Violet A. Akurut
Violet A Akurut amanyikiddwa nga Akurut Violet Adome (yazaalibwa nga 25 Ogwomunaana 1976) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era omusomesa.[1] Ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikitti ye Katakwi mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi[1][2][3][4][5] Mmemba w'ekibiina eky'obufuzi ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement].[1][2] She was the aspiring Woman Member of Parliament 2021–2026, of Katakwi under NRM political party.[6]
Emisomo
kyusaMu mwaka gwa 1989, yamaliriza ebigezo gye ebya Pulayimale ebya Primary Leaving Examination okuva mu Madera Girls Primary School oluvanyuma ne yegatta ku Kangole Girls Senior Secondary School okusoma Uganda Certificate of Education ye mu mwaka gwa 1993.[1] Mu mwaka gwa 1996, yamaliriza emisomo gye egya Uganda Advanced Certificate of Education okuva mu somero lya Tororo Girls School.[1] Mu mwaka gwa 1999, yafuna certificate mu kuteekateeka pulojekitti n'okuzidukanya okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute.[1] Mu mwaka gwa 2003, yatikibwa ne diguli y'ebyengiriza okuva mu Yunivasitte y'e Makerere.[1] Alina post graduate dipulooma mu resource mobilization and management okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute, gy'eyafuna mu mwaka gwa 2010. Oluvanyuma yaddayo okufuna diguli ye eya master's degree in diplomacy and international studies okuva mu Uganda Martyrs University mu mwaka gwa 2016.[1]
Emirimu nga tanegatta mu by'obufuzi
kyusaOkuva mu mwaka gwa 2012 okutuusa mu 2016, yakola nga commissioner ku Uganda Human Rights Commission.[1] Mu 2012, ye yali omukwasaganyi mu kibiina kya Women of Uganda Network. Wakati wa 2010 ne 2011, yali akola nga manager wa pulogulaamu ku Transform Uganda.[1] Okuva mu mwaka gwa 2009 okutuusa 2010, ye yali offiisa wa pulogulaamu ku ANPPCAN.[1] Yakola nga omukwasaganyi wa pulogulaamu ku World Vision International mu 2007–2008.[1] Mu 2002–2005, yakolera mu Dipaatimenti y'ebyenjigiriza, Soroti Catholic Diocese, nga manager wa pulogulaamu.[1] Ye yali offiisa wa gender officer mu Local Gavumentti ya Disitulikitti ye Katakwi mu mwaka gwa 2000–2001.[1] Okuva mu 2012 okutuusa kati, yaweereza nga ssentebbe w'akakiiko akawi k'amagezi (Advisory Board) mu Katakwi Grassroots Women Development Initiative.[1] Era okuva mu mwaka gwa 2015 okutuusa kati, yakola nga omuwanika omunkungu mu kitingole kya Uganda National AIDS Services Organization.[1]
Eby'obufuzi
kyusaOkuva mu 2016 okutuusa kati, yaweereza nga mmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda. Bwe yali mu Paalamenti ya Uganda, yali mmemba ku kakiiko ka HIV/AIDS n'endwadde ezimufaanana, ne ku kakiiko k'ebyenjigiriza n'emizannyo.[1]
Obulamu bwe
kyusaLaba na bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12 1.13 1.14 1.15 1.16 1.17 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=135
- ↑ 2.0 2.1 2.2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-04-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/tag/violet-akurut/
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/akurut-violet-adome-132/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/alupo-ogwang-battle-for-supremacy-in-katakwi-1825070
- ↑ http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=1617