Teddy Nambooze Munnayuganda omubazi w'ebitabo era era omukozi w'amateeka.[1] Aweereza nga Mmemba Omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti y'eMpigi mu paalamenti ya Uganda ey'ekkumineemu nga ali [2]wansi wa bendera ya National Unity Platform (NUP)eno mwe yeesimbirawo naawangula akalulu ka 2021.[3]

Nambooze Teddy

Obuto bwe n'okusoma kwe

kyusa

Nambooze yazaalibwa mu kyalo ky'eGgoli ekisangibwa mu ssaza ly'eKammengo[4] nga limo liri ku luguudo lw'eMasaka oluva e Kampala mu Disitulikiti y'eMpigi. Yasomerako ku someero lya St. Bruno Secondary School e Ggoli mu ggombolola y'eKammengo gyeyamalira siniya ey'omukaaga. Nambooze yakola Diguli mu Kuddukanya Bizinensi eyitibwa Bachelors Degree in Business Administration ga yasomera ku Nkumba University e Entebbe,[5] mu Uganda mu 2002.[3]

Emirimu gye

kyusa

Nambooze worked yasooka ku kukola gw'akuyingiza bwino mu Minisitule Y'ebyemisomo nga tannaba kutandika kukola naaba Hunger project mu Ggombolola y'eKalamba mu Disitulikiti y'eButambala. Puloojekiti eno yatandikibwawo okusomesa abakyala mu kisaawe ky'okufuna obukugu mu by'ensimbi basobole okwejja mu bwavu. Mu ppulojekiti eno baatandikawo SACCO era olw'amanyi geya ssaamu, yalondebwa okugikulira.

Mu 2011, Nambooze yatandika bbanka nga eyitibwa lya Trust Development Initiative (TRUDI) era nga ensangi zino gy'akola nga Omuddukanya waayo. Mu 2016, yeesimbawo ku kifo Mmemba wa paalamenti omukyala owa Disitulikiti y'eMpigi lwakuba teyasobola kuyitamu.[6] Mu 2021, Nambooze yakomawo okwesimbawo mu kifo ky'ekimu era ku mulundu guno yawangula. Y'omu ku bakuumi baamateeka mu paalamenti ya Uganda nga aweerezanga Memba wa Paalamenti Omukyala akiikirira Disitulikiti y'eMpigi district.[7]

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=List_of_members_of_the_eleventh_Parliament_of_Uganda&oldid=1011892525
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nup-names-380-mp-flag-bearers-2453360
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-01-30. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://www.lcmt.org/uganda/mpigi/kamengo/kammeng
  5. https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Nkumba_University&oldid=1001397055
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2023-01-30. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-13. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)