Ttaabamiruka we Rubaga 2024
Ttaabamiruka we Rubaga 2024 yatuuziddwa nga 3rd November 2024 ku wooteri ya Sampro e Lungujja mu Rubaga, Kampala. Olukiiko luno lwayingidde mu byafaayo by'ensi Uganda nga olukiiko olwasookedde ddala mu nteekateeka z'okuzaawo Ensinza y'Ekinnansi mu Uganda. Nga abazungu tebanajja mu nsi yaffe, bajjajjafe bali bamanyi Katonda era nga bamwawula ku myoyo emirala emiyambi nagyo byebaasinzanga. Wabula abazungu, mu ngeri yeemu nga gyebaategeeza ensi nti beebaasooka okulaba omuga River Nile ffe gwetwayitanga Kiyira, era balaaga ensi mbu ffe wano tetwalina Katonda. Olwe ne batuleteera bakatonda baabwe beebasinza eyo mu nsi zaabwe gyebaava nebabatupaatiikako.
Omuzungu omu ayitibwa Henry Multon Stanley yawandiika ebbaluwa mu bakaamaabe e Bungereza kyokka nalaga nti Kabaka Muteesa I of Buganda yagiwandiise nga ayita abamisane basome ediini. Mwattu Kabaka kyeyali ayagala kwe kusomesa abantu be amagezi g'okwekuulakulanya okusinziira ku bifaananyi bye baali bamulaze ku nkulaakulanaebifa abomu nsi ye Bungereza gyebali batuuseeko. Abazungu bakola olukujjukujju nebazimba amasinzizo ate nga gebayita amasomero. Era eyo gyebatandika okukyaaya abantu Ensinza yabwe enzaaliranwa kuba baabategeeza nti Ensinza eyo yali ya Sitaani.
Olukiiko oluteekereteekera Ensinza ey'Ekinnansi olw'ekiseera
kyusaAbantu ab'enjawulo okuva mu bitongole ebitakabanira okuzuukusa omwana w'omuddugavu okumuzza ku lutembe lwa bajjajjabe bakaanya nti kyetagisa okusaawo enkola emu ebitongole byonna kwebirina okutambulira. Era balonda Omulangira Prof. Wasajja Kiwanuka, Omulangirizi w'obuwangwa n'ennono
okukulembera olukiiko olw'ekiseera olwaweebwa eddimu ely'okutabaganya endowooza wamu n'enkola ez'enjawulo ezikwata ku Nsinza ey'ekinnansi. Olukiiko luno lwalondebwako abantu bano; Jjajja Ssekitoleko Bateesaaki (mumyuka wa Ssentebe), Ssalongo Mbago Katibba (Muwabuzi asooka), Matsiko Kahigi (Muwabuzi ow'okubiri), Kato Ssenkandwa (Mwogezi) ne Nakalanzi Nakayima (Munnamawulire).
Olukiiko luno lwakutaalaga Uganda yonna okunoonya abakulembeze b'obuwangwa obulala okugatta ebirowoozo byaabwe mu nkola eno.
Emiramwa gya Ttaabamiruka we Rubaga 2024
kyusaEmiramwa gyali gigendera okwejjukanya enkola ezagobererwanga bajjajja nga bakyasinza Katonda mu nnono zaabwe. Abakiise bonna bakiriza nti teri muntu yenna alina bwannanyini ku Nsonza ey'Ekinnansi kuba yadikibwa bajjajjaffe abatusooka. Bwekityo abakiise bonna bakiriza nti Ensinza ey'ekinnansi erina kuba ya ggwanga Uganda. Awo Ssentebe yakakkasa abakiise nti olutuula luno lwategekeddwa oluvanyuma lw'okwebuuza ku Misitule y'ekikula ky'abantu, Abakozi n'enkulaakulana y’embeera z’abantu mu gavumenti yawakati.
Abamu ku bakulembeze abeetaba mu Ttaamiruka ono beebano; Kasiko Mutaasa, Ssenyonjo Vvamubusibe, Grand Master Zulu eta Daweset Arali, Ddamulira Ssempuuma, Ssabatangaavu Mubiru Nsubuga Kafumbirwango, Omutume Ssajjakabwe Busajjabukirana, Kimera Kibombo, Omulanzi Ibanda Kakoma, Ssempungu Basajjamivule, Nnyanzi Muweeka ne Ssebaggala Kiwanuka.
Ennono, Empisa n'Obuntu bulamu
Kyasalibwawo nti ensonga ezikwatagana n'ennono, empisa n'obuntubulamu zibeere ku mwanjo mu nkola nz'Ensinza ey'Ekinnansi. Bwekityo olukiiko oluteesiteesi lw'ensiza eyawamu lwasabibwa buli gyebulaga bulekeyo akakiiko k'ennono, empisa n'obuntubulamu.
Emiramwa
kyusaEnsonga | Ebigikwatako | Ebyasalibwawo |
---|---|---|
Okwawula enkola z'obusamize ku Nsinza ey'Ekinnansi | Obusamize bukoma ku Balubaale, Emisambwa, Amayembe n'Emizimu egy'okubuzaale. Obusawo bw'ekinnansi nabwo buli muttuluba lino. | Omutonzi asukkulumizibwe kuba y'ensibuko yabulikimu. Emyoyo emiyambi nagyo girambikibwenga ku mutendera ogwawansi kuba Omutonzi mwalagira obuyinza bwe. |
Okusinza okusimbye ku butonzi. Kuno kukolebwa mu Ssinzizo | Omuntu agenda mu Ssabo abeera agenze kusamira oba kujjanjabibwa | |
Ebikolebwa mu kusinza okw'ennansi | Essaala n'ennyimba ezisuuta Omutonzi | Enyimba za Lubaale tezirina kuyimbibwa mu Ssinzizo. Ennyimba z'abalongo nazo siza kuyimbibwa mu kusinza Omutonzi |
Okubulirwa ebigambo ebizimba obw'omwoyo | Okuddamu okwekeneenya ebiwandiiko byonna ebiriwo okusobola okujjamu ebigambo ebisanye okusomebwa mu kusinza okwawamu | |
Obubonero, Ennyambala, Langi, Endabika y'ebiggwa |
|
|
Ennyambala z'abakulembeze zibeere nga zoleeka emitendera gy'obutendeke | Ebyambalo byabakulembeze, endabika ya massinzizo, n'obubonero ebikozesebwa bibeere nga byebimu wonna. | |
Okutendeka abakulembeze | Essomo ettongole eririmu emitendera essatu. Omukulembeze wadembe okusoma amasomo gonna nakuzibwa oba okusigala ku ddala lyasobola. | Abakulembeze bajja kuweebwa obuvunanyibwa okusinziira ku butendeke era wajja kubaawo amabaluwa okuva mu matendekero agakakasiddwa Gavumenti aganaaweebwa abakulembeze abamaliriza okutendekebwa ku mitendera egyenjawulo. |
Omukulembeze alina okuba nga yekeeneenyezeddwa bulungi mu biki byasinze okutegeera. | Omukulembeze akirizibwa okutendekebwa mu lulimi lweyeekakasa obulungi naddala oluzaaliranwa. Wabula abakulembeze bajja kwetaaga okuyiga ennimi ezisukka mu lumu. |