Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba ka Yulaniyaamu era kayitibwa Atomu ya Yulaniyamu (Uranium atom) mu Luganda .

Akaziba ka yulaniyaamu nantalabikalabika, si ku nsi kwokka naye ne mu bwengula ne ku ngulungo endala. Kino kiva ku kuba nti okufaanana n’ekikulembero oba zaabu, yulaniyaamu etondekebwawo munda mwa semufu eziba zibwatuka era kubanga erina obukontanyo ne nampa nnyingi , munda mwayo, teyetondekawo mangu. Akaziba ka yulaniyaamu ke kasingayo obuzito kw’bwo obusangibwa mu butonde.

Yulaniyaamu kalina konta 92 n’obusannyalazo 92. Obusanyalazo bwesengese mu bire (rings) musanvu bwe buti:


i) Obusenyalazo 2 mu kire ekisooka.

ii) Obusannyalazo 8 mu kire (ring) eky’okubiri

iii) Obusannyalazo 18 mu kire eky’okusatu.

iv) Obusannyalazo 32 mu kire eky’okuna.

v) Obusannyalazo 21 mu kire eky’okutaano.

vi) Obusannyalazo 9 mu kire eky’omukaaga.

vii) Obusannyalazo 2 mu kire eky’omusanvu.


Obusannyalazo 6 ku buno buba busannyalazo bwa kiyayaano (valance electrons), ekitegeeza nti kyangu obusannyalazo buno okubuuka ne bweyunga ku atomu endala, ekiraga nti kyangu atomu za yulaniyaamu okwekolamu molekyu, emu n’endala era n’ebika bya atomu ebirala nga kaboni.

Singa yulaniyamu akwasawazibwa ne okisigyeni mu mpewo, atalagga, mu ngeri y’emu kkalwe bw’akola, naye entalaggo ya yulaniyaamu eba nzirugavu si myufu.Okufaanana ne atomu enzito ng’eya kkalwe, atomu za yulaniyamu zirina nampawengwa nnyingi okusinga obukontanyo. Si atomu za yulaniyamu zonna nti zirina omuwendo gwa nampawengwa gwe gumu. Ziba ne nampawengwa eziri wakati wa 141 ne 146, okusingira ddala nampawengwa 143 oba 146.

Atomu za yulaniyaamu nzito nnyo ekizifuula okuba nga si nzigumivu era empalirizo ey’amaanyi ey'Obuziizi (the strong nuclear force) esanga obusibu okukuumira awamu nampawengwa n’obukontanyo bwazo bwonna era zitera okuvibwako nampawengwa n’obukontanyo obumu obuwaguza ne bwejjawo. Kino kye kiyitibwa ekifulumyalubugumu oba olubumbulukuko (radioactivity). Kubanga bulina nampawengwa nnyingi nnyo, obuziba bwa yulaniyamu era busobola okweyabuluzaamu obuziba obuwewufu , naddala nga kabadde katomeddwa nampawengwa endala.

Obuziba bwa yulaniyaamu busobola okukutukamu obuziba obw’ennjawulo naddala obuziba obulala obw’ekkekwa nga keriputoni, baliyamu, situlontiyamu oba ekisenoni. Ebika bya atomu ezikola bino ntono nnyo ddala. Singa atomu ya yulaniyaamu ekutukamu, yetaagisa amasoboza matonoko okukumira atomu ebbiri entono awamu era amasoboza gano geyolekera mu kwokya.

Kino kiyitibwa “kyabuluzatomu” (fission). Buli mulundi enkyusabuziizi y’ekyabuluzatomu (fission reaction) bw’ebaawo mu kirompe ekya yulaniyaamu (lump of uranium)) ewandula amasoboza (it shoots our energy) agayingira mu buziba bwa yulaniyaamu obulal ne gabukutulamu era kino ne kiviirako enkyusabuziizi ez’omuddinganwa, ekiyinza okuviirako obubwatuka okunene. Eyo eba "bbomu ya buziizi"(Nuclear bomb).

Omusajja eyavumbula yulaniyaamu yamubbula mu nkulungo ya “Uranus” naye endagakintu eno terina kakwate na nkulungo gye yabbulwamu.