[1]

Vincent Bamulangaki Ssempijja, munnabyabufuzi mu Uganda, ensi eyookusatu mu bunene mu mawanga agali mu mukago ogutaba amawanga ga East Africa. Ye minisita w'ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi. Yalondebwa mu kifo kino nga 6 Owomukaaga 2016.[2] Yasooka kubeera minisita w'ebyobulimi wakati wa nga 1 Ogwokusatu 2015 ne nga 6 Ogwomukaaga 2016.[3] Ye mubaka akiikirira Kalungu ey'obuvanjuba mu lukiiko lw'eggwanga olukulu.[4]

Obuvo n'okusoma

kyusa

Ssempijja yazaalibwa mu disitulikiti y'e Kalungu, mu Buganda, nga 28 Museenene 1956. Yamaliriza emisomo gya O-Level mu 1974, ne A-Level mu 1976. Alina diguli mu Public Administration, gye yafuna okuva ku Nkumba University mu 2007. Diguli ye eyookubiri mu Public Administration, yagifuna mu 2010, era okuva ku Nkumba University.[5]

Emirimu

kyusa

Nga tannatuuka mu 2011, Ssempijja yaweerezaako nga ssentebe wa disitulikiti y'e Masaka. Wano nga tennafuuka Kalungu disitulikiti, Lwengo disitulikiti ne Bukomansimbi disitulikiti ezaasalibwa ku masaka disitulikiti. Mu 2011, yalondebwa mu Paalamenti eyoomwenda okukiikirira essaza ly'e Kalugu ey'obuvanjuba. Yeesimbawo ku bwannamunigina. Mu nkyukakyuka ezaakolebwa Pulezidenti Museveni nga 1 Ogwokusatu 2015, yamulonda nga minisita omubeezi obwebyobulimi. Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yamulonda nga minisita w'ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi.

Laba ne

kyusa
  • Cabinet of Uganda
  • Parliament of Uganda

Ebikuliziddwa

kyusa
  1. https://www.scribd.com/document/314964607/New-Cabinet
  2. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2020-06-25. Retrieved 2021-08-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-08-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?title=Special:ContentTranslation&campaign=contributionsmenu&to=lg&page=Vincent+Ssempijja&from=en&targettitle=Vincent+Ssempijja
  5. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?title=Special:ContentTranslation&campaign=contributionsmenu&to=lg&page=Vincent+Ssempijja&from=en&targettitle=Vincent+Ssempijja