Albert Edward Baharagate Akiiki
Albert Edward Baharagate Akiiki (25 Ogwokubiri 1930 – 5 Ogwokkuna 2023) yali musaserodooti w'Abakatuliki mu Uganda era nga yaweereza ng'Omusumba wa Eklezia y'abakatoliki w'essaza ly'e Hoima . Yalondebwa okuba omusumba w’e Hoima nga 7 Ogwomusanvu 1969 era n’alekulira nga 9 Ogwokussatu 1991.
Ensibuko n’obusaserdooti
kyusaBaharagate yazaalibwa nga 25 Ogwokubiri 1930, ku kyalo Nyamigisa, mu Disitulikiti y’e Masindi, mu kitundu ky’e Bunyoro nga wekimanyiddwa kati, mu kitundu ky'obuggwanjuba bwa Uganda. Yatuuzibwa ku busaserodooti nga 7 Ogwekkuminebiri 1958. [1] [2]
Nga omusumba
kyusaYalondebwa okuba Omusumab w’e Hoima nga 7 Ogwomusanvu 1969 era n’atukuzibwa ng’omusumba e Hoima nga 1 Ogwomunana 1969 Paapa Paul VI † ng’ayambibwako Ssaabasumba Sergio Pignedoli †, Titular Archbishop of Iconium ne SsaabasumbaEmmanuel Kiwanuka Nsubuga †, Ssaabasumba w’essaza ly’e Kampala .
Nga 9 1991, Ogwokussatu Baharagate yalekulira nga omusumba wa Hoima. Mu bulamu bwe obw’oluvannyuma, yawangaala nga omusumba Emeritus owa Hoima. [1] [2]
Okufa
kyusaBaharagate Akiiki yafiira mu ddwaliro e Nsambya mu Kampala, nga 5 Ogwokkuna 2023, ku myaka 93. [1]
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://en.wikipedia.org/wiki/Catholic-Hierarchy.org
- ↑ 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-01. Retrieved 2024-09-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)