Stephen Kissa
Stephen Kissa (yazalibwa nga 1 ogwe kuminebiri 1995) muddusi muna Yugandaowemisnde emiwanvu nga amakanda yasinga kugassa ku mita 5000 .
yamalira mukifo kya 52 mu musinde gy'ensi yonna gi mubuna byaalo egya 2017 era yavuganya ne mu mita 5000 mu mpaka z'ensi yonna eza 2017 n'atatuuka ku mpaka za kamalirizo.[1] Omwaka ogwaddako yamalira mukifo kya 8 mu mita 5000 mu mpaka za 2018 ez'olukalu lwa Africa.
Akadde ke akakyamusingidde obulungi ze dakiika 13 n'obutikitiki 10 n'obuwuzi93 obuwanguzi bweyatuukako mu mu mwezi Gwomusanvu mu mwaaka gwa 2018 e Athletissima mu Lausanne. Alinayo edakiika 7 n'obutikitiki 54 n'obuwuzi 32 mu mita 3000, obuwanguzi bweyatuukako mu mwezi gwo musanvu mu 2018 mu Rabat.[2] Yawangula emisinde gye egyasembayo mu 2018 mu kiro mita 15 misinde egyaddukibwa mu kubo e Montferland mu Budaaki.
Yavuganya mu mita 10,000 mu mpaka za Sama wa 2020. Mu misinde yasooka n'aba nga yakulembeddemu naye oluvanyuma n'awandukamu nga wakyabulayo emyetoloolo mwenda. Kissa oluvannyuma yanyonyola n'ategeeza nti yali agezaako kutandikira bane Joshua Chiptegei ne Jacob Kiplimo okusobola okuddukira kusipiidi.[3]
- ↑ "Senior men's race" (PDF). 2017 IAAF World Cross Country Championships. Archived (PDF) from the original on 4 May 2019. Retrieved 7 July 2020.
- ↑ Template:Iaaf name
- ↑ Ramsay, George (30 July 2021). "Selemon Barega wins 10,000m gold at the Tokyo Olympics despite Uganda's tactical approach". CNN.com. Retrieved 31 July2021.