Tezira Jamwa Munnayuganda, musomesa, munnabyabufuzi era mulwanirizi w'eddembe ly'abakyala. Yakiikirira Tororo mu Paalamenti ya 1994 n'oluvanyuma yafuuka Mmemba mu Paalamenti ya Uganda ey'omukaaga ng'akiikirira Obuggwanjuba bwa Budama (1996–2001).[1] Y'omu ku ba mmemba abatandiisi b'ekitongole kya Forum for Women in Democracy (FOWODE) era yaweereza ku kakiiko ka Tororo District's Service Commission.[2]

Obuto bwe n'emisomo gye kyusa

Jamwa yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Tororo. Alina Diguli mu Social Works and Social Administration (SWASA). Era alina Dipuloma ey'enyongereza ne Diguli ey'okubiri mu Public Administration okuva ku University of Arkansas.[3]

Emirimu gye kyusa

Ng'omubazi w'amateeka kyusa

Mu 1994, Jamwa y'esimbawo okukiikirira abakyala b'e Tororo mu kulonda kw'abanakiika mu lukiiko olukwasaganya ssemateeka nga Constituent Assembly Delegate (CAD).[4] Yaweereza mu kifo ekyo wakati wa 1994 ne 1995 n'oluvannyuma y'esimbawo mu kalulu k'ababaka ba Paalamenti aka 2001 ng'omubaka akiikirira Obuggwanjuba bwa Budama. Yawangulwa eyali Minisita w'ebyemirimu, Henry Obbo.[5]

Obukulembeze kyusa

Mu 1994, Jamwa wamu ne Winnie Byanyima, Esther Dhugira Opoti , Benigna Mukiibi, Solome Mukisa ne Betty Akech Okullo batandiika ekitongole kya FOWODE, ekitongole eky'obwannanyini [6]

Eby'obufuzi kyusa

Yalondebwa ng'Omukiise wa Pulezidenti (RDC) owa Disitulikiti y'e Kaberamaido, ekifo kye yalekulira mu 2005 okusobola okwetaba mu kalulu ka bonna aka 2006. Wabuls mu 2012, kyawandiikibwa nti yalina ekisanja kye yali aweereza mu kakiiko ka Tororo District Service Commission.[7] Yawangalira mu kifo ekyo okutuusa mu 2015 lwe yesimbawo ku kifo "ky'omumyuka wa Ssentebe w'ekibiina ky'abakyala ba National Resistance Movement (NRM) mu kitundu ky'e Buvanjuba.[8]

Ebijuliziddwamu kyusa