Ssekabaka Daudi Cwa II

kabaka ow'e Buganda

Daudi Chwa II KCMG KBE yali kabaka wa Buganda okuva mu 1897 okutuuka mu 1939.Ye Kabaka wa Buganda owa 34.

Ssekabaka Daudi Cwa II of Buganda

Obulamu bwe

kyusa

Yazaalibwa nga 8 Muwakanya (August) 1896, e Mengo. Ye mulenzi owookutaano mu batabani ba Kabaka Danieri Basammula-Ekkere Mwanga II Mukasa, eyafuga Obuganda, wakati wa 1884 okutuusa mu 1888 ne 1889 okutuusa mu 1897. Nnyina ye yali Naabakyala Evalini Kulabako, Owengabi, nga ye yali omukyala owookuna ku bakyala 16 Kabaka Mwanga be yalina. Yatuuzibwa ku Namulondo mu Muwakanya (August) wa 1897 mu kiseera nga kitaawe amaze okuwaŋŋangusibwa Abafuzi b'amatwale Abangereza. Mukiseera we yafuukira Kabaka ya wa mwaka gumu. Teyakyusa Kibuga, yasigala Mengo mu lubiri olwali olwa kitaawe - Mwanga II. Yasomera ku ssomero lya Kings College Budo

Nga 8 August 1914, yaweebwa ekitiibwa eky'eddaala lya lieutenant mu magye ga Bungereza,[1] oluvannyuma n'afuulibwa captain nga 22 Mutunda (September) 1917.[2] Yayongerwako ekitiibwa kya honorary Companion of the Order of St. Michael and St. George (CMG) mu 1918 New Year Honours,[3] era oluvannyuma yayongerwako ekitiibwa kya honorary Knight Commander (KCMG) nga 16 February 1925.[4] Cwa era yayongerwako ekitiibwa kya honorary Knight Commander of the Order of the British Empire (KBE) ku matikkira ga 1937 Coronation Honours.[5] Yayongerwa amayinja okutuuka ku kitiibwa kya Commander of the Order of the Crown owa Belgium mu 1918.

Abaana be

kyusa

Yazaala abaana 36 (abamanyikiddwa); abalenzi 20 n'abawala 16:

Offspring Birthday
1. Eva Irini Alice Zalwango 15 Ntenvu 1915
2. Uniya Mary Namaalwa 28 Muwakanya 1916
3. Airini Dulusira Nga'nda Ndagire 31 Mukulukusabitungotungo 1916
4. Kasalina Nnaamukaabya Nassimbwa 11 Museenene 1918
5. George William Mawanda 10 Gatonnya 1919
6. Kasalina Gertrude Tebattagwabwe Nnaabanaakulya 30 Ssebaaseka 1919
7. Margret Julian Lwantale 13 Ssebaaseka 1920
8. Victoria Beatrice Namikka Mpologoma Kamuwanda 21 Mukulukusabitungotungo 1920
9. Frederick Robert Sekamaanya Kayondo 17 Museenene 1920
10. Edisa Manjeri Namirembe Nabweteme 19 Ntenvu 1920
11. Edward William David Walugembe Mukaabya Kimbugwe 22 Mugulansigo 1921
12. Alikizandereya Mary Balikanda Nakamaanya 11 Kasambula 1921
13. Albert Victor Wasajja Lumansi 17 Kasambula 1924
14. Victoria Alice Mary Nakalema Nalwoga 21 Kasambula 1924
15. Edward Fredrick David William Muteesa Walugembe 19 Museenene 1924
16. Eva Irini Nacwa 24 Mugulansigo 1925
17. Henry Wasswa Kalemeera 8 Kafuumuulampawu 1925
18. Alfredi Kato Kiggala 8 Kafuumuulampawu 1925
19. Sepiriya Danieri Luswata 20 Muzigo 1925
20. Richard Lumaama 26 Mutunda 1925
21. James Sekannyo Mutebi 4 Museenene 1925
22. Elizabeti Nakabiri Lwamuganwa 11 Ssebaaseka 1926
23. Danieri Mwanga Basammula 25 Mukutulansanja 1927
24. Bowadisiya Nkinzi 10 Mugulansigo 1927
25. Harold Kagolo Kimera 7 Kasambula 1927
26. Ibulaimu Lincoln Ndawula
27. Jeludini Nakayenga Gatonnya 1928
28. Agusiteni Tebandeke 23 Kafuumuulampawu 1928
29. Juliyani Muggale 8 Ssebaaseka 1928
30. Yusufu Suuna Lulambulankola 28 Ntenvu 1928
31. John Christian Lukanga 1 Muwakanya 1929
32. Onesifulo Jjuuko 9 Muzigo 1930
33. Egbat Kamaanya 25 Muzigo 1930
34. Mulondo 14 Mukutulansanja 1934
35. Alexander Ssimbwa 21 Muguansigo 1934
36. Esteri Mazzi 22 Mukutulansanja 1935

Olukalala lw'abaana ba Chwa mu bujjuvu osobola okulusanga ku biwanddiiko ebijuliziddwamu ku muko guno:  Abamu ku baana be abaamanyika ennyo be bano:

  • Kabaka Sir Edward Frederick William David Walugembe Luwangula Mutebi Mutesa II, Kabaka wa Buganda owa 35, nga nnyina ye Nnaabakyala Irene Drusilla Namaganda eyeddira Ente. Ye Pulezidenti wa Uganda eyasooka.
  • Omumbejja Victoria Beatrice Namikka Kamuwanda Mpologoma, nga nnyina ye yali Abisaagi Nabunnya. Mpologoma yazaalibwa mu Kampala, nga 21 Mukulukusabitungotungo (October) 1920. Yatuuzibwa nga Naalinnya wa mwannyina Sir Edward Muteesa II, e Kasubi mu Ntenvu (December) wa 1953. Yafuna ekitiibwa kya 'the Order of the Shield and Spears.
  • Omumbejja Irene Drusilla Ndagire, nga nnyina ye Rebeka Nalunkuuma. Yazaalibwa nga 31 Mukulukusabitungotungo (October) 1916 e Lubaga. Yasomera ku Gayaza High School ne ku Buloba College. Yakulirako ekibiina ky'olulimi Oluganda ekya Luganda Society, okuva mu 1953 okutuusa nga 1963.
  • Omumbejja Alice Evelyn Zaalwango, nga nnyina ye Miriya Nalule. Yazaalibwa nga 6 Ntenvu 1915. Yatikkirwa nga Naalinnya wa mwannyina, Sir Edward Muteesa II, e Kasubi mu Museenene (November) wa 1939. Yafa ekikutuko (shock) bwe yawulira nti Abangereza abasibiramubbwa (abafuzi b'amatwale) baali bawaŋŋangusizza Kabaka Muteesa II nga 30 Museenene 1953. Yaweebwa omudaali gw'amafumu n'engabo (medal of Order of the Shield and Spears).
  • Omumbejja Margaret Juliana Lwantale, nga nnyina ye Irene Namaganda. Yazaalibwa nga 13 Ssebaaseka mu Kampala mu 1920. Yatikkirwa nga Nassolo wa mwannyina Sir Edward Muteesa II, e Kasubi.
  • Omulangira Alexander David Ssimbwa, nnyina ye yali Erina Nambawa. Yazaalibwa mu Kampala nga 21 Mugulansigo, mu 1934. Yakwatibwa n'asibwa mu kkomera era n'atulugunyizibwa amagye ku biragiro bya Obote, oluvannyuma lw'amagye ga Obote okuwamba Olubiri lwa Kabaka e Mmengo mu 1966 n'asindikibwa mu kkomera okumalayo emaka 64 nga bamuvunaana okukola olukwe olutta Obote. Oluvannyuma yeegatta ku lutalo lw'okununula eggwanga olwakulemberwaYoweri Museveni.

Emyaka gye egyasembayo

kyusa

Yakisa omukono (yafiira) mu lubiri lwe e Salaama, akamu ku bubuga obwetoolodde Kampala, nga 22 Museenene (November) mu 1939 ku myaka 43 egy'obuto. Yaterekebwa (yaziikibwa))e Kasubi Nabulagala, nga ye Ssekabaka owookusatu okuziikibwa mu kifo ekyo.

Ebifaananyi

kyusa
  • Ekifaananyi kya Sir Daudi Chwa II

Laba ne

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "No. 28864". The London Gazette. 7 August 1914. p. 6207
  2. "No. 30349". The London Gazette (Supplement). 23 October 1917. p. 10960.
  3. "No. 30451". The London Gazette (Supplement). 28 December 1917. p. 82.
  4. https://www.thegazette.co.uk/London/issue/33021/page/1166
  5. "No. 34396". The London Gazette (Supplement). 11 May 1937. p. 3098.
kyusa