Uganda Management Institute ( UMI ) ttendekero lya gavumenti ya Uganda erisomesa amasomo agenjawulo naddala ago agekuusa ku by'obukulembeze wamu n'okunoonyereza. [1]UMI etikkira diguli ne zi dipulooma ezenjawulo mu masomo agenjawulo era nga yaweebwa olukusa ekitongole ekivunaanyizibwa ku byensoma mu matendekero agawaggulu mu Uganda ki National Council for Higher Education NCHE.[2] Mu mwaka 2019 UMI yafuuka ettendekero lya gavumenti eryasooka mu gggwanga okufuna satifikeeti ekakasa nti omutindo gw'amasomo geesomesa gutuukana n'ogwo ogwetagibwa ekibiina ekikasa omutindo mu nsi yonna ekya International Standards Organization (ISO).[3]

Uganda Management Institute Logo

Endagiriro

kyusa

UMI esangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja , kiromita nga 3 mu buvanjuba bw'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala. [4] Ensengeka za UMI ku maapu zezino: 0°19'16.0"N, 32°35'52.0"E (Obusimba:0.321111; Obukiika:32.597778). [5]

Ebyafaayo

kyusa

UMI yatandika okusomesa mu mwaka 1968 nga mu budde obwo yali eyitibwa Uganda Institute of Public Administration era neggulwawo mu butongole nga 7 Ogwekkumo 1969. Mu myaka egyasooka, UMI obuvunaanyizibwa bwayo obusinga bwali bwakutendeka banna Uganda naddala abakozi ba gavumenti okufuna obukugu obubasobozesa okukola emirimu mu bifo eby'obukulembeze oluvanyuma lwa Uganda okufuna obwetwaze mu 1962.[1]

Ku ntandikwa y’emyaka gya 1970, UMI yakwatagana ne Makerere University, era netandika okugaba dipulooma ez’ekikugu (zino ziweebwa abo ababa bakuguse mu masomo ag'enjawulo) mu by’okuddukanya emirimu gya gavumenti(Public Administration) wamu neezo ezikwata ku masomo ag'ebyobusuubuzi n'enzirukanya ya zi bizinensi . Mu mwaka gwa kinaana dipulooma ezigabibwa ku UMI zeeyongera bwebagattako eya Human resource management nga eno yabo ababa bavunanyizibwa ku bakozi bannabwe mu bitongole ebyenjawulo.

Okuva mu kutondebwawo kwa UMI oba Institute of Public Administration, ettendekero lino lyali wansi wa Minisitule y’abakozi ba gavumenti. Kino oluvannyuma kyakyuuka mu mwaka 1992 oluvannyuma lwetteeka li Uganda Management Institute Statute okuyisibwa era ne Pulezidenti wa Uganda Gen. Yoweri Museveni nalisaako omukono .[6] Mu tteeka lino UMI yeetongola era newatondebwawo olukiiko olufuzi neruweebwa obuvunaanyizibwa okuddukanya ettendekero lino n'okulikulembera. Amasomo ku UMI nago geeyongera obunji era n'omuwendo gwabayizi ne gweyongera era omwaka 1999 gugenda okutuuka nga UMI egaba diguli eyookubiri oba masters, zi dipulooma ,satifikeeti, n’amasomo amampimpi. [7]

Amatendekero ga UMI

kyusa

Okuva mu July 2014, UMI yasengekebwa mu masomero/amatendekero gano wammanga: [8]

Livuunaanyizibwa ku kusomesa nzirukanya ya mirimu n'ebitongole[9]

Amasomo

kyusa

UMI esomesa amasomo agenjawulo era agamu osobola okugalaba ku mukutu gwabwe omutongole oba wano.

Laba ne;

kyusa

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/news/1233389/uganda-management-institute-makes
  2. https://unche.or.ug/institution/uganda-management-institute/
  3. https://eagle.co.ug/2019/10/24/umi-becomes-first-public-education-institution-to-be-iso-9001-certified/#:~:text=The%20Uganda%20National%20Bureau%20of,ISO%209001%20Quality%20Management%20Systems.
  4. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/dir/Central+Bank+of+Uganda,+37%2F45,+Plot+17%2F19+Kampala+Road,+Kampala/Uganda+Management+Institute(UMI),+P.O.Box+20131+K.A.R.+Road,+Kampala/@0.3167152,32.5804115,15z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc80f7f01c39:0x6b9adae1ecae2406!2m2!1d32.5803607!2d0.3137857!1m5!1m1!1s0x177dbb8e62db2ebf:0xebfb5726c2be23c6!2m2!1d32.5977149!2d0.3209968!3e0
  5. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'16.0%22N+32%C2%B035'52.0%22E/@0.3212897,32.5974133,2640m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3211111!4d32.5977778
  6. https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=562f4980-7a15-4195-9e80-ffafaa0788f2%3B1.0
  7. Emorut, Francis (29 March 2014). "1607 Graduate At Uganda Management Institute". New Vision. Retrieved 11 July 2014.
  8. "Institute Background". Uganda Management Institute. Retrieved 11 July 2014.
  9. https://schchat.com/school/uganda-management-institute