Wooteri Eqatorial
n'akabaala
Hotel Equatoria yali wooteeri mu kibuga kya uganda ekikulu Kampala, nga y'ekwata ekifo eky'okusatu mu by'enfuna mu mukago gwa East African Community . Yali mmemba w'ekibiina kya Imperial Hotels Group .
Ekifo wesangibwa
kyusaWooteeri eno yali esangibwa ku nsonda ya William Street ne Kyaggwe Road, wakati mu kitundu kya Kampala disitulikiti y'ebyobusubuuzi . Ebifo ebiriraanyewo kuliko PostBank House, emitala w’oluguudo ku William Street, Kampala Pentecostal Church, ku Kyaggwe Road ne Sun City Shopping Arcade, ku Kampala Road. Ensengeka za wooteeri eno ku maaapu zaali: 0°19'05.0" N, 32°34'25.0" E (latitude: 0.318056; longitude: 32.573611). [1]
Okulambika okutwaliza awamu
kyusaEsangibwa wakati mu kibuga Kampala ekibuga kya bizineesi n’ebyobusuubuzi, Hotel Equatoria yalina ebisenge omugatte kinaana mu mwenda, nga kuliko: Standard Rooms abiri mu bina, Deluxe Rooms amakumi ana, Executive Rooms abiri mu bina ne Family Room emu. Buli kisenge kyalimu ekibayamba okufuna empewo ennungi (air conditioner), mwalimu safe yebyuma bikalimagezi , emmeeza y’okukolerako ne Ttivvi ya Vidiyo ne Satellite. Wooteeri eyo era yalina disiko eyali wansi w’ettaka, erimu empewo. [2]
enkulakulana ezikoleddwa
kyusaMu December w'omwaka gwa 2009, bannannyini wooteeri eno baagifuula ekifo ekinene eky’amaduuka, nga mulimu amaduuka agawereraddala 700 ag’enjawulo; ( Ekifo ekinene eky’amaduuka ekya Equatoria ). [3] [4]
Obwannannyini
kyusaEkizimbe kino eky'amaduuka mmemba mu kibiina kya Imperial Hotels Group .
Laba nabino
kyusaEbiwandiiko ebikozesebwa
kyusa- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'05.0%22N+32%C2%B034'25.0%22E/@0.3181052,32.5733271,19z/data=!4m2!3m1!1s0x0:0x0
- ↑ http://www.southtravels.com/africa/uganda/hotelequatoria/index.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/200912141063.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20221212064143/https://webmail.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=21827&catid=42&Itemid=74