Susan Okalany

Susan Okalany, 2023

Yazaalibwa mu Yuganda

Yasomera Makerere Univasite n'afuna ddiguli mu mateeka

Ettendekero, Law Development Centre

Omulimu, Mulamuzi

Omutwe Mulamuzi mu kkooti ya Uganda enkulu

Susan Okalany munnaUgandan munnamateeka ate mulamuzi atuula ku kkooti enkulu. Nga tannalondebwa mu kifo kino, yali Muwaabi wa Gavumenti eyebuuzibwako[1][2]

Obuvo n'obuyigirize bwe

kyusa

Yazaalibwa mu Buvanjuba bwa Uganda. Yasomera mu masomero ga Pulayimale ne Siniya ag'okubyalo gy'asibuka. Yatikkirwa mu bbanguliro ly'amateeka mu ssomero ly'amateeka mu Makerere University, Univasite ya Gavumenti esinga obunene n'obbukadde mu Uganda ne ddiguli mu by'amateeka mu 1992. Omwaka ogwaddako, yafuna Dipulooma okutandika okwetaba mu by'amateeka okuva ku Law Development Centre mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[3]

Emirimu

kyusa

Mu 1994, ng'amaze okutikkirwa okuva ku Law Development Centre, Okalany yafuna omulimu ku kitebe kya American mu Kampala, ng'omuyambi mu by'amateeka. Okuva awo yafuuka omunoonyereza mu kitongole ekitakabanira eddembe ly'abakyala ekya "Forum for Women in Democracy". Era yaweebwa omulimu kkampuni y'amateeka eya "Ochieng Wellborn and Company Advocates", ng'omuyambi ku by'amateeka as. Bwe yava eyo, yeegatta mu offiisi y'omuwaabi wa Gavumenti omukulu. Yakola ng'omuwaabi wa Gavumenti mu disitulikiti Tororo, Iganga, Mbarara ne Masaka.[1]

Oluvannyuma yatwalibwa okubeera omuwabuzi wa Gavumenti. Bwe yali eyo, yalinnyisibwa amadaala n'afuuka omukulu w'abalwanirizi b'obwenkanya mu bantu wamu n'akulira abalondesa mu buwaabi bwa Gavumenti. Mu kaseera ako yalondebwa ku kkooti enkulu ng'omuwabuzi wa Gavumenti ow'okuntikko

Nga Omuwaabi wa Gavumenti

kyusa

Susan Okalany yakuliramu okuwaaba emisango gy'okutega bbomu mu Kampala. Emisango gino gyatandika okuwulirizibwa mu gwomwenda 2011. Babiri ku beewayo ng'bekobaana, Mahmoud Mugisha ne Edris Nsubuga, bakkiriza era ne basingisibwa omusango guno.

Omusango gw'ettutumu omulala gwe yakolako yasingisisa Jacqueline Uwera Nsenga omusango gw'okutta bbaawe, Juvenal Kananura Nsenga, gwe yaddukirako ku ggeeti y'awaka mu mmotoka bwe yali aggulawo.[4]

Ng'omulamuzi

kyusa

Mu 2016 Okalany yalondebwa ku kkooti enkulu era yaweebwa obuvunaanyibwa bw'okukulira kkooti y'amaka mu kitundu. Yasindikbwa okukulira kkooti y'ekitundu kya Mbale.[5] Bwe yali eyo, yatiisibwatiisibwa okuttibwa ku musango ogwekuusa ku bunyazi bw'ente mu Katale e Bukedea, ekyamuleetera okusaba obukuumi obw'enjawulo okuva eri omukulembeze wa Uganda.[6]

Ebirala by'osaana okumanya

kyusa

Mu gwomwenda 2017, munnamateeka Susan Okalany ekibiina ky'abawaabi ba Gavumenti mu nsi yonna kyamuwa engule y'omuwaabi wa Gavumenti asinze mu mwaka. Engule eno yamuweebwa okusinziiira ku mulimu gwe yakola ku bikolwa by'obutujju ebyaliwo nga 11 ogwomusanvu 2010.

Mu gwomukaaga 2020, Susan Okalany yali omu ku bawaabi abana abaavuganya ennyo okutwala omulimu gwa kkooti y'ensi yonna. Singa yalondebwa, yali waakusikira Fatou Bom Bensouda, eyali mu kifo ekyo okuva mu mwaka 2012.[7]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa

Ebiyunga omutimbagano gw'ebweru

kyusa