Akite Agnes

Munayuganda Munnakatemba

  

Akite Agnes

Akite Agnes (yazaalibwa nga 19 Ogwokusatu 1983) munayuganda omuzannyi wa Katemba ow'oku siteegi, mwogezi w'oku mikolo, era ayagala nyo okuyamba. Amanyiddwa nnyo olw'okuzannya nga Arach mu firimu ya The Hostel. Era yazannyirako mu firimu ya Pearl Magic's Girl from Mparo nga Mama Brian, muliraanwa alingiriza. Engeri ye eya Katemba ya kusaagirira kunsonga eziruma abantu mu mbeera zaabwe eza buli lunaku mu bulamu bwabwe.

Obulamu n'obuyigirize bwe

kyusa

Agnes yazaalibwa nga 19 Ogwokusatu 1983 mu Kampala, Uganda, mu maka ga Anthony Opio, omubalirizi w'ebitabo ne Hellen Opio. Ye mwana ow'okutaano mu baana mwenda bwebazaalibwa. Yakulira Kitintale oluvannyuma n'adda e Mutungo, ebitundu ebiriraanye Kampala. Yakuzibwa nga Mukatuliki n'agenda mu St. Kizito Primary School, Bugolobi, gye yatuulira ebigezo bye eby'eky'omusanvu, era oluvannyuma yeegatta ku Our Lady of Good ounsel,Gayaza gyeyamalira sekendule ye.Ebigezo ebya UCE yabituulira ku Naalya S.S Namugongo oluvannyuma yeegatta ku St.Lawrence reamland Campus nga eno gyeyatuulira ebigezo ebya UACE. Oluvannyuma yegatta ku Makerere University mu 2003 gyefunira diguli esooka mu by'obulambuzi.

Emirimu gye

kyusa

Mu 2009, Agnes yatuukirirwa Anne Kansiime okuzannya mu firimu empya eyitibwa The Hostel oluvannyuma lwa mukwano gwe, Pamela, okugigaana. Yaweebwa ekifo kya Arach nga tasoose kugezesebwa. Eno y'eyali entandikwa y'omulimu gwe ogw'okuzannya katemba. Omuzannyo Hostel gwali gwamanyibwa nyo mu Uganda, nga gwasook kulagibwa ku NTV ate oluvannyuma ku DStv. Agnes yasigala mu mizannyo guno ogw'okusiteegi emirundi esatu n'avaamu mu 2012 ng'ateekateeka okuzaala omwana we ow'okubiri, Brianna. [citation needed]

Mu 2014, yatandika okuzannya emizannyo mu kibiin a ekiyitibwa The Punchliners, oluvannyuma lw'okusendebwasendebwa Anne Kansiime ne Daniel Omara okugezaako okuzannya Katemba ow'okusiteegi. Oluvannyuma yegatta ku Comedy Files.

Mu 2015, y'omu kubaznanya Queens of Comedy Uganda vs Kings of Comedy Rwanda mu Kigali.

Mu 2016, yalabikira mu Girl from Mparo nga Mama Brian, omuzannyo ogwalagibwanga ku UBC n'oluvannyuma neguteekebwa ku DSTV's Pearl Magic.

Mu 2018, endagaano ye ne Comedy Files ng'eweddeko, Agnes yatandika okukola emirimu gye obwoomu ku mikutu gya katemba egy'enjawulo, omuli Rock Comedy ne Comedy Store Ug, ayanjulibwa Alex Muhangi. Mu mwezi Ogw'omukaaga, yalabika mu kivulu ekya Kampala Comedy, ogwayanjulibwa Okello Okello,omukubi w'ebifaananyi omwatuukirivu mu Uganda. Bwe yakomawo mu Comedy Stores UG mu Ogw'omunaana, yasikiriza abantu. Ekitundu ky'omuzannyo ogwo kyatambuzibwa nyo ku mukutu ogwa WhatsApp, gye yatenderezebwa enyo. Yagamba nti omuzannyo guno gwali gumanyiddwa nnyo olw'omulimu gwe yakola ku mikutu gy'ebyempuliziganya, ne Kakensa Media, nga mulimu abagoberezi bangi ku Facebook. Wakati wa Agusito ne Noovemba, Agnes yali omu ku ba UG Pineapple Comedy Tour, ekyamutwala mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo omuli Mbale, Gulu, Fort Portal, Jinja, ne Mbarara. Yali omu kubaali mu kibinja kya Comedy Store Ug ekyagenda e Mbarara okuzannya emizannyo gyayo egisookera ddala ebweru wa Kampala. Agnes yalabikira omulundi ogwasooka mu kitundu eky'okuna ekya Africa Laughs nga 8 Ogwekkumi mu Kampala Serena Hotel, ogwayanjulibwa Patrick Salvador Idringi, n'abazannyi ba katemba abalala okwali Basketmouth, Alfred Kainga, Eddie Kadi, Mc Jesse, Pulofeesa Haimo, ne Arthur Nkusi. Mu Ogwekkumineebiri, yaddamu okuzannya, ku mulundi guno ng'ali ne Fun Factory mu firimu ez'ebitundu eziragibwa ku TV eyitibwa Mizigo Express, nga muganzi wa Sam.

Ku ntandikwa ey'Ogw'okusatu 2019, Agnes yatandikawo era n'atongoza Arise Woman! Comedy Jam ku lunaku lw'abakyala olw'ensi yonna. Mu kukuza olunaku lw'okuwummula, omuzannyo gwaliko abakazi bonna abazannyi ba Katemba, omwali Nancy Kobusheshe, Maggie the Bwaiserian, Rich Mouth, Dora Nakagga, Leila Kachapizo, n'abakyala ba Fun Factory. Ekitundu ky'ensimbi ezaava mu lulaga luno zaweebwa eri abetaaga obuyambii. Ku nkomerero y'Ogwokusatu, Agnes yakomawo e Kigali ng'ali mu Seka Fest, n'abazannyi abalala okuva mu Uganda, Kenya, ne Nigeria. Mu Gwookuna, yalabikira mu The Comedian's OutLuke Podcast, eyalagibwa omukubi wa firimu Luke Anthony ng'ekitundu kya Uganda Special. Mu Gwomusanvu 2019, yali omu ku bannakatemba ba Uganda abeetaba mu Laugh Festival mu Nairobi, Kenya, ate mu Gw'omwenda, yayimba mu Uganda North America Association Convention mu Chicago. Mu Ogwekkumineebiri, ye yakulemberamu omukolo gwa One Africa Festival, ng'agezaako okulwanyisa obukyayi mu Port Elizabeth, South Africa.

Mu Ogw'omwenda 2022, Agnes ye muzanyi eyagulawo mu Africa Laughs eya Patrick Salvado Idringi ey'omukaaga.

 
Abakyala okuva mu Fun Factory nga baliko akatundu katemba gwebakola mu lulaga olwa mu Arise Woman

Engeri ya Katemba

kyusa

Enkola ya Agnes ey'okuzanyira ku siteegi ya Katemba ow'okwetegereza, mwatunuulira embeera eyewuunyisa mu bulamu bw'omuntu. Era olumu akozesa embeera ey'okwenyooma. Yeewala eby'obufuzi.

Obulamu bwe

kyusa

Agnes mwana wakutaano mu maka agalimu abalenzi babiri, Richard ne Emmanuel, ne bagandabe mukaaga,Cathy, Grace, Mary, Susan, Harriet, ne Doreen. Muzadde wa baana babiri, Noel ne Brianna, era alina enkolagana ne Brian Makalama. Mukatuliki era asabira mu Kkanisa eya Our Lady of Africa.

Obuyambi bw'abantu

kyusa

Agnes y'omu ku batandisi era akulira ekitongole ekya Arise Woman Foundation, ekirwanirira n'okuzzaamu amaanyi n'essuubi abakazi n'abavubuka. [citation needed] Ensimbi eziva mu kibiina ekya Arise Women! Comedy Jam ziweebwa eri Home of Hope, Jinja. [citation needed]

Firimu ze

kyusa
Emirundi gy'alabise ng'azannya mu firimu ne ttivi
Omwaka Ekitiibwa Omulimu gwe Olukalala Ebyafaayo
2009-2012 The Hostel Envubu NTV Uganda, DStv Africa Magic Entertainment, ZUKU TV, ne NTV KENYA
2016 Girl from Mparo Maama Brian UBC, DStv Pearl Magic
2018 kati Mizigo Express Muganzi wa Sam DStv- Pearl Magi

Ebyawandiikibwa

kyusa

Enkolagana ez'ebweru

kyusa
  • Akite Agnes at IMDb