William Leslie Amanzuru
William Leslie Amanzuru
| |
---|---|
Nationality | Ugandan |
Known for | environmental human rights activist |
William Leslie Amanzuru Munna Uganda omulwanirize w'obutonde era omukulembeze wa friends of Zoka mu Uganda.
Ebimukwatako
kyusaAzaalibwa mu Disitulikiti ye Adjumani mu mambuka ng'ebugwanjuba bwa Uganda, Amanzuru yakulira mu bitundu ebyetolodde Zoka forest ekibira mu bugwajjuba bwa Nile mu Uganda.[1][2][3]
Emirimu gye
kyusaOluvanyuma lw'okulaba nga ebibira bisaanyizibwawo mungeri emenya amateeka, Amanzuru yasalawo okubaako kyakola okulaba nga ekibira kya Zoka forest tekisaanyizibwawo. Mu 2015, Amanzuru wamu n'abantu mu kitundu gyava beegattira wamu mu kibiina kyebayita "friends of Zoka", ekibiina ky'abalwanirize be ddembe ly'obutonde abaagala abasala emiti okuva mu kibira kya Zoka mungeri emenya amateeka naddala abatuunzi b'embawo, n'abookyi b'amanda okukikomya.[4][1][2][5]
Muntandikwa y'ekibiina ki friends of Zoka, baakozesa watsap okukwasaganya emirimu gyaabwe n'okulondola abo abatema emiti era n'okwewereza obubaka singa wabaawo amawulire ku muntu yena eyenyigira mu kusala emiti mu ngeri emenya amateeka era nga betaaga okusitukiramu.[4][2][6][7]
Amanzuru asanze okuwakanyizibwa okwamanyi okuva eri amagye ga Uganda ag'amanyi n'abasirikale ba poliisi abaali tebafaayo kwabo abasuubula ebaawo ezisaliddwa mungeri emenya amateeka. Yafuna okutiisibwa tiisibwa okuttibwa, okuyingirirwa mu nnyumba ye, era yalina okutwaala famile ye kilomita 500 okuva weyali ebeera okusobola okubagya mubulabe.[4][2][8][9]
Ye wamu n'abalwanirizi b'obutonde abala, bategese enkungana okumanyisa abantu ku bulabe obuli mu nkyukakyuka y'obudde. Mu 2019 baategeka okutambula kiromita 470 okwaagendereramu okutaasa ekibira ki Zoka forest, baatambula okuva e Kampala ekibuga ekikulu ekya Uganda paka ku kibira ki Zoka forest mu Disitulikiti ye Adjumani era kwamala ennaku 15.[2][10]
Obuwaanguzi bwe
kyusaAmanzuru yeyawangula ekirabo ekya European Union human rights Defenders Award 2019 mu Uganda olw'emirimu gye egyissa essira ku kutaasa obutonde n'obwenkanya ku mbeera y'obudde.[1][11]
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://www.eeas.europa.eu/node/61975_en
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 https://www.csmonitor.com/World/Africa/2019/0924/Uganda-s-forests-are-disappearing.-He-s-fighting-back
- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/tea/magazine/amanzuru-wins-eu-human-rights-defenders-award-1417748
- ↑ 4.0 4.1 4.2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-04. Retrieved 2024-06-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://defenddefenders.org/defender-of-the-month-william-leslie-amanzuru/
- ↑ https://souwieon.com/for-inspiration/william-amanzuru-on-saving-zoka-forest/
- ↑ https://www.independent.co.ug/race-on-to-restore-ugandas-forests/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/police-on-the-spot-over-fresh-plunder-of-zoka-forest-reserve-3334906
- ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/zoka-forest-illegal-lumbering-going-on-unabated
- ↑ https://redpepper.co.ug/2022/05/adjumani-locals-leaders-to-meet-over-zoka-forest-plunder/
- ↑ https://nilepost.co.ug/2019/05/07/ugandan-william-amanzuru-wins-eu-human-rights-defenders-award-2019/