Uganda National Cultural Centre

Uganda National Cultural Centre (UNCC) kifo kya Uganda ekyateekebwawo wansi w'etteeka lya Paalamenti erya Uganda National Cultural Centre Act, erya 1959, eryakolwamu ennongoosereza mu 1959.

Uganda National Cultural Centre

Ekifo

kyusa

Ebitebe ebikulu kya UNCC kisangibwa ku corner of Said Barre Avenue ne De Winton Street, mu masekkati g'ekibuga Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Ekibitebe bino bisangibwa nnamba za mmaapu 0°18'57.0"N, 32°35'21.0"E (Latitude:0.315833; Longitude:32.589167).[1]

Obufunze

kyusa

Mu butongole kyaggulwawo nga 2 Ntenvu 1959, UNCC erina obuvunaanyizibwa bwa (a) Okussaawo ebifo ewalabibwa emizannyo n'ebifo by'ennono (b) okukubiriza n'okukulaakulanya ebifo by'ennono n'ebintu byonna ebirimu katemba ne (c) okubeera amaka g'ebibiina n'ebibinja ebikola ku kuyiiya ebiyiiye, ebyobuwangwa n'okusanyusa.[2]

Ebikolebwayo

kyusa

Ekifo kikolebwa ebintu bibiri ebikulu: National Theatre ne Nommo Gallery, era nga byonna bisangibwa mu Kampala. National Theatre ekozesebwa ng'ekifo ew'okulagira n'okwoleseza ebintu eby'enjawulo, era n'ekozesebwa n'ekifo ewalagibwa sineema. Mu Nommo Gallery woolesezebwayo ebintu by'emikolo ebikolebwa Bannayuganda n'antu b'ebweru. Ekifo era kiriko ekirnywerwamu, ekirimu emmere ennansi ebiriirwako ebirungo ebirungi n'ebyokunywa, era n'ekitundu ewasangibwa ebintu by'emikono ebintu by'emikono we bitundibwa.  

Obukulembeze

kyusa

Okulabirira UNCC buvunaanyizibwa bw'akakiiko k'abantu munaana abalondebwa minisita w'ekikula ky'abantu n'emirimu. Akakiiko era kalonda ttiimu ne bafuna abakozi abalala. Akakiiko akaliko kaakano kaalondebwa mu Gwokutaano gwa 2019 okuweereza mu kisanja eky'emyaka esatu.Abakaliko be bano;

  1. Sam Kello Okello: Ssentebe
  2. Cissy Mbabazi: Amyuka Ssente
  3. Wilson Usher Owere: Mmemba
  4. Juliet Jolly Kyobutungi: Mmemba
  5. Edison Ngirabakunzi: Mmemba
  6. Musisi Kiyimba: Mmemba
  7. Naumo Juliana Akoryo: Mmemba
  8. Fred Mutebi: Mmemba

Ebijuliziddwa

kyusa

 

kyusa
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Google
  2. This reference is used twice on this page.