Simon Ayeko
Simon Ayeko (yazaalibwa nga ng'ennaku z'omwezi10 omwezzi ogw'okutaano mu mwaka gwa 1987) Munnayuganda omuddusi w'embiro empanvu era nga kafulu mu kudduka mita enkumi satu ezimanyiddwa nga steeplechase. Yawangulako omudaali gwa gold mu mpaka za Military World Games ez'omwaka gwa 2011. Yaakakiikirira Uganda emirundi ebiri mu mu mpaka z'emisinde ez'ensi yona ezimanyiddwa nga World Championships in Athletics mu mwaka (2009 ne 2011) n'eza IAAF World Cross Country Championships empaka z'emisinde gi mubunabyalo mu mwaka (2006,2011).
Ayeko yafuna obuwanguzi obwamuteeka ku maapu mu mpaka z'omwaka gwa 2007 eza 2007 Summer Universiade gye yawangulira omudaali omutono mu misinde egya mita 5000 wamu n'eza mita omutwalo ogumu. Kyokka era yali omu ku baamaliriza embiro empanvu eza steepchase. Yaliko omuyizi mu Kampala International University.[1] Mu ngeri y'emu yawangula omudaali mu mpaka z'emizannyo gya University mu Africa eza African University Games mu mwaka gwa 2006 mwe yawangulira omudaali gwa siliva mu mbiro eza mita 1500 n'awangula mu mita 5000.[2]
Ebimufudde owaakabi
kyusa- By'akoledde ebweru ebweru w'eggwanga.
- 800 metres – 1:49.00 min (2010)
- 1500 metres – 3:39.60 min (2009)
- 3000 metres – 8:01.91 min (2009)
- 5000 metres – 13:40.5h min (2006)
- 10,000 metres – 30:22.58 min (2007)
- 2000 metres – 5:27.63 min (2010)
- 3000 metres steeplechase – 8:18.04 min (2009)
- ↑ http://allafrica.com/stories/200708131750.html
- ↑ FASU Games Report 2006. Africa University Sports. Retrieved on 2016-08-30.