Professor Sylvia Tamale

Sylvia Rosila Tamale muyigiriza Omunayuganda, era alwanirira eddembe ly'abantu mu Uganda. Ye mukyala eyasooka okubeera nga akulira etendekero eriyigiriza aby'amateeka ku Yunivasite y'e Makerere mu Uganda.[1][2]

Okusoma kwe

kyusa

Tamale yafuna Diguli ye mu By'amateeka n'ebitiibwa okuva ku Yunivasite y'e Makerere, Diguli ye ey'okubiri mu Mateeka yagigya kutendekero eribangula mu by'amateeka erya Harvard Law School, ate Diguli ye ey'okusatu mu by'embeera z'abantu n'okulwanirira eddembe ly'abantu okuva ku Yunivasite y'e Minnesota mu 1997. Tamale yafuna Dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka okuva kutendekero eribangula mu mateeka erya Law Development Center, nga lisinganibwa mu Kampala, mu 1990, n'atikirwa nga y'akulembedde ekibiina kye.[1] Yali wakuwumula mu 2022.[3]

Emirimu gye nga omuyigiriza

kyusa

Tamale yali mukenkufu eyatera nga okugenda kutendekero lya African Gender Institute erya Yunivasite ya Cape Town [4] wamu n'okulambula abakugu mu by'enjigiriza ku Yunivasite ye Wisconsin.[5] Mu 2003, yawakanyizibwa banayuganda abaali baagala okukyusa eneeyisa y'abantu olw'okugamba nti abasajja abeenyigira mu bisiyaga wamu n'abakazi nabo bafuna abakiikirira okusinziira ku muwendo gwabwe".[6] Tamale yeeyali akulira etendekero eribangula mu by'amateeka nebigakwatako ku Yinivasite y'e Makerere mu Kampala, e Uganda okuva mu 2004 okutuuka mu 2008.[1][7]

Awaadi n'ebitiibwa

kyusa

Okuva mu 1993 okutuuka mu 1997, yafuna basale enzijuvu okuva mu ba Fulbright-MacArthur, okugenda okusomera ku Harvard.[1] Mu 2003, yawangula awaadi okuva ku Yunivasite ye Minnesota olw'okubeera omukulembezze ow'enjawulo munsi yonna, olw'emirimu gye gyeyali akola ku yunivasite.[2][8] Mu 2004, yaweebwa awaadi ya Akina Mama wa Afrika Award ng'eno yamukwasibwa aba Akina Mama wa Afrika, ekitongole ky'ensi yonna, ekigatta abantu kusemazinga wa Afrika, nga kikulakulanya wabula nga tekidukanyizibwa gavumenti nga ky'abakyala okuva mu Afrika nga basinziira mu Bungereza nga balina ekitebe kyabwe mu Afrika ekisinganibwa mu Kampala, mu Uganda.[9] Mu 2004, yasimbibwa ebitongole by'abakyala aby'enjawulo mu Uganda olw'okulwanirira eddembe ly'abantu.[10]

Nga 28 Ogwekumi mu 2016, yafuuka omukyala eyasooka okusomesa era okuwa olusoma olwali olw'omukenkufu olwasooka ku Yunivasite y'e Makerere. Olusomesa lwe yaluyita, obukunya, okuwakanya wamu n'amateeka, okusikiriza, mu kitundu, mukusooka mu myaaka obukunya obw'okuwakanya obwa Stella Nyanzi mu yunivasite.[11] Mu kwogera kwe, Tamale yategeeza amateeka ga Uganda gabeere nga gadibwamu nadala agatyoboola abakyala.[12]

Okulwanirira eddembe ly'abantu ababeera batusiddwaako ogw'obuliisa maanyi

kyusa

Mu Gwokusatu mu 2018 Yunivasite ye Makerere yalonda Dr. Tamale okubeera ssentebe w'akakiiko k'abantu bataano okukola okunoonyereza ekyali kivirako okweyongera kw'okukabanyizibwa kw'abakyala nadala mu matendekero ga gavumenti agawagulu. Alipoota y'akakiiko yafulumizibwa mu Gwokutaano mu 2018.[13] Nga eyali akulira etendekero ku Yunivasite y'e Makerer, yatandika eteeka eryali liwakanya okukabasanya ng'oli ku yunivasite ssaako n'omuntu yenna kasita abeera nga alina akakwate ku yunivasite eno.[14]

Mu Gwokutaano nga 18 mu 2018, Tamale yawaayo alipoota ye eyali esooka ku by'okukabasanya, akakiiko akalondebwa gyekaali kakoze oluvannyuma lw'okunoonyereza. Yagiwaayo eri abayizi, abakozi, abantu wamu n'abakwatagana ne Yunivasite ye Makerere.[15] Alipoota eno yakolebwa n'okunoonyereza okumala, okwalimu okwebuuza ku bantu 234 nga 59 ku 100mu beebuzibwaako, baali bakyala. Yanokolayo obulungi obuli mu b'amawulire bweyali ayogerako, nga kino kyali kisaale nnyo mu kugyayo obulabe obuli mu kukabasanya ekyaletera okwongera okubunyisa ensonga eno."[15] Yunivasite y'e Makerere Makerere University kati yalambulula bungi eteeka lyayo ery'okubonereza oyo yenna eyeenyigira mu by'okukabasanya, nga balina ekigendererwa eky'okutekawo embeera ewa buli omu ekitiibwa .

Yakyogera mu lwatu nga awagira enkola y'obuwangwa ery'okwongera ku bitundu by'abakyala eby'enkyama nga bayita mu kubisika, n'awakanya nti ensonga eno ey'okubyongerako tesaanidde.[16]

Okulwanirira eddembe ly'abakyala munsi yonna

kyusa
 
Firoze Manji, Charmaine Pereira, wamu ne Tamale nga beegeyaamu mu kutongoza akatabo akayitibwa Obwetwazze n'eddembe ly'abakyala mu Afrika,mu 2020

Okunoonyereza kwa Tamale kulimu emirimu gy'ekikula ky'abantu, okwegata, abakyala mu by'obufuzi, wamu n'eddembe ly'abakyala ng'ayita mu by'amateeka, abakyala abali mu mawanga agatanaba kukulakulana wamu n'amateeka , nga bino byonna agata eby'enjigiriza wamu n'okulwanirira eddembe.[17][18] Ku ye okulwanirira eddembe ly'abakyala nzikiriza mu by'ekikula ky'abantu okubeera nga beenkana nkana, nga okukola ekintu kyonna wamu n'ekitiibwa ky'abantu n'abantu bonna okutwalira awamu."[19] Akubirira abalwanirizi b'eddembe ly'abakyala okwenyigira mu mitendera gyonna egya ofiisi za gavumenti wamu n'okukozesa obuyigirize bwabwe nga eky'okulwanyisa ekintu kyonna ekyekuusa okubeera nga kiri ku gavumenti efugibwa abasajja nadala mu by'amateeka, eby'okuwangwa, enimi wamu n'emikutu gy'amawulire.[19] Alina okukiriza nti mu kjwenyigira mu by'okulwanirira eddembe ly'abakyala, n'ayongerako ng'ategeza nnti ''gavumenti edukanyizibwa abasajja nayo erumya abasajja'', ng'era tulina okukikiriza nti sibuli bakyala nti beebamu. Sigamba nti abakyala bonna bayita mukunyigirizibwa mungeri y'emu."[20]

Ayongera okukatiriza nga ateeka eby'ediini mu by'ayogera ngagamba, " osobola okubeera munadiini, ng'ate olwanirira eddembe ly'abakyala. Waliwo eky'ogera kinene mu by'awandiikibwa nga bivunula Bayibuli nga boogera ku mwenkano nkano"[20]

Mu 2003, Tamale yatekebwa ku kulalala lw'abakyala abaaku basinze okukola obubi mu mwaka ogwo ab'ekibiina kya conservative bloc mu Uganda. Yawandiika okumala wiiki eziwera mu mpapula z'amawulire, nadala mu New Vision, nga agamba nga eyali talina buvunaanyizibwa mu ggwanga eri okusaanawo kw'empisa, kuba abavubuka mu Uganda baali bagenda kugweera mu geyeena. Yalumbibwa olw'okugamba nti abali beebisiyaga nga basajja n'abakazi nabo banditwaliddwa nga abamu ku bantu abatuuze mu Uganda era nabo akakiiko akavunaanyizibwa ku mwenkano nkano nako kabafeeko.[21]

Y'omu ku bali mu kibiina ekirwanirira eddembe ly'abakyala kulukalo lwa Afrika, nga kino kikungaanya abalwanirira eddembe ly'abakyala mu Afrika wamu, okwekaanya engeri gyebayinza okukitukako, n'okulakulanya enkwatagana ey'amaanyi okwonegra amaanyi mu ddembe ly'abakyala mu Afrika.[22] Ali ku kakiiko akawi k'amagezi mu kibiina kya Open Society Foundation, ekitongole ekikolera mu mawanga 120 nga kiwa abantu n'ebibiina ssente ezitali zakudizibwayo nga za kuzimba gavumenti ey'amaanyi nga erondeddwa abantu. era nga ewulikika .[23]

Okusuka kiremya

kyusa

Tamale yabuuzibwa Dr. Purna Sen, akulira ebirina okugoberebwa abakyala mu kibiina ky'amawanga amagate, ku lw'okunoonyereza ku pulojekiti emu gyebaali bayita ''Above the Parapet'' oba kiyite okusuka kiremya. Ku lwa pulojekiti eno, abakyala ab'amannya abakoze eky'ammanyi mu kukyusa obulamu bw'abantu beebuzibwaako okuwa endowooza zaabwe nobumannyirivu. Okuddamu kwa Sylvia Tamale kwatekebwa ku mukutu gwa Youtube mu Gwomunaana nga 13 mu 2015, ab'etendekero by'eryenfuna n'ebikwatagana ku by'obufuzi mu London. Tamale ayogera okukozesa Yunivasite y'e Makerere nga akatuuti ak'okutuusa obubaka bwe munsi yonna, nga n'endowooza zze ku by'obufuzi n'amateeka, wamu n'ensonga endala. Nga ayogera ku by'emirimu gye, Tamale yagamba nti,'' kino sikikolera banange.Wabula nkikolera ku lw'obulungi bw'eggwanga." Tamale era ayogera okulumbibwa oluvannyuma lw'okuvaayo ng'ayogedde ku bisomesebwa nga tebikirizibwa gamba nga okujamu enbuto. Ayogera n'okubeera nga yayitibwa okubeera omukazi eyali asinze okukola obubi mu mwaka. " Ensonga lwaki nayitibwa okubeera omukazi eyasinga okukola obubi mu mwaka ogwo... yali nti navaayo nengyogera ... kwogera kunsonga ezirabibwa nga ez'obuwangwa mu Afrika .... nga ziri ku ddiini .... nakola epeesaeryali ligamba nti,'' abakyala abasinga okukola obubi mu 2003'', ng'era ndyambala n'essanyu eringi," Tamale bw'agamba. Tamale era yawa okuwabula eri buli mukyala yenna eyali ayagala okubeera mu buyinza. " Ensi egya kugezaako okulaba nga ekulambulula mungeri yonna nti gwe ani. Naye tokirina nsi kulambulula gwe ani. Weerambulule gwe ani gwe kenyini. Tokendeera kutuuka kubalala kyebaagala obeere. Okunyigirizibwa kugya kusigala nga kwabwe'', Tamale bweyagamba, " Tosobola kufuna birabo byonna, nga tomazze kubikolerera. Tewali kirungi kijja mangu."[24]

Obulamu bwe

kyusa

Yafumbirwa Joe Oloka-Onyango, omukenkufu mu mateeka ku Yunivasite y'e Makerere.[25]

By'awandiise nebifuluma

kyusa
  • Decolonization and Afro-Feminism mu 2020[26]
  • When Hens Begin To Crow: Gender and Parliamentary Politics in Uganda (1999)[27]
  • "African Feminism: How Should We Change?" (2006) [28]
  • "The Right to Culture and the culture of rights: A critical perspective on women's sexual rights in Africa" in Feminist Legal Studies: Vol 16 (2006)[29]
  • Eroticism, Sensuality, and 'Women's Secrets' Among the Baganda'" in the IDS Bulletin: Vol 37 (2009)[30]
  • African Sexualities: A Reader (2011)[31]
  • "Confronting the Politics of Nonconforming Sexualities in Africa" in the African Studies Review: Vol 56 (2013) [32]
  • "Exploring the Contour of African Sexualities: Religion, Law and Power" in the African Human Rights Law Journal: Vol 14. (2014) [33]
  • Researching and theorising sexualities in Africa[34]
  • Out of the closet: Unveiling sexuality discourses in Uganda[35]
  • Gender trauma in Africa: enhancing women's links to resources[36]
  • 'Point of order, Mr Speaker': African women claiming their space in parliament[37]
  • A human rights impact assessment of the Ugandan Anti-homosexuality Bill 2009.[38]
  • Homosexuality: perspectives from Uganda[39]
  • Nudity, protest and the law in Uganda[40]
  • Paradoxes of sex work and sexuality in modern-day Uganda[41]
  • Bitches at the academy: Gender and academic freedom at the African university[42]
  • Introducing quotas: discourse and legal reform in Uganda[43]
  • Profile:'keep your eyes off my thighs': a feminist analysis of Uganda's 'miniskirt law'[44]
  • The Personal is Political," or Why Women's Rights are Indeed Human Rights: An African Perspective on International Feminism[45]
  • How Old is Old Enough? Defilement Law and the Age of Consent in Uganda[46]
  • The outsider looks in: Constructing knowledge about American collegiate racism[47]
  • Think globally, act locally: using international treaties for women's empowerment in East Africa[48]
  • A human rights impact assessment of the anti-homosexuality bill[49]
  • Taking the beast by its horns: Formal resistance to women's oppression in Africa[50]
  • Legal Voice: Challenges and Prospects in the Documentation of African legal feminism[51]
  • Law reform and women's rights in Uganda[52]
  • Controlling Women's Fertility in Uganda[53]
  • Research on gender and sexualities in Africa[54]
  • Gender, economies and entitlements in Africa[55]
  • The limitation of affirmative action in Uganda[56]
  • Methodologies in Caribbean Research on Gender and Sexuality, by Kamala Kempadoo and Halimah AF DeShong (eds)[57]
  • Crossing the bright red line: The abuse of culture and religion to violate women's sexual and reproductive health rights in Uganda[58]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/1370466-1394360-14ekh7r/index.html
  2. 2.0 2.1 http://www.pambazuka.org/activism/honouring-sylvia-tamale
  3. https://voxpopuli.ug/sylvia-tamales-scholarship-comes-of-age-and-she-crowns-it-with-a-page-turner-decolonization-and-afro-feminism/
  4. http://www.worldpress.org/africa/2611.cfm
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-03-09. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.awid.org/news-and-analysis/worst-woman-year-sylvia-tamale-publishes-african-sexualities-reader
  7. https://web.archive.org/web/20120806052216/http://law.mak.ac.ug/index.php?page=assoc-prof-sylvia-tamale
  8. https://web.archive.org/web/20070513103458/http://www.international.umn.edu/awards/leader/2003/tamale.php
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-12. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.pambazuka.org/activism/honouring-sylvia-tamale
  11. http://www.monitor.co.ug/News/National/Makerere-professor-defends-Dr-Nyanzi-nude-protest/688334-3434278-13khqvq/index.html
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-12. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://www.theeastafrican.co.ke/news/Uganda-Makerere-University-investigate-sexual-harassment/2558-4344654-pss35s/index.html
  14. https://news.mak.ac.ug/2019/08/mak-unveils-vc%E2%80%99s-roster-100-amends-sexual-harassment-policy-and-launches-safer-universities
  15. 15.0 15.1 https://news.mak.ac.ug/2018/05/committee-investigating-sexual-harassment-makerere-university-presents-report-stakeholders
  16. "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-22. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-05. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. "Archive copy". Archived from the original on 2019-11-05. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  19. 19.0 19.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-26. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  20. 20.0 20.1 https://rosebellkagumire.com/2016/08/19/talking-african-feminisms-with-dr-sylvia-tamale/
  21. https://www.awid.org/news-and-analysis/worst-woman-year-sylvia-tamale-publishes-african-sexualities-reader
  22. http://www.africanfeministforum.com/about/
  23. https://www.opensocietyfoundations.org/
  24. https://www.youtube.com/watch?v=5AkShzqY79w
  25. https://law.mak.ac.ug/prof-oloka-onyango-talks-%E2%80%98ghosts%E2%80%99-and-law
  26. Ottawa: Daraja Press, Template:ISBN
  27. Tamale, Sylvia (1999), When Hens Begin To Crow: Gender and Parliamentary Politics in Uganda, Boulder, Colorado: Westview Press, Template:ISBN; reviewed: Parpart, Jane L. (2000), "Review: When Hens Begin to Crow: Gender and Parliamentary Politics in Uganda", Africa Today 47(2): pp. 218-220; and Ottemoeller, Dan (1999), "Book Reviews - Politics - When Hens Begin to Crow: Gender and Parliamentary Politics in Uganda", African Studies Review 42(2): p. 181.
  28. https://doi.org/10.1057%2Fpalgrave.development.1100205
  29. https://doi.org/10.1007%2Fs10691-007-9078-6
  30. http://opendocs.ids.ac.uk/opendocs/handle/123456789/8366
  31. https://en.wikipedia.org/wiki/Sylvia_Tamale#CITEREFBennett2011
  32. https://doi.org/10.1017%2Fasr.2013.40
  33. https://doi.org/10.2307%2Fj.ctvh8r1ds.6
  34. https://books.google.com/books?id=xSqIrrswbG0C&pg=PA11
  35. https://books.google.com/books?id=IYcOgxeVTrMC&dq=Out+of+the+closet%3A+Unveiling+sexuality+discourses+in+Uganda&pg=PA17
  36. https://doi.org/10.1017%2FS0021855304481030
  37. https://doi.org/10.1080%2F741923783
  38. https://www.equalrightstrust.org/sites/default/files/ertdocs/Sylvia.pdf
  39. https://www.africabib.org/rec.php?RID=312811942
  40. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-26. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  41. https://www.africabib.org/rec.php?RID=329705776
  42. https://www.jstor.org/stable/24482781
  43. https://www.idea.int/publications/catalogue/implementation-quotas-african-experiences
  44. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2023-09-12. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  45. https://doi.org/10.1353%2Fhrq.1995.0037
  46. https://www.africabib.org/rec.php?RID=240716612
  47. https://doi.org/10.1007%2FBF02393370
  48. https://www.jstor.org/stable/4066411
  49. https://arc-international.net/wp-content/uploads/2013/01/Dr.-Tamales-speech-on-the-Bahati-BIll.pdf
  50. https://en.wikipedia.org/wiki/JSTOR_(identifier)
  51. https://www.africabib.org/rec.php?RID=343319624
  52. https://www.africabib.org/rec.php?RID=123993962
  53. https://heinonline.org/HOL/Page?handle=hein.journals/surij24&id=118&div=&collection=
  54. https://en.wikipedia.org/wiki/Project_MUSE_(identifier)
  55. http://arks.princeton.edu/ark:/88435/dsp01pk02cd53f
  56. https://en.wikipedia.org/wiki/ProQuest_(identifier)
  57. https://journals.ug.edu.gh/index.php/fa/article/view/1521
  58. https://doi.org/10.4324%2F9781315708379-12

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa