Sombe
Ebirungo
kyusaEbirungo ebikulu ebitekebwa mu sombe mulimu;
- Ebikoola bya muwogo, butto w'ebinazi, eky'enyanja ekikalu oba ekikalirire, ekika ky'ennyama kimu oba bibiri nga ennyama y'embbizi, enyama y'ente.[1]
Ebirungo ebirala ebisobola okukozesebwa;
Engeri gy'ebafumbamu Sombe
kyusaSombe afumbibwa nnyo Abakonzo. Naye era afumbibwa Abakongo, Abannarwanda [3] mpozzi n'amawanga amalala mu Uganda.
Engeri ebikola bya muwogo gye binogebwamu
kyusaEbikola bya muwogo ebito binogebwa mu budde bwonna wabula kigambibwa nti kisanidde binogebwe mu budde bw'okumakya okwewala okwokyebwako omusana n'oluvanyuma byanikibwa okumala esaawa 1 ku 3 okukendeeza ku bukaawu bw'ebikoola ebyo.[4] Ebikoola bwebiba tebyanikiddwako, bikalangibwa mu sseppiki okukendeezako okukaawa okuli mu bikoola ebyo. Endu n'ebikoola ebibiri ebisooka waggulu bye biragirwa okunoga anti bibeera bionvu era biggya mangu nga bifumbiddwa.
Okusekula/ okusa ebikoola bya muwogo
kyusa- Nga ebikoola ebitto tebinnaba kusekulwa, ebikoola bino birina okugibwa ku buti bw'abwo.
- Ebikoola bino oluvanyuma by'ozebwa mu mazzi agabuguma oba ag'ekisu okuggyako obuwuka obutonotono n'amakovu ebiyinza okuggirako, pupa, dust n'ebisigalira ebirala.[5][6]
- Oluvanyuma ebikoola biteekebwa ku Mmota ey'ekibaawo oba ey'ekyuma okubisekula okutuusa lw'ebigonda.[5] Okubigonza amangu, ebirungo ebirala nga ebikoola bya mayuuni, spinach oba ekinyirikisi bisekulwa wamu n'ebikola bya muwogo mu mmota y'emu bisobole okwetabula wamu.
Okufumba ebikoola bya muwogo ebisekuddwa
kyusaOluvanyuma lw'okusekula ebikoola bya muwogo, ssi kyabuwaze okuddamu okubyoza nga tebinnateekebwa mu ntamu. Waliwo engeri bbiri ez'okufumbamu sombe era nga z'ezino;
Okufumba sombe ng'okozesa buto w'ekinazi
kyusaButto w'ekinazi ayiibwa mu ntamu ebugumye naye ng'omuliro gw'akigero era bw'aggya amazzi g'ongerwamu. Amazzi gano gateekebwa ku muliro okutuusa lwe gatokota. Oluvanyuma ebikola biri eby'asekkuddwa bigattibwa mu mazzi ago ag'eseze n'ebifumbibwa okumala ddakiika 40 ku saawa 1 okuggya. Nga bifumbibwa, essepiki tebikkibwako olwo ekirungo kya Hydrocyanic acid (HCN) kisobole okuva mu bikoola ebyo.[5]
Okufumbisa butto w'abulijjo
kyusaSombe asobola okufumbibwa ng'okozesa butto omulala ng'ekirala eky'okukozesa ekitali butto w'ekinazi.
Okwongeramu ebirungo ebirala
kyusaEbirungo ebirala nga ennyanya, katungulukyumu, obunzaali, omunnyo,green paper, red pepper n'ebirala bisooka kufumbibwa mu ntamu ey'enjjawulo nga bisikiddwa. Bigattibwa mu bikoola ebitokoseddwa wamu n'ennyama oba eby'enyanja. Oba bisobola okugattiibwamu ng'ebula eddakiika 10 ku 15 balyoke bagattemu ennyama, eby'enyanja oba ebinyebwa. N'ebirala ebitali bifumbe ng'obutungulu, katungulukyumu bisobola okugattibwa mu bikoola bya muwogo ebyo.
Okugattibwa kw'ennyama oba eby'enyanja mu bikoola bya muwogo ebitokoseddwa
kyusaOkugattamu eby'enyanja
kyusaEky'enyanja ekikaklu oba ekikalirire ekimanyikiddwa nga Makayabu basooka ku kinnyika mumazzi agabuguma okukendeeza ku munnyo ogukibaako n'okugonza ennyama y'akyo. Eky'enyanja kino ekinyikiddwa, oluvanyuma kigattibwa mu bikoola bya muwogo ebitokoseddwa okumala esaawa emu era ekivaamu kye kiyitibwa Sombe.
Okugattamu ekika ky'ennyama ekirala
kyusaEnnyama yonna elondeddwa okugeza embizzi, ennyama y'ente, ennyama y'embuzi esooka kuteekebwateekebwa yokka emabbali nga tennagattibwa mu bikoola bya muwogo ebitokoseddwa. Esobola okw'okyebwako, okutokosebwako n'oluvanyuma n'enyukibwa mu buto. Ennyama ng'eyidde egattibwa mu bikoola bya muwogo ebitokoseddwa ne bitokosebwa wamu okumala esaawa emu olwo ne bifuuka Sombe.
Ku lw'abantu abatalya nnyama, ebinyebwa bye bitera okukozesebwa okukola sombe. Bisooka kusekulwa n'ebifuuka ebitole, n'ebiteekebwamu amazzi okubijabuululamu. Ebikoola bya muwogo bwebijja, bitabulibwa mu binyeebwa biri olwo ne bifumbira okumala eddakiika 40 ku esaawa emu
Okugabula sombe
kyusaSombe agabulwa ng'akyayokya n'emuceere, Akalo (tapioca agoyeddwa), lumonde, Muwogo omufumbe, akawunga n'emmere eddala gy'ewandyagadde.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/a-day-at-ggaba-landing-site-1657082
- ↑ https://826boston.org/student-work/sombe-cassava-leaves-recipe/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/celebrating-east-african-culture-at-mavuno-yetu-1589390
- ↑ https://akitcheninuganda.com/2016/09/12/sombe-cassava-leaves-soup/
- ↑ 5.0 5.1 5.2 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/cassava-an-all-round-delicacy-1557226
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)