Ebyafaayo (History) bw'ebyo ebintu ebyabeerawo ebbanga ddene kumpi okuviira daala ku ntandikwa y'ensi (past events since the Beginning of the universe). Nazikuno nga bajjajja ffe Abaganda bayigiriza abato ebyafaayo by'ensi n'eggwanga lyaffe Buganda eby'efaayo okuyita mu bintu nga bino wammanga; engero: empanvu, ennyimpi, ensoge, enjiiiye, ebisoko, ennyimba, emirimu, ebikocco, ebikokko, enkuza y'abaana n'ebintu ebirala bingi mwe bayita nga okusomesa ebyafaayo. Omulimu guno amakula gwasinga nga kukolebwa bakulu era nga bakuuma nga ekyo olya abazzukulu/abaana nebatuula okwetoloola ekyoto n'ebayiga saako n'okunyumirwa.Kati tujja kutunulira ebyafaayo bya Buganda ebyenjawulo twongere okukuguka mu lulimi n'ebyafaayo. Ssabasajja Kabaka awangaale!