Yunivasite ya Cavendish Uganda
Cavendish University Uganda (CUU) erina layisinsi era yakkirizibwa ekitongole kua Uganda National Council for Higher Education (UNCHE), era yatongozebwa mu 2008. Esengekebwa mu kifo kya abiri (20) mu yunivasite ezisinga okusomesa mu Uganda era ekwata ekifo kya 10593 mu nsi yonna.[1][1]
Ekifo
kyusaCampus enkulu eya CUU esangibwa ku 1469 ku luguudo lwe Ggaba, mu Nsambya , ekibuga ekiriraanye Kampala mu Bukiika ddyo , ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Wakati wa Nsambya n'ekibuga kya Kampala waliwo nga kiro mita 5 (3.1 mita).
Mu Gw'omunaana gwa 2016, Yunivasite yatongoza ettabi lyayo ery'okubiri mu kitundu kye Bukoto, okubeezaawo faculty z'amateeka n'ebyobulamu.
Okutwalira awamu
kyusaCavendish University Uganda (CUU) mbaguliro ly'ebyenjigiriza erya waggulu eryaweebwa ebbaluwa y'obuyinza obw'ekiseera mu 2007 okuteekawo yunivasite ey'obwannanyini wansi wa Universities and Tertiary Institutions Act No. 7 of 2001.
CUU erina license era yakkirizibwa Uganda National Council for Higher Education (UNCHE), era yatongozebwa mu 2008.
Kalikyulaamu eyetoloolera ku bayizi eya CUU ekozesa enkola ezisinga obulungi mu kusomesa n'okuyiga era egenderera okutuukiriza missiom ya CUU ey'okukyusa abayizi okufuuka ab'obuvunanyizibwa, abayivu, abaweebwa emirimu era abatuuze ab'etandikirawo emirimu.
Cavendish University Uganda esomesa amasomo agaliko akatale era agakkirizibwa agalabikibwa mu bina byesomesa okugeza faculty of Law, Science & Technology, Business & Mnagement, and Socio- Economic Sciences. Waliyo n'essomero lya Postgraduate Studies & Research.
Okusomera ku CUU kuyigiriza obuyiiya, kwetoloolera ku bayizi era nga n,okwegeezaamu kutekebwako nnyo essira. Ebyuma bikalimagezi bitekebwawo okuyambako mu kuyiga, mu pulojekiti,mu case studies, mu kusoma ng'oviira wala ne mu ngeri endala ez'okusomesa.
Cavendish University Uganda erina abayizi abawerako okuva mu nsi eziwererako ddala 15 ez'enjawulo. Abayizi abasoba mu 5,000 be bakatikkirwa okuva ku CUU mu masomo ag'enjawulo mu saatifikeeti, dipulooma, digguuli ne masters okuva lw'elyatandikirwawo.
Ebyafaayo
kyusaYunivasite yaggulwaawo ng'erina abaana 45 mu kifo ekyalimu Makerere High School ku kasozi ke Makerere. Omuwendo gw'abayizi gwawera n'ebasoba mu 250 mu 2009. Mu 2010, CUU yasenguka nedda ku luguudo lwe Ggaba, ekyemanga wa American Embassy.
Abayizi abaaliwo abamanyikiddwa
kyusa
Bannabyabufuzi n'abakozi ba Gavumenti
kyusa- Persis Namuganza, Munanbyabufuzi mu Uganda era minisita omubeezi ow'ebyettaka mu kanineeti ya Uganda.
- Robert Kyagulanyi, Munnamateeka wa Uganda, musanyusa era munnabyabufuzi. Mukulembeze w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Unity Platform.
Firimu, TV ne ladiyo
kyusaBetinnah tianah, mukozi ku Tv mu Uganda, muzannyi wa firimu, model ate wa bya misono.
Musawo
Joan Nanteza, Amref health Africa.
Library resources
kyusaYuvivasite erina amatabi g'amaterekero g'ebitabo ataano mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo, bga buli emu ekikiirira ekifo ky'okusomeramu omuli ebyuma bikalimagezi ebituukirwako mu kibiina ekigatta amaterekero g'ebitabo ga University CUUL.
Amasomo
kyusaZino ze pulogulamu ezisomesebwa ku CUU:[2]
Postgraduate programmes
kyusa- Master of Business Administration
- Master of Business Administration - Accounting & Finance
- Master of Business Administration - Marketing
- Master of Business Administration - Management
- Master of Business Administration - Entrepreneurship
- Master of Business Administration - Human Resources Management
- Master of Business Administration - Procurement & Supply Chain Management
- Master of Laws (LLM)
- Master of Public Health
- Master of Arts in International Relations & Diplomatic Studies
- Master of Science in Project Management
- Master of Security Studies
- Master of Information Technology
Dipulooma ez'oluvannyuma lw'okutikkirwa
kyusa- Postgraduate Diploma in Business Administration (PGD BA)
Pulogulaamu za diguli ey'awansi
kyusa- Bachelor of Business Administration: Generic
- Bachelor of Business Administration- Banking & Finance
- Bachelor of Business Administration- Accounting & Finance
- Bachelor of Business Administration- Procurement & Logistics
- Bachelor of Business Administration- Human Resource Management
- Bachelor of Business Administration - Management
- Bachelor of Arts in International Relations and Diplomatic Studies
- Bachelor of Science in Computer Science
- Bachelor of Information Technology
- Bachelor of Journalism & Communication Studies (Public Relations/Mass Communication)
- Bachelor of Laws
- Bachelor of Public Health
- Bachelor of Science in Environmental Health Science
- Bachelor of Science in Software Engineering
- Bachelors in Economics and Statistics
- Bachelor of Arts in Public Administration and Management
- Bachelor of Mass Communication and Journalism
- Bachelor of Environmental Health Science
Amasomo ga Dipulooma
kyusa- Diploma in Computer Science
- Diploma in Information Technology
- Diploma of Paralegal Studies
Laba n'ebino
kyusa- Makindye Division
- List of universities in Uganda
- Education in Uganda
- ↑ https://www.4icu.org/reviews/14583.htm
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210116091924/https://www.cavendish.ac.ug/programmes/faculties-schools/school-of-post-graduate-studies-and-research/school/4https://web.archive.org/web/20210116091924/https://www.cavendish.ac.ug/programmes/faculties-schools/school-of-post-graduate-studies-and-research/school/4