Eveline Tete Chelangat (yazaalibwa nga 6 Ogw'omunaana 1960) era nga Musebbeyi. Munnayuganda Mmemba wa Paalamenti kati okumala emyaka 10. Akiikirira ekitundu ky'eBukwo[1] mu kibiina ky'abalonzi eky'eKongasis nga akola nga Mmemba wa Paalamenti Omukyala. Ali wansi wa bendera ya NRM (National Resistance Movement) ekibiina ekifuga eggwanga.[2]

Okusoma kwe

kyusa

Yasomerako ku Bukwo Primary School gye yatuulira ebigezo by'ekyomusanvu. Oluvannyuma, yeeyongerayo nadda ku Kidetok girls, erisangibwa e Serere gye yamalira siniya ey'okuna nga tanadda ku Sebei college, Tegeres. Alina Dipuloma mu ssomo lya social work lye yasomera ku Nsamizi Institute (Mpigi). Era kati muyambi w'abantu mubulamu obwa bulijjo nga bweyabisomerera. Mukyala Mulokole mu ddiini.

Obulamu bwe mu by'obufuzi

kyusa

Eveline Tete Chelangat yayingira eby'obufuzi mu 2006 nga yatandika nga Kkansala ku Disitulikiti ku ddaala lya LC5, mu Disitulikiti y'eBukwo. Yamala nawebwa Disitulikiti eno okugikiikirira mu paalamenti nga Mmemba omukyala era yali akolera wansi wa bendera ya National Resistance Movement okutuusa mu 2016.

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. http://www.newvision.co.ug/D/8/17/535736
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-01. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebirala

kyusa