Syda Bbumba
Syda Namirembe Bbumba, nga erinya lye erissembayo batera okuliwandiika nga Bumba, yazaalibwa nga 7 Ogusooka mu 1952. Munayuganda omubalirizi w'ebitabo, munabyabufuzi ng'ate era akola mu baanka. Yakolako mu Kabineeti ya Ugand anga Minisita w'eby'amasanyalaze wami n'eby'obugagga eby'omuttaka okuva mu 2002 okutuuka mu 2006, Minisita w'ekikula ky'abantu, emirimu n'enkulakulana y'ebitundu okuva mu 2006 okutuuka mu 2008, Minisita w'eby'ensiimbi okuva mu 2009 okutuuka mu 2011,[1] wamu ne Minisita w'ekikula ky'abantu, emirimu wamu n'ekulakulana y'ebitundu neera okuva mu 2011 okutuuka mu 2012. Yeeyaliko omulonde nga Omubaka wa Paalamenti okukiikirira esaza lya Nakaseke ery'omuBukiika ddyo, mu Disitulikiti y'e Nakaseke. Yeeyali ssentebe w'akakiiko ka Paalamenti ku by'enfuna by'eggwanga wamu n'okubeera ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'akakiiko ka Paalamenti akadukanya ensonga z'ekiyisiraamu ez'okutereka mu baaka. Yeeyali akiikirira amawanga agatali mu dduungu lya Afrika mu kakiiko ka OIC Women Advisory Panel.[2]
Background and education
kyusaSyda Bbumba yasomera ku Trinity College Nabbingo, gyeyamalira eby'enjigiriza bye ebya wagulu.[3] Yagendako ne ku Makerere College School, nga tanaba kuyingira yunivasite.[4]
Alina Diguli by'enfuna, wamu ne diguli mu By'embalirira, nga yazifuna okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 1974. Yasomerako ne ku Yunivasite ya East Anglia esinganibwa mu bwakabaka bwa Bungereza, nga alina ne dipulooma mu bya bizineensi n'ensiimbi okuva mu yunivasite emu mu Buyonaani.[5] Diguli ye Ey'okubiri mu kudukanya Bizineensi yagifuna okuva ku Kampala International University mu 2006.[2]
Emirimu gye
kyusaSyda Bbumba yakolako nga omubalirizi w'ebitabo era akulira abawanika okumala emyaka 21 mu Uganda Development Bank, okuva mu 1974 okutuuka mu 1995. Yaliko ku kakiiko akavunaanyizibwa ku By'okulondesa mu Uganda mu 1996, nga nataba kulondebwa ku kya Mubaka wa Paalamenti ya Uganda eyali akiikirira esaza ly'e Nakaseke mu Disitulikiti ye Nakaseke. Ayongedde okukiikirira konsitituweensi eyo mu Paalamenti ya Uganda. Era yabaddamu okulondebwa mu kifo kino.[2]
Okuva mu 2002 okutuuka mu 2006, yeeyali Minisita avunaanyizibwa ku By'amasanyala wamu n'eby'obugagga by'omuttaka. Okuva mu 2006 okutuuka mu 2008, yawerezaako nga Minisita ow'ekikula ky'abantu, emirimu wamu n'ensonga z'ebitundu. Bbumba awereza ku nsonga nyingi ezenyigiriza abantu mu bitundu gyebabeera, nga abantu abeeyongera okubeera abangi beebabiviriddeko, naye Pulezidenti Yoweri Museveni asigala akubiriza Banayuganda okusigala nga bazaala abaana.[6]
Okuva nga 18 Ogwokubiri mu 2009 okutuuka nga 27 Ogwokutaano mu 2011, yawerezaako nga Minisita avunaanyizibwa ku by'ensiimbi, nga ye mukyala eyasooka mu Uganda okubeera nga wereza mu kifo kino, mu byafaayo by'eggwanga.[7] Yaddamu okuweebwa omulimu gw'okubeera Minisita avunaanyizibwa ku By'ekikula ky'abantu, emirimu wamu n'enkulakulana y'ebintu nga 27 Ogwokutaano mu 2011, nga adira Gabriel Opio, eyali asuliddwa okuva mu Kabineeti.[8] Yalekulira okuva mu kabineeti nga 16 Ogwokubiri mu 2012 nga bamulumiririza okubeera nga yali akozesebwa bubi ssente za gavumenti, wabula nga yaddamu n'afuna ekifo kye mu gavumenti.[9]
Obuvunaanyizibwa obulala
kyusaNga bamazze okumulonda nga Minisita wa Uganda ow'eby'enfuna, Syda Bbumba era yafuuka ssentebe w'akakiiko akadukanya East African Development Bank (EADB).[10] Era mu buvunaanyizibwa bwe nga Minisita w'eby'enfuna, yafuna obuyinza bw'okubeera nga y'akulira ekitongole kyab Gavumenti ekivunaanyizibwa okuterekera abakoze ba gavumenti ssente zaabwe, nga kino kirina akakwate ku gavumenti ng'era kyali wansi wa Minisitule y'ekukula ky'abantu, emirimu wamu n'enkulakulana z'ebitundu, nga kino yali yakakirekulira. Ekitongole kino kyagibwa okuva ku Minisitule evunaanyizibwa ku By'ekukula ky'abantu, nebakiteeka mu Minisitule evunaanyizibwa ku by'ensiimbi mu Gwekumi 2004.[11] Mukukola enkyuka kyuka mu kabineeti nga 27 Ogwokutaano mu 201, Syda Bbumba yadizibwayo mu Minisitule evunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu nga Minisita omugya. Yasikibwa Maria Kiwanuka nga yeeyadda mu kifo kye nga Minisita eyali avunaanyizibwa ku by'ensiimbi.[12]
Laba ne bino
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://visiongroup.co.ug/supplements/2020/01/29/why-uganda-ranks-highly-in-tax-administration/
- ↑ 2.0 2.1 2.2 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=347
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1161144/nabbingo-savours-65-fruit
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1281705/makerere-college-alumni-introduce-award
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9780970346339
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2023-03-29.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1226523/reshuffle-museveni-names-janet-awori-jeje-ministers
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1010930/museveni-names-cabinet
- ↑ https://web.archive.org/web/20140814222922/https://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1329176/-/b0pd8uz/-/
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1225424/east-african-devt-bank-chief
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1094766/nssf-transfer-planned
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1170806/-/c0y8sbz/-/index.html