Tempulikya ey'ekitondowalo(Condensation Temperature)

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Mu Luganda olwa sayansi, okutondowala kitegeeza enfuumo y'amazzi(water vapour) okufuuka amatondo(water droplets). Okutondowala oba ekitondowalo gye miramwa ebiri egivvuunula eky'Olungereza "condensation".

Condensation on the outside of a window, due to it being in front of the sea which regularly produces moist sea spray.

Omuzira oba ekintu bwe kituuka ku tempulikya ey’ekitondowalo (the temperature of condensation), kifuuka kakulukusi.

Singa obadde enfuumo y’ensaka y’amazzi ageesera ku sigiri n’otomera ekisenge, ekisenge kiba kinnyogoga nnyo (ekitegeeza nti kirina tempulikya eri wansi ennyo) era ofuukirawo kakulukusi.

N’ekisembayo, ka tulowooze nti oli ggaasi nga oyagala kufuuka ejjengerero (plasma). Ejjengerero (plasma) liyinza okukolebwa okuva mu ggaasi singa amaasoboza amayitirivu gapikibwa mu ggaasi eyo. Amasoboza gano amasukkulumu galeetera atomu eza kibogwe(neutral atoms) okukutukamu vatomu (ions) eza negatiivu n’eza pozitiivu n’obusannyalaza obutayaaya(free electrons).

Kino kireetawo enkulungo ennene eya ggaasi Okuba ggaasi, oba wakati mu lugendo lw’okufuuka ejjengerero (plasma).

Oba okyalina okweyuzaako ekirimba ky’obusannyalaza (electrons) okuva mu atomu zo. Ekivaamu oba olina ebirimba bya patiki ezirina kyagi eza negatiivu ne pozitiivu kumpi mu kyenkanyi. Vatomu (ions) bwe ziba mu bungi obw’ekyenkanyi, kyagi ya’ejjengerero lyonna kumpi eba ya kibogwe (neutral) kubanga ekirimba kyonna ekya patiki eza pozitiivu kiba kisazaamu ekirimba ekyenkana awo ekya patiki za kyagi eza pozotiivu.