Veronica Lugya (Vinka)
Nakiyingi Veronica Lugya era amanyiddwa nga Vinka (yazaalibwa nga 27 Ogwomukaaga 1994) Munnayuganda munnabitone, omuzinyi, omuyimbi, era omuwandiisi w'ennyimba. Ali wansi w'ebibiina okuli ekya Swangz Avenue ne Sony Music entertainment.[1][2][3][4]
Obuvo n'okusoma
kyusaVinka wazaalibwa mu 1994 eri omwami n'omukyala Lugya nga yakula ne kitaawe e Kazo, bwe yatuuka mu pulayimale ey'okutaano, yagenda okubeera ne maama we e Bweyogerere[5].
Yagenda ku ssomero lya Hormisdalen primary school e Kamwokya ku kusoma kwe okw'obwannannyini. Oluvannyuma yeegatta ku ssomero lya Lubaga girl's school okusoma O' ne A'.[6]
Oluvannyuma yeegatta ku ssettendekero ya Makerere University n'afuna diguli mu byobulambuzi n'ennyaniriza mu 2017.[7][8]
Emirimu
kyusaVinka yatandika ng'omuzinyi nnakinku era n'akole ne Jackie Chandiru, Sera, Maurice Kirya, Cindy Sanyu n'abalala.
Oluvannyuma yafuna omulimu gw'okutembeeta abayimbi ku Swangz Avenue, gye yakolera nga maneja wa Irene Ntale.[9]
Bwe yali ku Swangz Avenue, Vinka yayambangako abayimbi okulikoodinga amaloboozi kko n'okukola obulangu mu 2015, mukama we yamutuukirira n'amusaba oba asobola okugezaako okuyimba. Yakigezaako era n'atandika okuyimba. Mu 2016, yava ku bwa maneja era essira n'alizza ku kuyimba.[10][11]
Oluyimba lwe olwasooka ng'ali yekka lwali "level" n'azzaazo "stylo" ne Irene Ntale, Ng'omwaka gwa 2017 guggwako, Vinka yafulumya oluyimba lwe "Malaika" olwamwoleka eri abantu ng'omuyimbi nnakinku.[12][13]
Okuva kw'olwo, agenze mu maaso n'okufulumya ennyimba endala nga "chips na Ketchup", overdose ng'ali ne Voltage music, love panic, by the way, omukwano guno, sure, Oluyimba Lwomwaka, bebe ng'ali Inna n'abalala. Mu 2019, Vinka yateeka omukone ku ndagaano ne Sony Music entertainment okutambuza ennyimba ze.[14][15]
Era mu 2019, yakola oluyimba ne "Bebe" ng'ali n'omuyimbi Omulomaaniya Inna nga lwafulumizibwa ku mutimbagano ne Global records.[1]
Obuvuyo
kyusaVinka yasamba omuwagizi eyali agezaako okumukwata ku bitundu bye ebyekyama bwe yali ayimba e South Sudan.[16][17]
Amaka
kyusaVinka yazaala omwana omuwala nga 10 Gatonnya 2021 mu mwagalwa we Witta Nelson, munnabyanfuna era munnabyabufuzi okuva mu disitulikiti y'e Isingiro.[18][19][20][21]
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1501104
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/60714-vinka-on-that-feud-with-irene-ntale
- ↑ https://swangzavenue.com/vinka/
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/202109/four-one-one/vinka-returns-after-a-one-year-break.html
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/60714-vinka-on-that-feud-with-irene-ntale
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/60714-vinka-on-that-feud-with-irene-ntale
- ↑ https://www.howwebiz.ug/Vinka/biography
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://swangzavenue.com/vinka/
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/60714-vinka-on-that-feud-with-irene-ntale
- ↑ https://www.galaxyfm.co.ug/2021/09/10/thank-god-vinka-drops-first-single-after-one-year-of-maternity-leave/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/i-smile-more-than-i-should-vinka-1767842
- ↑ https://swangzavenue.com/vinka/
- ↑ https://www.galaxyfm.co.ug/2021/09/10/thank-god-vinka-drops-first-single-after-one-year-of-maternity-leave/
- ↑ https://mbu.ug/2021/05/15/vinka-kicks-fan-who-tried-to-touch-her-genitalia-while-performing-in-south-sudan-video/
- ↑ https://mbu.ug/2021/05/19/molestation-just-doesnt-work-with-me-vinka-speaks-out-on-juba-incident/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://pearltimes.co.ug/i-shed-tears-vinka-opens-up-on-the-pain-and-joy-of-giving-birth-shares-babys-photo/
- ↑ https://pearltimes.co.ug/revealed-vinka-officially-unveils-lover/
- ↑ https://bigeye.ug/vinka-shows-off-her-fiancee-and-baby-for-the-first-time/