Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba ka Sirikooni era oyinza okukayita atomu ya Sirikoni (siricon atom)mu Luganda.

silicon

Omulangaatira gw’enjuba omumyufu bwe gukaddiwa ne guggwamu amafuta ga keriyamu (helium fuel), gutandika okukyusa atomu za sirikooni yenna akolebwa mu ngeri eno, munda mw’enjuba emyufu eno omulangaatira.

Sirikooni azitowa okusinga okisegyeni kubanga okisigyeni alina obukontanyo 8 bwokka mu makkati ge ate nga sirikoni alina 14. Enjuba bw’eggwibwako okisigyeni etandika okukyusa sirikoni okumufuula erementi enzito okusingawo eya kkalwe (iron).

Omulangaatira gw’enjuba omumyufu bwe gufuuka semufu (supernova) ne gwabika, sirikooni asigaddewo munda mu njuba awaguza n’afuluma okuyingira obwengula n’afuuka ekitundu ku nabire empya. Sirikooni si muggumivu era tasobola kubaawo yekka ku bubwe ng’ali wabweru w’enjuba. Sirikooni ky’akola kwe kwekwata ku atomu ez’ekika ekirala oba okwekwata ku atomu za sirikooni endala, okukola molekyu.

Enkulungo (planet) bwe zitondekebwawo, ezimu ku atomu za sirikooni zifuuka kitundu ku nkulungo ezo empya. Kimu kya kuna eky’amagombe g’enkulungo y’Ensi galimu atomu za sirikoni.

Enjazi nga “kyalwazi” (quartz), ferisipaali (feldspar) ne golanayiti (granite) zikolebwa “siriko” (silica). Omusenyu gwo ku mbalama z’ennyanja ogusinga nagwo gukolebwa siriko (silica). Ebimera n’ensolo zonna byetaaga ebipimo bya siriko ebitono okubaawo yadde nga siriko wa mugaso okusinga mu bimera.

Kubanga sirikooni alabika nnyo, abantu nabo bakozesa sirikooni okukola ebirawuli ne mu kukola kompyuta. Ne ppati owa siriko (silly putty) naye akolebwa mu sirikooni.