Alengot Oromait
Proscovia Alengot Oromait (yazaalibwa nga 1 Ogusooka 1993) muyizi wa yunivasite era munnabyabufuzi mu Uganda. Yaweereza ng'omubaka wa Palamenti (MP) okuva mu Ssaza erya Usuk, mu disitulikiti eye Katakwi okuva mu 2011 okutuuka mu 2016. Ng'aweza emyaka 19, ye yali omubaka asinga obuto mu Palamenti y'eggwanga mu Uganda, nga owa Afirika.
Ebyafaayo
kyusaYazaalibwa mu disitulikiti eye Katakwi nga 1 Ogusooka 1993. Kitaawe, Michael Oromait, yaweereza ng'omubaka wa Palamenti ku kifo kye kimu nga tannafa nga 21 Ogusooka 2012.
Okusoma
kyusaYamaliriza emisomo gye egya siniya (S6) ku St. Kalemba Senior Secondary School mu disitulikiti eye Kayunga mu Ogw'okumunebiri 2011. Yaweebwa ekifo mu Uganda Christian University e Mukono, okutandika mu Ogwomunaaa 2012.
Obumanyirivu mu Mirimu
kyusaOluvannyuma lw'okufa kwa Kitaawe, Alengot Oromait yasalawo okuvuganya mu kulonda kwa National Resistance Movement okudda mu kifo kya kitaawe, eyali aweereza nga ataalina kibiina. Yawangula empaka z'okusunsulwamu era mu kulonda okw'awamu mu Ogw'omwenda 2012, yaziwangula n'ebitundu 54.2% eby'okulonda. Asuubirwa okukwasaganya okusoma kwe okw'omutendera n'emirimu gye egy'obukiise mu lukiiko lw'eggwanga okumala emyaka esatu egiddako.
Ebikwata ku bulamu bwe
kyusaAlengot Oromait nga si mufumbo, ali mu kibiinaekya National Resistance Movement, ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda. Akola ku nsonga nga ez'obutonde bw'ensi, eby'enjigiriza, enkola z'ebyobulamu n'ensonga z'ekikula ky'abantu. Omu ku basomesa be ye Jessica Alupo, eyali minisita ow'ebyenjigiriza era nga mubaka wa Palamenti (MP) akiikirira abakyala aba disitulikiti eye Katakwi.