Uganda Broadcasting Corporation

 

UBC

Uganda Broadcasting Corporation (UBC) mukutu gwa Uganda ogw'olukale oguweereza abantu n'addala ku ebifa mu nsi. Gw'akolebwa okuva mu bbago lya "Uganda Broadcasting Corporation Act, 2004", ery'agatta awamu emikutu gya Uganda Television (UTV) ne Radio Uganda. Yatandika okuweereza mu Gwekkuminogumu nga 16, 2005.[1]

Ebbago lya Uganda Broadcasting Corporation Act ly'akinoganya nti UBC elina okuvugirirwa omusolo agw'ateekebwawo ku layisinsi za televizoni. Okusolooza ensimbi za layisinsi ezaali ziteekeddwa ku silingisi 20,000/= (€8.40 oba US$10.80) kw'atandika mu 2005. Wabula okusolooza kuno kwakomekerezebwa mbagirawo mukulembeze w'eggwanga Pulezidenti Yoweri Museveni. Wabaddewo obunkenke ku nsonga y'okukomyawo omusolo gwa layisinsi okusobozesa okwetwala kwa UBC.[2] UBC ekwasaganya emikutu omuli UBC TV ne ladiyo endala ttaano.[1]

Okutuusa mu Gwokutaano 2011, Edward Musinguzi yeeyali dayilekita omukulu. Yagobebwa wamu n'ebeyali akulemberamu "olw'enguzi eyali essukkiridde" omwali n'emisaala egyali gitasasulwa, okutundibwa kw'ettaka elyali ery'akkampuni, n'obulango obwatundibwa mu kaseera k'emipiira gy'ensi yonna egya 2010 World Cup.[1]

W'esangibwa

kyusa

Studiyo omuwererezebwa saako ne offisi enkulu ebya UBC bisangibwa ku 17–19 Nile Avenue, Nakasero Hill, mu Kampala, ekibuga ekikulu era ekinene ekya Uganda. Ebibalo bya jjogulafe ebiraga ekitebe ekikulu ekya Uganda Broadcasting Corporation headquarters bisoma: 0°18'59.0"N, 32°35'21.0"E (Latitude:0.316389; Longitude:32.589167).[3]

Okwetereeza n'ate

kyusa

Frank Tumwebaze, Minisita w'amawulire n'ebyempuliziganya bweyayingira mu offiisi, yatondawo akakiiko ka ad-hoc okwekennenya ensonga z'omukutu. Akakiiko kakizuula nti UBC y'ali mu mabanja mangi era n'abakoozi baali banji bebaali baasasula obubi era baali tebeyambisiddwa bulungi n'ensonga endala ezitali zimu.[4]

Ttiimu y'akolebwa okukwasaganya eby'ali bilemye. Abakozi abaali abokusasula basalibwako okuva ku muwendo gw'abantu 525 okutuusa ku 349. Okusobola okugyamu abaali b'ateetagibwa, bonna 525 balagirwa okuddamu okuwandiika nga basaba omulimu buppya naddala abaali b'etaaga emirimu gy'abwe. Era abo abalondawo okuwummula baali bakuweebwa ettu eryali lisanidde.[4]

Enteekateeka ezaali zisuubirwa okutandika mu Gwomusanvu 2018 z'agenderera okukendeeza ku misaala okuva ku biliyooni za Uganda 4.5(US$1.25million) okumala omwaka okutuuka ku Biliyooni za Uganda3.5 (US$955,000).[4]

Mu Gwekkumi 2018, Kkampuni yalonda Maurice Mugisha, eyali "akulira okufulumya amawulire" ku NTV Uganda, okukola nga omumyuka wa Dayilekita.[5]

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa