awo, yeyali atendeka abawala abavubuka ku Kampala International School, Uganda (KISU) mu 2016 paka 2017. Oluvannyuma yatendekako ku International School of Uganda (ISU) wakati wa 2018 ne 2019, nga bw'atendeka neku Kyambogo University mu 2017 ne 2018.

Yalekulira kiraabu ya Kampala Amateur Volleyball Club (KAVC) mu 2018 okwegata ku kiraabu ya Airforce Volleyball ng'omutedesi omukulu[11] nga bw'akola n'ogwokumyuka omutendesi ku ttiimu y'abakazi eya Volleyball eyitibwa She Volley Cranes wakati wa 2018 ne 2019.[12]Mu 2021, Omuriwe yyaweebwa eky'obutendesi omukulu ku ttiimu ya Uganda Volleyball Cranes[13][14]

Obulamu bwe

kyusa

Buyungo yafumbirwa Peter Buyungo, omuzannyi wa volleyball mu kiraabu ya Kampala Amateur Volleyball Club (KAVC) nga balina abaana basatu

  1. 1.0 1.1 1.2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/shilla-omuriwe-determined-to-defy-the-odds--3570366?view=htmlamp
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/passing-on-gaming-skills-1725494
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/University_of_Bridgeport
  5. https://www.fivb.com/en/development/news/uganda-staging-level-1-coaching-course?id=45667
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://secure.gravatar.com/Avatar/Bdf8ad8feb487b524b64d036eccd0291?s=42
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.fivb.org/viewHeadlines.asp?No=41400&Language=en
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)http://kawowo.com/2014/01/17/uganda-lady-volleyball-cranes-gets-help/
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.africa-press.net/uganda/all-news/shilla-omuriwe-determined-to-defy-the-odds
  10. https://chimpreports.com/nssf-injects-130m-into-2018-kavc-international/
  11. https://chimpreports.com/shilla-buyungo-named-volleyball-cranes-head-coach/
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-16. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/omuriwe-appointed-volleyball-cranes-coach-3481170
  14. https://www.africanews.com/2021/08/11/uganda-volleyball-team-gets-first-woman-head-coach/