Vitamiini

(Oleetedwa wano okuva ku Vitamini)

Vitamiini (Vitamins) nnyingi ddala nga n’ezimu tezinnaba kuvumbulwa. Kino kitegeeza gy’okoma okulya emmere ey’ebika ebye’enjawulo gy’okoma okufuna vitamiini ennyingi.

Buli kiramu kyetaaga vitamiini okukula n’okuba ekiramu obulungi. Omubiri gulabika tegusobola kwekolera vitamiini zagwo , ekintu ekigwetaagisa okuzijja mu mmere eba eriiriddwa, Buli vitamiini erina omulimu gwa njawulo gw’ekola mu mubiri. Okutomeggana kwa kemiko mu mutereezabulamu mu mubiri kwetaagisa vitamiini nnyingi era okubulawo oba obuyitirivu bw’emu kiyinza okutaataganya enkola y’endala.waliwo:

  1. vitamiini ezimerenguka mu masavu (Fat-soluble vitamins). Muno mulimu vitamiini nnya--A, D, E, ne K—era eziyitibwa vitamiini ezimerenguka mu masavu(fat soluble vitamins). Zikutulwakutulwa ne ziyingizibwa okuyita mu masavu agabeera mu dayate .
  2. Vitamiini A . Eno yetaagibwa okukola amagumba amagumu, okulaba obulungi, n’okukola olususu olulungi. Esangibwa mu bibala n’enva endiirwa ebyakiragala omukwafu ne kyenvu .
  3. Vitamiini D. Eno yetaagibwa abaana kubanga eyamba kalisiyaamu okukola amannyo n’amagumba ematereevu ate nga magumu ddala. Omusana ogutuuka obutereevu ku lususu guyamba omubiri okwetondekerawo vitamiin D. Abaana neb a bbebi batera okwetaaga nakongereza(supplement) ya vitamiini D Infants and young chirdren often need a vitamin D supplement. Kyokka amata agasinga gongerebwamu vitamiini D mu kukolebwako mu makolero.
  4. Vitamiini E . Eno eyamba okukuuma vitamiini A n’obutaffaali bw’omusaayi obumyufu(red blood cerls). Esangibwa mu mmere enyingi era kumpi buli muntu afuna emumala.
  5. Vitamiini K .Eno y’emu ku vitamiini ezikolebwa bakitiiria mu mubiri gw’omuntu munda. Bakitiiriya zizo zibeera mu kyenda munda . Omuwendo omutono era gusangibwa mu bikoola bya kiragala eby’emboga, n’ekibumba ky’embizi .

Vitamiini ezimerenguka mu masavu(Fat-soluble vitamins ) ziyinza okuterekebwa mu mubiri okumala ekiseera ekiwanvu naddala mu binywa eby’amasavu ne mu kibumba.

Vitamiini ezimerengukira mu mazzi (Water-soluble vitamins). Vitamin eziri mu kibinja kya B ziyamba okukuuma olususu olulamu n’ensengekera y’obusimu(T nervous system) ekola obulungi. .Vitamiini eza B era ziyamba okujja amaanyikasoboza (energy) mu bireetamaanyi(carbohydrates).

Ate vitamiini C yetaagisa okukuuma amannyo nga malamu n’okusobozesa omubiri okuyingiza ayani(iron).

Vitamiini zino ezimerengukira mu mazzi (water-soluble vitamins) teziwangaala mu mubiri .Kino kitegeeza nti ebiriisa ebizirimu birina okuliibwa buli lunaku.

Bivudde mu nzivuunulo "Essomabiramu"(Biology), ekya Muwanga