Vampino
Vampino, Elvis Kirya, munnayuganda omuyimbi w'ennyimba az'ekika kya dance hall[1][2] era omuzannyi wa filimu nga yasooka kuzanyira filimu ya Nana Kagga eya 2012, The life.[3] Yazanyira wamu ne munne nga bayitibwa "Benon ne Vamposs."[4] Muganda w'omuyimbi Maurice Kirya.[5] Ayimbira mu kibiina kya Swangz Avenue.[6]
Obulamu bwe obw'obuto n'emisomo gye
kyusaVampino yazaalibwa mu 1980. yasomera mu masomero omw'ali Shimoni Primary school, Kabojja ne Namasagali secondary nga tannegata ku Aptech gy'eyafunira Dipuloma ya Computer Networking and Maintenance.
Okuyimba kwe
kyusaVampino yasoka okukola erinnya lye ng'ayimbira ne muyimbi munne era nga baayitibwanga Benon ne Vamposs. Bombi batandika okuyimba mu 2000. Baalina enyimba zaabwe ez'akyaaka nga "Mumulete", "I know", "Nsazewo", ne "My lady".[7] Vidiyo y'oluyimba lw'abwe "Mumuleete" yatuuka ku ennyimba ekkumi ezisinze ku kipande kya MTV mu UK.[8] Mu 2009, Vampino yasalawo okuyimba yekka ate nga ye Benon essira y'alissa mu kufulumya era n'okutunda ennyima. Okuyimba kwe ng'omuntu kwakwatayo nenyimba nga "Kwekunyakunya" ne Keko (rapper), Juliana Kanyomozi ne Cinderella Sanyu era "Tell it" mweyali ne Radio and Weasle. Era yayimbako n'omuyimbi w'enyimba za R&B Nick Nola mu nyimba nga "Nobody Like Me" ne "Setula".[9]
Enyimba ze
kyusa- Amabanja, 2014
Benon ne Vamposs
kyusa- Extra, Extra Large, 2007
Filimu z'eyazannya
kyusa- 2012 The Life as Smokey Luciano[10]
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ http://chimpreports.com/4869-my-life-meet-ugandas-dance-hall-star-vampino/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-29. Retrieved 2022-11-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-12-31. Retrieved 2022-11-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-11-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://urbanafrican.com/ugandas-vampino-teams-up-with-jamaicas-frisco-kid-on-new-hit/
- ↑ http://www.swangzavenue.com/index.php?option=com_content&view=article&id=98&Itemid=96
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-11. Retrieved 2022-11-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://allafrica.com/stories/200601250378.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-11-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-12-30. Retrieved 2022-11-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)