Aisha Sematiko amanyikiddwa nga Hajati Aisha Sematiko (yafa nga 19 Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2010 )[1] yali omusasi w'amawulire ku CBS radio. Ye yali munnayuganda omukyaala eyasooka okusoma amawulire mu Luganda ku Laadiyo ekyamuyamba okusikiriza abakyaala abalala okwegatta mu kisaawe ekyo. Yalangilibwa ebissera ebisinga nga omusomi w'amawulire asinga mu mwaka.[2] Amelia Kyambadde yasiima Hajati Aisha Sematiko nga omu ku bantu abamanyikiddwa mu State House bey'enyumirizaamu okubaamu.[3] Mu 2003, yalondebwa mu kifo eky'okubiri nga omusomi w'amawulire ku laadiyo asinga ku Dembe FM n'obululu 385 votes emabega wa Kaddu Mukasa owa CBS eyawangula n'obululu 460.[4]

Emirimu kyusa

Yatendekebwa Bbale Francis ku TV era ne ku Laadiyo natendekebwa Eva Kabali Kaggwa eyali ku radio Uganda. Batabani be abbabiri abasoma eby'amawulire; Nasser yakola ne Radio Simba nga omusasi wa mawulire atte Hassan nakola mu bitundu bya Laadiyo ebya Straight Talk.[2]

Laba na bino kyusa

  • Rachel Kabejja
  • Patricko Mujuuka
  • Sheila Nnvannungi
  • Alex Ndawula

Ebijuliziddwa kyusa

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-26. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-26. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.newvision.co.ug/news/1115996/happened-house
  4. https://www.newvision.co.ug/news/1253169/readers-vision-chosen

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya kyusa