Veronica Isala Eragu Bichetero

Veronica Isala Eragu Bicheteroa Munnayuganda munnabyabufuzi era munnamateeka. Ye Mmemba wa paalamenti ya Uganda akiikirira Disitulikiti y'eKaberamaido okuva mu 2016.

Emabegako yali aweereza nga Omuddukanya era eyebuuzibwako omukulu ku EDG Venture Consult, Kampala okuva mu 2007 okutuusa mu 2015.[1]

Obuto bwe nookusoma kwe

kyusa

Yazaalibwa nga 3 Ogw'omunaana 1953.

Yasomera ku St Mary's College, Aboke gyeyafunira ssatifikeeti ye mu busomesa eya East African Certificate of Education (EACE), mu 1970 ne Dr. Obote College, Boroboro gyeyafunira ssatifikeeti ye eya East African Advanced Certificate of Education (EAACE). Mu 1972, yatikkirwa e Makerere University mu Uganda nga yafuna Diguli mu Mateeka era yafuna ne Dipuloma oluvannyuma mu kukwasa amateeka nga eno yagikolera ku Law Development Centre, Kampala mu 1978.

Omulimu gwe

kyusa

Yali mukulu mu ttendekero lya United States Institute of Peace, Washington DC okuva mu 2011 okutuusa mu 2012; yaliko Kkomiisona ku kakiiko akakuumi k'eddembe aka Uganda Human Rights Commission okuva 2001 ppaka mu 2007; era yaliko munnamateeka yekka mu kkampuni ya Eragu & Co. Advocates, Kampala, okuva mu 1998 to 2001; Yaliko omukulu era eyebuuzibwako ku Sentinel, Nairobi, kuva mu 1995 okutuusa mu 2001; era yaliko omukulu eyebuuzibwako ku kitongole kya UNICEF ku ofiisi zabwe ezisangibwa mu bitundu by'omu Buvanjuba n'oBugwanjuba bwa Africa mu Nairobi, okuva 1992 okutuusa 1994. Ye yali addukanya ku Kkampunimya Yinsuwa eya Apollo Insurance Company esangibwa e Kenya okuva mu 1987 okutuusa mu 1991; era yakozesebwako nga Addukanya ku Kenya Commercial Insurance Corporation okuva mu 1983 okutuusa mu 1987; era nga munnamateeka bwe yali akola ne Rhodes & Rhodes, e Lagos, mu Nigeria, okuva mu 1980 okutuusa mu1981; nga omuwandiisi mu by'amateeka ku Insurance Corporation, Uganda, kuba mu 1976 okutuusa mu 1980. era oluvannyuma lw'ebyo byonna, yalondebwa nga Mmemba wa paalamenti okuva mu 2016 okutuusa leero.

Emirimu gye mu paalamenti

kyusa

Nga oggyeko okukola nga Mmemba wa paalamenti, atuula ku bukiiko mu paalamenti nga bwe buno wammanga mu paalamenti:

Akakiiko kwali Kyakola
AKAKOLA KU DDEMBE KY'ABANTU Mmemba
AKAKOLA KU NSONGA Z'AMATEEKA N'ENSONGA ZA PAALAMENTI Mmemba

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-28. Retrieved 2023-03-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)