Apollo Makubuya
Apollo Nelson Makubuya Munnayuganda, era munnamateeka omutendeke era omuwandiisi, nga akola nga ssentebe wa bboodi y'aba dayirekita mu bbanka y'Ebyobusuubuzi eya Equity Bank Uganda Limited. [1]Yalondebwa mu kifo kino mu mwezi ogw'okusatu mu 2017.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaMakubuya yazaalibwa mu Uganda mu myaka gya 1960. Oluvanyuma lw'okusoma Pulayimale ne Siniya yaweebwa ekifo mu Makerere University Law School, gye yafunira ddiguli mu by'amatteeka. Yeyongerayo n'afuna dipulooma mu by'amatteeka okuva mu ttendekero lya Law Development Centre, erisangibwa mu Kampala ekibuga kya Uganda ekikulu. Oluvanyuma yakkirizibwa okuwoza emisango mu kkooti za Uganda nga Puliida. Yeyongerayo n'afuna diguli ey'okubiri mu by'amatteeka okuva mu Yunivasite ya University of Cambridge, e Bungereza.
Emirimu gye
kyusaApollo Makubuya y'omu ku Bannamatteeka ab'amaanyi mu Kampuni ya MMAKS Advocates, Kampuni ya bannamatteeka ab'amaanyi esangibwa mu Kampala, Uganda. Era Memba ku kakiiko akawi k'amagezi mu Kampuni eno era akola ng'omu ku Bannanyini baayo.
Alina obumanyirivu obw'amaanyi mu kisaawe ky'ebyamatteeka agakwata ku ddembe ly'obuntu ku mutendera gw'ensi yonna. Muwi w'amagezi eri bbanka, kampuni ezisima eby'obugagga eby'omuttaka, Bamusiga Nsimbi ku mutendera gw'ensi yonna ne Africa, ku mateeka g'ebyobusuubuzi n'ebikwata ku misolo.
Bwe yali tanatandika kwekozesa, yali muwi w'amagezi ku by'amateeka mu bbanka emu ey'obwannanyini. Era yawerezaako ng'omumyuka w'akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwola bbanka entono, mu bbanka ya Uganda enkulu. Era yawerezaako ng'omuntu eyebuuzibwako ku by'eddembe ly'obuntu, eby'enkulaakulana n'amateeka agafuga ebitongole n'amakampuni mu bitongole nga Uganda Human Rights Commission, DANIDA ne UNDP.
Famire
kyusaApollo Makubuya yali mufumbo n'omugenzi Stella Nansikombi Makubuya (wakati wa 11 Ogwekuminogumu 1967 – 5 Ogwomwenda 2018), nga yali munnamatteeka munne era omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala. Obufumbo bwabwe bwalimu abaana basatu abawala okuli (a) Athena Mulungi Nakku (b) Angela Kitiibwa Nakimuli ne (c) Andrea Kwagalakwe Nabakka[3]. Kati yasazeewo okufumbiriganwa ne Anne Juuko, akulira Stanbic Bank Uganda Limited, okuva January 2022.[4][5]
Obuvunaanyizibwa obulala
kyusaApollo Makubuya era akola ng'omuwi w'amagezi omukulu ku nsonga z'olubiri eri Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II. Yalondebwa ku buvunanyizibwa buno mu mwezi Gwokubiri 2019, oluvanyuma lw'okuweerezaako nga Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda nnamba ssattu, Minisita w'ebyamatteeka era Ssaabawolereza wa gavumenti ya Kabaka.[6][7][8]
Ebitabo
kyusa- Yawandiika ekitabo, 'Protection, Patronage, or Plunder? Imperial Machinations and (B)ugandas Struggle for Independence.[9]
Kaweefube w'okulwanyisa obufuzi bw'amatwale
kyusaMakubuya amanyiddwa nnyo mu kulwanyisa obufuzi bw'amatwale mu Africa era mu Gwomukaaga nga 25,2020 yatwala ekiwandiiko eri Sipiika wa Palamenti nga kiriko emikono gya bantu 5,200 nga basaba okuggyawo ebintu byonna ebirina amannya g'abafuzi b'amatwalwe n'addala enguudo, ebibumbe, n'ebirala ebyongera okulaga omukululo omubi ogw'okufugibwa omuli okuwambibwa, okufugibwa, okubba eby'obugagga, okukozesebwa n'obwa nantagambwako bw'abafuzi b'amatwale.[10][11]
Era laba
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://www.dispatch.ug/2018/08/03/equity-bank-marks-10-years-uganda/
- ↑ https://www.standardmedia.co.ke/article/2001233352/equity-bank-prepares-for-munga-exit-as-it-appoints-new-directors
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1485856/nansikombi-laid-rest-tributes-flow
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/125205
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/129292/stanbic-bank-ceo-lawyer-beau-flaunt-love-at-r
- ↑ https://www.independent.co.ug/buganda-cabinet-ministers-reduced-in-new-reshuffle/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Kabaka-goes-for-fulltime-cabinet-Peter-Mayiga/688334-4996514-9jdu46z/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1494695/buganda-king-reshuffles-cabinet
- ↑ https://www.amazon.com/Protection-Patronage-Imperial-Machinations-Independence/dp/1527513459
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/65495-will-makubuya-s-drive-on-decolonisation-bear-fruit
- ↑ https://www.globalcitizen.org/en/content/ugandans-join-push-rename-colonial-landmark-statue/