St. Anthonys Secondary School Kayunga
Ennyanjula
kyusaSt Anthony's secondary school kayunga, somero lya siniya, nga lisangibwa mu disitulikiti ye 'Masaka'. Liri Ku luguudo oluva mu 'nyendo' okudda e Ssembabule. Ze kilo metres nga bbiri okuva mu nyendo.[1]
Enfo ye'ssomeroo
kyusaEssomero lino liri mu ggombolola ye Mukungwe mu muluka gwe Kalagala era nga lisangibwa Ku kyalo Kayunga nga kino kye kiri Ku nsalo ya Masaka ne Kalungu.
Omusingi gw'essomero
kyusaEssomero liri Ku musingi gwa kelezia katolika era nga lyatandikibwawo baminsani nga era omusaale mu kulitandikawo ye omungenzi Pere Wasswa Anthony ng'ono ye yawaayo ettaka okutudde essomero lino.
Wabula liyambibwako gavumenti ya Uganda era nga Lori mu nkola eya bonna basome eya siniya.
Ekika ky'abayizi
kyusaEssomero erisomesa abayizi abobuwala ko n'abobulenzi era nga lirina amadaala gombiriri. Kwekugamba eddaala erya 'O' ate n'eddaala erya 'A'. Nga lisomesa amasomo gebya sayansi ate nago agebyemikono.
Omuwendo gw'abayizi
kyusaMu kiseera kino liwereza ddala abayii abali eyo mu lukumi. Era nga omukulu w'ssomero mu kiseera kino ye Omwami Byuma Lubega .omumyukawe ye Ssentongo James
Era nga akola n'basomesa abali eyo mu ataano.
EMPITA Y'ABAYIZI
Omwaka oguwedde 2018 twafuna 1st grades 20 nd 2nd grades 46 ne 3rd 46 awamu ne 4th entonotono
Ekiruubirirwa
kyusaKino nno kituukiriza bulungi ekirooto kyessomero ekyokubeera nga yensibuko y'obugu mu byensoma.
Era essomero lino liruubirila okuba nga lisobola bulungi okufulumya omuntu azimbiddwa obulungi mu byensoma, emyeyo,ebitone,ate nobukugu mu mirimo gyemikono. G