Ajok Lucky yazaalinwa mu Gusooka mu 1962, nga Munabyabufuzi Omunayuganda akiikirira Konsitituweensi ya Munisipaali ya Apac nga omukyala omubaka wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda [1] ey'omwenda wansi w'ekibiina kya Uganda Peoples Congress (UPC).[2][3][4]

Lucy Ajok
Yazaalibwa Disitulikiti ya Apac
Eggwanga Munayuganda
Obuyigirize St. Catherine High School, Lira district
Emyaka gy'aazze ng'akola Okuva mu 2011 okutuuka kati
Kyebamumanyiiko Mukyala Omubaka wa Paalamenti akiikirira Munisipaali ye Apac
Ekibiina ky'eby'obufuzi Uganda People's Congress
Ajok Lucy.jpg

Okusoma kwe

kyusa

Lucy yasomera ku St. Catherine High School mu Disitulikiti ye Lira.

Emirimu gye

kyusa

Nga tanaba kuyingira mu byabufuzi mu 2011, yali akola n'ekitongole ekitadukanyizibwa gavumenti ekiyitibwa Move On Referral nga yakola mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by'amayumba.[2]Mu 2016, yawangulwa Betty Awori Engola ku ky'ekifo kya Paalamenti ya Uganda eye kumi.[2] Mu 2015, yawangulwa Kenny Auma Lapat mu kamyuufu ka UPC, n'atekayo okusaba kwe mu kkooti nga agamba akalulu kaalimu ebirumira nadala mu kaseera k'okulonda.[5] Yawerezaako ku kakiiko ka Paalamenti akavinaanyizibwa ku by'obusuubuzi, obulambuzi, okusiga ensiimbi wamu n'amakolero.[6]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa