Yunus Sentamu (yazaalibwa nga 13 Ogwomunaana 1994) munnayuganda omuzannyi w'omupiira omutendeke azannya ng'omuteebi.

Olugendo lw'omupiira

kyusa

Ilves

kyusa

Mu Gwomusanvu 2016, Sentamu yakkirizibwa okuzannyira FC Ilves mu Veikkausliiga oluvannyuma lw'okugonjoola ebizibu bya visa, oluvannyuma lw'okuba nga yali amaze okuteeka omukono ku ndagaano mu Gwolubereberye 2016.

Tirana

kyusa

Nga 19 Ogwomukaaga 2017, Sentamu yamaliriza okwegatta ku Tirana mu liigi ya Albania ey'oku ntikko. Yazannya omupiira gwe ogusooka mu luzannya olusooka olw'okusunsulamu abeetaba mu mpaka za UEFA Europa League eza 2017-18 bwe baali bazzanya ne Maccabi Tel Aviv era Tirana n'ewangulwa ku ggoolo 2-0 . Yazannya ne mu luzannya olw'okubiri nga bazannyira ku kisaawe kya Selman Stërmasi, n'aweebwa kaadi emmyufu olw'ekisobyo kye yakola era Tirana bwe yawngulwa ku ggoolo 3−0, n'ewandulwa ku mugatte gwa ggoolo 5−0.

Sentamu yali kapiteeni wa Tirana omulundi gwe ogusooka nga 25 Ogwekkuminoogumu nga bagwa amaliri ga 1-1 ne Shënkolli. Wabula, ekya ttiimu ye okusalawo okumufuula kapiteeni abawagizi baakiwakanya nnyo.[1] Omutendesi Zé Maria yeewozaako era n'atendereza Sentamu, ng'amuyita "ekyokulabirako eri buli omu". Yawangula ggoolo ze essatu mu mupiira gumu ezaasooka nga 17 Ogwekkumineebiri nga bawuttula Pogradeci ku ggoolo 6-0 mu mupiira ogw'e 11. Mu muzannyo ogwasembayo mu 2017, Sentamu yawangula penati eyateebwa Karabeci era ye kennyini n'ateeba ggoolo ey'okusatu nga bawangula Naftëtari Kuçovë ku ggoolo 0-4 n'afuuka omuzannyi wa Tirana eyasooka okuteeba ggoolo eziweza emiwendo ebiri mu sizoni ya 2017-18.

Sentamu yamaliriza osizoni ye esooka mu ggwanga lya Albania ng'ateebye ggoolo 12 mu nzannya 19 egya liigi nga Tirana efuuka nantameggwa wa liigi ya Albania ey'oku ntikko oluvannyuma lw'omegga Kastrioti Krujë nga 16 Ogwokutaano 2018.

Sentamu yaddamu ne yeegatta ku Vipers SC nga 28 Ogwolubereberye 2021 era n'assa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ne ttiimu eno esangibwa e Kitende. Yayanjulwa omutendesi wa Vipers SC, Fred Kajoba ku St. Mary's Kitende mu mpaka za Uganda Premier League eza sizoni ya 2020/21.

Ebibalo bya ggoolo

kyusa

Emipiira gy'eggwanga

kyusa

Template:Updated[2]

Ttiimu y'eggwanga lya Uganda
Omwaka Enzannya Ggoolo 2014 10 4
2015 3 0
Omugatte 13 4

Emipiira gy'ebweru

kyusa
# Ennaku z'omwezi Enfo Omulabe Ebyavaamu Ekivuddemu Okuvuganya Okuddamu
1. 12 Ogwolubereberye 2014 Ekisaawe kya Athlone, Cape Town, South Africa  Burkina Faso 1-0 3-0 Empaka za African Nations Championship eza 2014 [2]
2. 2-0
3. 20 Ogwolubereberye2014 Ekisaawe kya Cape Town, Cape Town, South Africa  Morocco 1-1 1-3 Empaka za African Nations Championship eza 2014 [2]
4. 9 Ogwekkuminoogumu 2014 Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Kampala, Uganda  Ethiopia 2-0 3-0 Gwa mukwano [2]

Engule

kyusa
AS Vita Club
  • CAF Champions League: Omuwanguzi ow'okubiri 2014
Tirana

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Sentamu captain
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 "Yunus Sentamu". National-Football-Teams.com. Retrieved 11 August 2016.

Obulandira obulala

kyusa
  • Yunus Sentamu at Soccerway