Sylver Kyagulanyi
Sylver Kyagulanyi Munnayuganda omuyimbi ,[1] mufulumya wa nnyimba, muwandiisi era Munna mateeka.[2] Ye mulungamya mu kibiina ekiyitibwa Sikia Media Services. Y'omu ku bawandiisi bennyimba abaatiikirivu mu Yuganda mu myaka mu myaka kkumi egiyise.[3] Mu 2019, Y'omu ku Bawolereza b'amateeka 144 abeewandiisa nga Bannamateeka mu Kkooti Enkulu mu Kampala, Yuganda.[4] Yatikkirwa ne Dipuloma mu kutendekebwa mu mateeka nga yasomera mu Law Development Centre (LDC) mu 2018.[5]
Obuto bwe n'okusoma kwe.
kyusaKyagulanyi yasomera ku Seminaaliyo y'abato eya Nswanjere Junior Seminary gye yamalira ekibiina Eky'omusanvu. Siniya yagisomera ku Kisubi Seminary ne St Charles Lwangwa Secondary School. Yayingizibwa ku Ssettendekero wa Makerere okusoma Eby'amawulire by'ataakola naasalawo akole Diguli mu Ngennyimba, Amazima nekatemba era naalondawo essira alisse ku bya nnyimba.[6]
Okuyimba kwe
kyusaOkuyimba yakutandika akyali mu Kkwaya ya Christ the King mweyayimbiranga soprano ku ntandikwa y'emyaka gya Lukumi mu Lwenda Kyenda(1990s). Ng'ali mu Siniya ey'okusatu, oluyimba lwe lw'awangula mu Kijaguzo Kya Youth Alive National Music Festival ekyaliwo mu 1995. Oluvannyuma lw'okuwangula okwo, Kyagulanyi yagenda mu maaso nookukuza ekitone kye. Ng'ali mu luwummula lwe oluwanvu oluvannyuma lw'okumaliriza Siniya ey'omukaaga mu 1999, yafulumya oluyimba oluyitibwa "Ekyasa Kyabakyala", oluyimba olukwata ku kutumbula eddembe ly'abakyala, olwamutumbula ennyo. Ng'ali ku Ssetendekero e Makerere, Kyagulanyi yakola era n'afulumya olutabi oluyitibwa "Omuzadde Katonda", olwakyusiza ddala obulamu bwe. Okubeera kwe Omukirisitu kweyolekera mu nnyimba ze ezimu nga, Katonda Gwe nsinza, Olunaku luno ne Tondeka Mukama, olukwata ku myoyo gy'abawagizi be.[7]
Ennyimba ze
kyusa- Ekisa kyabakyala
- Omuzadde Katonda
- Abaana bo
- Okusiima
- Tebalemwa maka
- Olunaku luno
- Nkuuma
- Guma
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2015-07-07. Retrieved 2022-11-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/-/691232/1520104/-/1ctfu7/-/index.html
- ↑ https://artmatters.info/2008/09/meet-sylver-kyagulanyi-the-shy-ugandan-music-doctor/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1493041
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/singer-kyagulanyi-among-700-ldc-graduates-1753098
- ↑ http://thechristianbulletin.wordpress.com/2013/05/16/profile-musician-silver-kyagulanyi-part-i/
- ↑ http://www.observer.ug/index.php?option%3Dcom_content%26view%3Darticle%26id%3D16932:kyagulanyi-wont-blow-his-own-trumpet%26catid%3D42:sizzling-entertainment%26Itemid%3D74