Sinach
Osinachi Kalu Okoro Egbu,[1] amanyiddwa nga Sinach , muyimbi , muwandiisi wa nnyimba era nga yakulembera okusinza mu Loveworld okutuusa mu mwaka gwa 2021 mu ggwanga lya Nigeria .[2][3] Muyimbi era omuwandiisi w'ennyimba eyasooka okulabikirako ku ntimbe gaggadde okumala wiiki 12 eziddiringana .[4] Oluyimba lwe olwa "Way Maker", lwalondebwa emirundi 3 era neruwangula okuba oluyimba lw'omwaka ku awaadi za GMA Dove ez'omulundi ogwa 51 ekyamufuula omunigeria eyasooka okuziwangula .[5] Sinachi era yawangula oluyimba lw'omwaka mu mpaka za BMI , mu 2021 yasiimibwa mu palamenti ya Amerika eya US Congress bweyali alambula eggwanga eryo .[6]
Yaakafulumya alubaamu z'ennyimba 9 wamu n'ennyimba endala nnyingi okuli "I Know Who I Am", "Great Are You Lord", "Rejoice", "He Did It Again", "Precious Jesus", "The Name of Jesus", "This Is My Season", "Awesome God", "For This", "I Stand Amazed", "Simply Devoted" and "Jesus is Alive".[7][8]
"Way Maker" lwamumanyisa nnyo wamu n'okufuna engule nnyingi okuva lwe lwafuluma mu 2015. Akatambi ka Way Maker ke kookubiri mu butambi obusinga okwekenneenyezebwa mu Nigeria ku mukutu gwa youtube .[9] Mu gwookusatu gwa 2019, akatambi k'oluyimba luno kakwata ekifo eky'okusatu mu Nigeria bwe kaweza abalabi obukadde 100 ku mukutu gwa youtube nga akulembeddwa Fall olwa Davido ne Jon[10]ny olwa Yemi Alade.[11] "Way Maker" luddiddwamu abayimbi abalala 60 okuli Michael W. Smith, Darlene Zschech, Leeland, Bethel Music, and Mandisa nga luyimbiddwa ne mu nnimi endala nnyingi.[12][13][14] Mu wiiki ezaasooka mu muggalo ogwaleetebwa Corona Virus mu 2020 , oluyimba luno lwakwata akati nga wano obutambi obw'enjawulo bwa kwatibwa mu malwaliro, paaka ,nga bulimu abantu bangi nga bayimba . .[15] Oluvannyuma lw'okubeera oluyimba olwakulembera ennyimba 100 okumala ebbanga mu Christian Copyright Licensing International mu 2020 okuva mu gw'omukaaga okutuuka mu mwezi gw'ekkumi neebiri , ekyalufuula oluyimba olusinze okuzannyibwa mu kkanisa mu mawanga ga Amerika mu 2020 .[16][17]
Sinach yafuna satifikeeti y'ekijjukizo eya Bethlehem Hall of Faith bwe yali akyaddeko mu Isirayiri mu gw'ekkumi n'ebiri 2017 .[18] Mu gw'omwenda gwa 2019, Sinach yafuuka omuyimbi w'eddiini okuva mu Afrika eyasooka okulambula Buyindi , nga ategese ebivvulu ebyetabibwako enkumi n'enkumi z'abantu.[19] Mu gw'okutaano gwa 2020, yafuuka omuyimbi eyasooka okuva mu Afrika okukulembera olutimbe gaggadde ng'omuwandiisi w'ennyimba z'eddiini .[20]
Ebimukwatako
kyusaObuto bwe
kyusaSinach ava mu Ebonyi State, mu bugwanjuba Nigeria, era muwala owookubiri ku baana musanvu .[21]
Sinach yatandiika okuyimira famire ye ne mikwano gye mu 1989 ng'ekinyumu , bwe yali omukozi era omu ku bayimbi mu kwaya ya Christ Embassy, Ekkanisa y'omusumba Chris Oyakhilome's .[22] Yasoma physics era natikkirwa mu yunivasite ya Port Harcourt, Rivers State, Nigeria.[23] Yasooka nayagala okusooka okuvaako mu Nigeria oluvannyuma lw'okutikkirwa , wabula omusumbawe Chris Oyakhilome naamuwabula obutakikola .[24]
EBIKWATA KU BULAMU BWE
kyusaMu 2014, Sinach yafumbirwa Joseph Egbu mu kkanisa ye eya Christ Embassy. Nga 17 ogw'ekkumi n'ogumu 2019, ku awaadi za LIMA , omusumba Chris Oyakhilome, yalangirira omwana wa Sinach eyasooka Amyoli Mbilase.[25]
Okuyimba kwe
kyusaNg'omwana , Sinach yategeeza nti yalinanga ebirooto nga yeeraba ayimbira abantu abayitirivu , wabula teyatwala kuyimba nga ekintu kyagenda okusomerera . okujjako okwegatta ku kwaya ya Christ Embassy wamu n'okukola ng'omukozi mu kkanisa eno . Sinach yali yawandiika ennyimba nnyingi nga tannafulumya alubaamu ye eyasooka mu 2008.[26] Oluyimba lwe olwa 'This Is Your Season' lwawungula okubeera oluyimba lw'omwaka mu 2008.
Bwetwogera ku linnya lye erya sitaage agamba " neerondera erinnya okuva mu linnya lyange erya Osinachi olw'ensonga nti lyanguwa okusoma era nga likwatika"[27]
Mu 2016, Sinach yeeyasooka okufuna engule y'omuwandiisi w'ennyimba asinze mu myaka kumi eya LIMA Songwriter of the Decade Award, ng'asiimibwa olw'ettoffaali lyagasse ku nnyimba z'eddiini mu myaka 10 egyiyise. Ennyimbaze zaayimbibwanga mu nsi nnyingi , [28] era zaakyusibwanga mu nnimi nnyingi okwetoolola ensi .[29] Mu mwaka gwe gumu , yafuna awaadi ya African Achievers' Award for Global Excellence.[30] Mu mwaka gwe gumu , omulundi ogw'okubiri oguddiringana ,[31] yawangula omuyimbi asinze mu bugwa njuba bwa Afrika mu Groove Awards mu Kenya,era yasomebwa mu YNaija wamu ne Chris Oyakhilome, Enoch Adeboye ng'omu ku bakkiriza 100 abakyusizza abantu mu Nigeria.[32]
Ng'omuwandiisi w'ennyimba , Sinach awandiise enyimba ezisoba mu 200 era awangudde n'engule eziwera . Oluyimba lwe olwa 'This Is Your Season' lwawangula awaadi y'oluyimba olusinze mu mwaka gwa 2008. Olumu ku nnyimbaze ezisinze okumanyika lwe lwa 'I Know Who I Am'.[33]
Sinach ayimbye era nakulembera ebivvulu mu nsi eziwera 50 [34] okuli Kenya, Dominica, South Africa, United States, Canada, Antigua & Barbda, Trinidad and Tobago, Jamaica, Grenada, Uganda, Barbados, British Virgin Islands, Zambia, Saint Maarten, United Kingdom and India[35]
Sinach era yayimbira ne mu nsi ye mu kivvulu ekyategekebwa omusumba ow'oku ntikko owa Metropolitan House on the Rock churches ,omusumba Paul Adefarasin, era yayimba ne ku lukungaana lwa Women on the Winning Edge Conference olwa buli mwaka olwakyazibwa Funke Felix-Adejumo.[36][37]
Bwe yali anyumyamu n'omu ku bannamawulire b'abayimbi , Motolani Alake owa Pulse Nigeria, Sinach yategeeza nga Katonda bweyamusibira mu buweereza bw'enjiri ng'ayita mu mafuta g'omusumba Chris Oyakhilome.[38]
Mu gw'ekkumi neebiri 22, 2020, yawangula engule y'omuyimbi w'eddiini asinga ku mukolo ogw'okusatu ogw'empaka za African Entertainment Awards USA, .
Mu gw'okubiri 2021, Sinach yalangirira okufulumya alubaamu ye ey'omulundi ogwe 12 gye yatuuma GREATEST LORD nga erimu abayimbi abeekoledde erinnya mu kuyimba ennyimba z'eddiini ez'enjawulo okuli Maranda Curtis, Darlene Zschech, Nathaniel Bassey, Panam Percy Paul, Micah Stampley, Leeland and Jekalyn Carr.
YEAR OF RELEASE | ALBUM | TYPE OF RECORDING |
---|---|---|
2007 | Chapter One | Studio Album |
2010 | I'm Blessed | Studio Album |
2011 | From Glory to Glory | Live |
2012 | Shout it Loud | Live |
2013 | Sinach at Christmas | Studio Album |
2014 | The Name of Jesus | Live |
2016 | Way Maker | Single |
2018 | There's an Overflow | Live |
2019 | Great God – Live in London | Live |
2020 | Acoustics – Volume 1 | Acoustics |
2020 | Acoustics – Volume 2 | Acoustics |
2021 | Greatest Lord | Studio |
2021 | Live At Easter | Live |
- ↑ "Dove Awards name for KING & COUNTRY top artist"
- ↑ "Who is Sinach". Daily Media. DailyMedia Nigeria. 26 May 2016. Retrieved 26 September 2017.
- ↑ "Sinach". 9999CarolSingers. Retrieved 3 June 2014.
- ↑ https://www.thechristianbeat.org/index.php/news/7783-sinach-named-top-christian-songwriter-for-twelve-weeks-in-a-row
- ↑ https://www.vanguardngr.com/2020/11/2020-dove-awards-sinachs-way-maker-emerges-song-of-the-year/
- ↑ https://www.vanguardngr.com/2020/11/2020-dove-awards-sinachs-way-maker-emerges-song-of-the-year/
- ↑ https://www.vanguardngr.com/2020/11/2020-dove-awards-sinachs-way-maker-emerges-song-of-the-year/
- ↑ https://www.vanguardngr.com/2020/11/2020-dove-awards-sinachs-way-maker-emerges-song-of-the-year/
- ↑ https://www.vanguardngr.com/2020/11/2020-dove-awards-sinachs-way-maker-emerges-song-of-the-year/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-07. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.modernghana.com/nollywood/35690/sinach-set-to-host-1st-edition-of-annual-mega-conc.html
- ↑ https://www.modernghana.com/nollywood/35690/sinach-set-to-host-1st-edition-of-annual-mega-conc.html
- ↑ https://www.modernghana.com/nollywood/35690/sinach-set-to-host-1st-edition-of-annual-mega-conc.html
- ↑ https://www.modernghana.com/nollywood/35690/sinach-set-to-host-1st-edition-of-annual-mega-conc.html
- ↑ https://www.modernghana.com/nollywood/35690/sinach-set-to-host-1st-edition-of-annual-mega-conc.html
- ↑ https://www.ugchristiannews.com/way-maker-reaches-top-spot-in-christian-copyright-licensing-international/
- ↑ https://www.ugchristiannews.com/way-maker-reaches-top-spot-in-christian-copyright-licensing-international/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-15. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-15. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Nebianet Usaini (6 May 2020). "Sinach Becomes First African To Top Billboard 'Christian Songwriters' Chart". Channels TV. Retrieved 7 May 2020.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-15. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Bonface Nyaga, 'I know who I am' – Sinach, nairobinews.nation.co.ke, Kenya, 4 December 2016
- ↑ Naledi Sande, Nigerian singer Sinach to perform in Harare, herald.co.zw, Zimbabwe, 7 September 2016
- ↑ Claudia E. Dianou, Voici tout ce qu'il faut connaitre de la figure de proue du Gospel africain Sinach, beninwebtv.com, Benin, 16 March 2019
- ↑ Praise, Olowe; Sunday, Akpan (17 November 2019). "Sinach welcomes first child five years after". The nation.
- ↑ https://www.pulse.ng/gist/good-news-gospel-singer-sinach-set-for-the-altar/wwrttdv
- ↑ https://africanvoiceonline.co.uk/sinach-set-rock-london/
- ↑ http://www.konnectafrica.net/osinachi-kalu-sinach/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-03-24. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Groove Awards (12 December 2015). "Groove 2015 Winners". Groove Awards. Retrieved 26 September 2017.
- ↑ Groove Awards (12 December 2015). "Groove 2015 Winners". Groove Awards. Retrieved 26 September 2017.
- ↑ https://ynaija.com/yynaija-com-church-culture-present-100-influential-people-christian-ministry-nigeria/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-27. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Sinach". Spotify. Retrieved 23 November 2019.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-24. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.vanguardngr.com/2022/01/winning-edge-2022-funke-felix-adejumo-hosts-nathaniel-bassey-ebenezer-sinach-others/
- ↑ https://punchng.com/moen-sinach-others-for-the-experience/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-02-21. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)