Badru Kateregga
Badru Dungu Kateregga (yazaalibwa nga 4 Ntenvu 1948), munnabyanjigiriza omunnayuganda, omutandisi wa bizinensi, akulira ebitongole by'ebyenjigiriza, era ng'aweeraza ng'omumyuka wa ssenkulu wa ssettendekero ya Kampala University, ssettendekero ey'obwannannyini nga y'omu ku batandisi baayo.[1]
Obuvo n'okusoma
kyusaYazaalibwa nga nga 4Ntenvu lukumi mu lwenda ana mu munaana (1948) nga yazaalibwa omukyala Hajat Aisha Nakato Namusoke n'omugenzi Hajj Kateregga, abaali babeera ku kyalo Kabasanda, mu kaseera kano disitulikiti y'e Butambala , mu kitundu kya Buganda mu masekkati ga Uganda.[2]
Yasomera ku ssomero lya Kabasanda Primary School, wakati wa lukumi mu lwenda ataano mu mukaaga (1956) okutuuka mu lukumi mu lwenda nkaaga mu ena (1964), n'afuna ebbaluwa y'ekyomusanvu. Oluvannyuma yagenda ku ssomero lya Kabasanda Junior Secondary School, gye yafunira ebbaluwa yasiniya eyookuna mu mwaka gwa lukumi mu lwenda nkaaga mu musanvu(1967). Yafuna dipulooma mu masomo ga atisi eya siniya eyoomukaaga mu mwaka gwa lukumi mu lwenda nkaaga mu mwenda (1969) okuva ku ssomero lya Kibuli Secondary School.[3][4]
Oluvannyuma yeegatta ku ssettendekero Makerere, mu mwaka gwa lukumi mu lwenda nsanvu (1970) ssettendekero ya gavumenti esinga obukulu mu Uganda, gye yasomera ebyafaayo, eddiini ne firosofiya. Yafuna diguli ye esooka eya Bachelor of Arts . Era yafuna diguli eyookubiri (Master of Arts) okuva ku bbanguliro lya School of Oriental and African Studies ku ssettendekero ya University of London, ng'amakanda yagasimba mu byafaayo bya The Middle East n'obuyisiraamu[5][6]
Mu mwaka gwa nkumi bbiri mu kkumi (2010), olukiiko olufuzi olwa ssettendekero ya Kampala University lwamuwa diguli eyookusatu eya Doctor of Letters degree.[7]
Emirimu
kyusaOluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye mu ggwanga lya United Kingdom, yakomawo mu Uganda era n'alondebwa ng'omusomesa mu kitongole ekisomesa eddiini ne firosofiya ku ssettendekero ya Makerere University (Faculty of Arts at Makerere University).
Ssettendekero ya Kampala University
kyusaMu mwaka gwa lukumi mu lwenda kyenda mu mwenda (1999), bwe yali akyasomesa ku ssettendekero ya Makerere University, Kateregga, ng'ali wamu ne banne abalala baatandikawo ssettendekero ya Kampala University, nga ssettendekero ey'obwannannyini erina erina amatabi ag'enjawulo ng'ettabi ekkulu lisangibwa Ggaba, e bukiikakkono bw'olubalama lw'ennyanja Nalubaale (Lake Victoria).[8] Mu mwaka gwa nkumi bbiri mu kkumi n'ena (2014), yawummula okusomesa ku ssettendekero ya Makerere University era essira n'alimalira ku ssettendekro eno ey'obwannannyini gye yatandikawo ne banne.
Laba ne ku;
kyusa- Okusoma mu Uganda
- Olukalala lw'amatendekero mu Uganda
- Olukalala lw'abakulembeze ba zissettendekero mu mu Uganda
Olukangaga lw'okudda mu kifo ky'obumyuka wa ssenkulu ku ssettendekero ya, Kampala University
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/Business/Prosper/Kateregga-makes-most-out-education/688616-4986128-n9v0xp/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/Business/Prosper/Kateregga-makes-most-out-education/688616-4986128-n9v0xp/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/Business/Prosper/Kateregga-makes-most-out-education/688616-4986128-n9v0xp/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-18. Retrieved 2022-12-11.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/Business/Prosper/Kateregga-makes-most-out-education/688616-4986128-n9v0xp/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-18. Retrieved 2022-12-11.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-18. Retrieved 2022-12-11.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://observer.ug/education/57132-prof-kagonyera-installed-as-kampala-university-chancellor.html