Ada Ehi
A
Ada Ogochukwu Ehi (yazaalibwa mu Gwomwenda 1987), amanyiddwa olw'erinnya lyakozesa ku sitaagi erya Ada Ehi, Omunigeria ono muyimbi wa nnyimba za ddiini era muwandiisi wa nnyimba.[1] Yatandiika okuyimba nga alina emyaka 10 era yatandikira mu child star Tosin Jegede. Bweyatandiikira obukugu bw'okuyimba mu Loveworld Records mu 2009, ettutumu lye ne lye yongera mu nsi ye wamu n'amawanga ageebunayiira ng'ayita mu nnyimba ze wamu n'obutambi bwazo.[2][3]
Ebimukwatako
kyusaObuto bwe
kyusaOmukyala ono yazaalibwa omwami Victor n'omukyala Mabel Ndukauba, Ehi ne bannyina 3 abalala baakula bawuliriza ennyimba ez'eddiini. .Mutuuze mu ssaza ly'e Imo mu Nigeria.[4] Ku myaka 10 , yalondebwa okubeera omu ku bayimbi mu band y'abawala abato abayimbi mu Nigeria Tosin Jegede.
Yatikkirwa mu Lagos State University, (mu B.Sc Chemical & Polymer Engineering). Nga akyali mu yuniversite , yeenyigiranga mu kutendeereza mu Believers Loveworld Campus Fellowship.[5] Oluvannyuma yeegatta ku kwaya ya Christ Embassy era okuva olwo, abadde ayimbira ddala mu kwaya y'ekkanisa eno.
Ehi yeegatta ku Loveworld Records mu 2009.[6]
Yasisinkana , Moses Ehi, ku kkanisa ya Christ Embassy bweyali yeegezaamu mu nnyimba n'akyali ku yunivasite. Bano bagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu 2008 era nga abafumbo bano balina abaana 2 .[7]
Okuyimba kwe
kyusaOkuva lwe yeegatta ku kwaya ya Christ Embassy , Ehi yeenyigidde butereevu mu minisitule y'ennyimba ku Christ Embassy, era ayimbye ku mikolo egy'enjawulo egy'ekkanisa eno mu ggwanga lye wamu n'ensi endala omuli Bungereza ,Amerika n'ensi za Afrika eziwera ..[8]
Alubaamu ye eyasooka eyitibwa Undenied yafuluma mu mwezi gw'ekkumi n'ogumu mu 2009. Yo alubaamu ya Lifted & So Fly, yafuluma mu gw'ekkumi n'ogumu mu mwaka 2013.[9][10][11] Yafulumya alubaamu ye eyookusatu eyitibwa , Future Now, mu gw'omwenda 16, 2017. Alubaamu eno yatwaala ekifo ekisooka ku iTunes mu Nigeria ku lunaku lwe lumu .[12]
Discography
kyusaStudio albums
kyusa- Undenied (2009)
- Lifted (2013)
- So Fly (2013)
- Future Now (2017)
- Ada's EP Vol 1 (2019)
- Born Of God (2020)
- Everything (2021)
Selected singles
kyusasn | Single | Year released |
---|---|---|
1 | Bobo Me | 2012 |
2 | Our God Reigns | 2015 |
3 | Only You Jesus | 2016 |
4 | I Testify | 2016 |
5 | Cheta | 2016 |
6 | Jesus (You are Able) | 2016 |
7 | I Overcame | 2017 |
8 | Like This | April 2019 |
9 | Settled | February 2020 |
10 | Fix My Eyes on You ft. Sinach | March 2020 |
11 | Now | Dec 2020 |
12 | Open Doors | September 2021 |
Mu 2017, Ehi yasomebwa mu lukalala lwa YNaija nga omu ku bakkkiriza 100 abasinze okumanyika mu Nigeria . .[13] Yanwangula engule mu Groove Awards mu 2017 nga omuyimbi w'omwaka mu bugwanjubwa bwa Afrika nga wano yali abbinkanye n'abayimbi abalala okuli Frank Edwards, Sinach, Joe Praize wamu n'abasumba .[14] Mu 2019 "Only You" lwa londebwa ng'olumu ku nnyimba 20 ezasinga okulabibwa mu myaka 10 mu Nigeria.[15] Nga 26 Ogw'omunaana 2021, yafuna awaadiye eya youtube eyasooka olw'okuweza abagoberezi akakadde kamu ku mukutu guno .
Laba ne bino
kyusa- Olukalala lwaba Igbo
- Olukalala lw'abayimbi abayimba ez'eddiini mu Nigeria
- Olukalala lw'abayimbi abanigeria
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=oWOJRwBGSOw&t=5s
- ↑ Jayne Augoye (July 8, 2017).
- ↑ Daniel Anazia (July 8, 2017).
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-20. Retrieved 2022-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Chinyere Abiaziem (July 17, 2017).
- ↑ "Ada Ehi Biography & Net Worth".
- ↑ "Official Profile and Biography of Nigeria Gospel Musician Ada Ogochukwu Ehi".
- ↑ Uche Atuma (July 16, 2017).
- ↑ Francisca Kadiri (February 26, 2016).
- ↑ ThisDay (August 29, 2009).
- ↑ Francisca Kadiri (February 26, 2016).
- ↑ https://www.bellanaija.com/2017/10/adas-new-album-future-itunes/amp/
- ↑ Tolu (May 1, 2017).
- ↑ "Groove Awards 2017 full list of winners".
- ↑ "Here are the top 20 most viewed Nigerian music videos of the decade"
External links
kyusa- https://web.archive.org/web/20221207114010/https://hazelguides.com/andy-hildebrand-net-worth/
- Omutimbagano omutongole
- Ennyimba za Ada Ehi