Suzan Mutesi (yazaalibwa Suzan Faith Mutesi Mufumbiro) Munnayuganda azanyira mu Australia, modo era mwolesi w'amisono.

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Yazalibwa mu Uganda, Mutesi n'agenda mu Australia okumaliriza emisomo gye ku Delany College, Granville. Yafuna Diguli esooka eya Bachelor of Design nga essira yalissa mu misono ku ttendekero lya Raffles KvB Institute of Technology.[1]

Emirimu gye

kyusa

Filimu ne telefayina

kyusa

Mutesi yalabikirako ku Channel 7 mu filimu y'obutundu eya Headland (2005–2006), era yali omu ku bazannyi mu firimu y'ebulaaya eya Nicabate ad okuva mu 2013 okutuusa mu 2014. 

Mutesi yaweereza wamu n'omuzannyi wa filimu Omufirika ng'abeera mu American Pascal Atuma, omuzannyi wa filimu Omunigeria Desmond Elliot, n'omuzannyi wa filimu Omunaghanaia John Dumelo ku mpaka z'okugaba Awaadi eza 2013 African Australian Music and Movie Awards. Akoze ku vidiyo z'ennyimba eziwerako omuli "Star Fire" by Scrim ne "Mr Dread locks" by Latifa ft. LL Bock. 

Mutesi yazannya mu filimu ya Gossip Nation (2012), era yali omu kubazannyi ab'enyongereza mu filimu ya The Wolverine, Australia, ne mu filimu ya 2015 Truth, nga yazannyibwa Cate Blanchett ne Dennis Quaid 

Mutesi yalabikirako mu 2009 movie X-Men Origins: Wolverine, the 2015 movie Irreversible Choices,[2] the 2019 TV series Deadly Women, and the 2020 film Moon Rock For Monday[3] eya Dayilekitingibwa Kurt Martin. Mu 2021, yalabikirako mu filimu ya Marvel film Shang-Chi and the Legend of the Ten Rings era yalina akatundu katono k'eyazannya mu filimu ya Ruby's Choice.[4]

Mu 2022, yalabikirako mu mpaka za filimu z'obutundu eza The Challenge: Australia, empaka za pulogulaamu ya reality television eyali ekolebwa omuweereza era ssekamwa w'ebyemizannyo Brihony Dawson era nelagibwa ku Network 10. Era yazannya nga DJ ku Netflix show Heartbreak High.

Eby'emisono n'ebyeyalwanirira

kyusa

Mu ntandikwa ya 2014, Mutesi yatongoza ekitongole kya Heart of Gold Africa[5] nga kiri mu nkolagana ne "Suzan Mutesi Fashion House", omuyiiya w'emisono ng'asinziira ku nnomo za Africa. 10% ku ssente ez'asaasanyizibwa z'aweebwayo mu kitongole. Heart of Gold Africa kyakolebwa okuyamba ku bantu b'omubyalo bya Africa mu kuwa abantu ebyetagisa okumanya mu kulwanyisa digital age, okulwanirira eddembe n'okukyusa eby'obulamu n'ebyensimbi. Ekitongole kikwasaganya eby'enjigiriza n'okusomesa nga bakolzesa enkola ennongosemu mu kuwuliziganya.

Ebye yawandiika

kyusa

Mutesi ye muwandiis w'ekitabo kya Unapologetically Black: Afro Sisters, eky'afulumizibwa mu 2020.

Awaadi z'eyafuna n'okusiimibwa

kyusa

Mu 2012, Mutesi yasiimibwa nga omwolesi w'emisono okuva mu Celebrate African Australians.[6]

Yawangula Awaadi y'eby'emisono eya Fashion Icon Award at the Afro-Australian Music & Movie Awards mu 2014.[5][7] Mu mwaka gwe gumu, yawangula Awaadi ya Abryanz Award 2014 ng'omwolesi asinze okwolesa mu Diaspora in Uganda Africa.[8]

Yafuna Awaadi ya "Best Book Author" okuva mu Celebration of African-Australians Inc. mu katabo ke k'eyasooka okuwandiika, Unapologetically Black.[9]

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa
  • Suzan Mutesi ku mukutu gwa Instagram

Template:TheChallenge 

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2014-08-06. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.imdb.com/title/tt5136868/
  3. https://www.vogue.com.au/culture/features/author-suzan-mutesi-hopes-to-inspire-the-next-generation-to-be-unapologetically-themselves/news-story/efd38dfa2a8b8a28f722acf5509ad491
  4. https://www.imdb.com/title/tt11651668/
  5. 5.0 5.1 http://www.saltmagazine.org/ugandan-fashion-designer-suzan-mutesi-honoured-aammas/
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/ugandan-who-conquered-fashion-in-australia-1594854
  7. http://www.saltmagazine.org/ugandan-fashion-designer-suzan-mutesi-honoured-aammas/
  8. https://bigeye.ug/full-list-winners-abryanz-style-fashion-awards/
  9. https://www.celebrationofafricanaustraliansnsw.org/2021